Derrick Nyeko
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Erinnya eriweereddwa | Derrick | |
| Yazaalibwa nga | 1992 | |
| Gy'azaalwa | Eddwaaliro ly'e Nsambya | |
| Omulimu | munnabyabufuzi | |
| Ekifo ky'alimu | mubaka wa palamenti | |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | National Unity Platform | |
Derrick Nyeko Keko (yazaalibwa 1992),Munnayuganda Munnabyabufuzi, omulimi era yaliko omubaka wa paalamenti mu paalamenti ya Uganda ey'ekkumi nemu (2021-2026)akiikirira Buvanjuba bwa Makindye.[1][2]Minisita ow'ekisiikirize ow'ensonga z'obwapulezidenti n'ebyokerinda (2021-2024) era yaliko Minisita w'ekisiikirize ow'ebyokwerinda n'ensonga z'abaazirwanako (2024-2026).Mufumbo ne Ruth Kirabo Nyeko.[3][4][5]Mmemba w'ekiibina ekivuganya gavumenti ekya National Unity Platform(NUP)era nga muwagizi wa people power,Our power Movement.Gyebuvuddeko yali akolagana n’ekibiina ekiri mubuyinza ekya National Resistance Movement (NRM).[6][7]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Nyeko yaweerezako nga Ssaabawandiisi w'ensonga z'abayizi mu Kakiiko k’abuvubuka aka Youth for market zone 2011.Oluvannyuma mu mwaka gwe gumu yalondebwa nga Ssabawandiisi w'ekibiina kya Buganda youth Council ku parish level nga Omuwandiisi w’Okumanyisa abantu.Era yaweerezaako nga kansala w’Abavubuka mu Makindye Urban Council era ng'Omuwandiisi wa NRM Youth Council mu Kampala, ekifo kino kyaleetawo obutakkaanya kubanga , kubanga yalabikanga ng’ali mu bibiina by’obufuzi bibiri,NRM ekibiina ekiri mu buyinza n'ekya National Unity Platform (NUP) ekiri ku ludda oluvuganya.[8]
Nyeko yava mu National Resistance Movement (NRM) n'agenda mu National Unity Platform (NUP) ng'awakanya okuggyawo ekkomo ku myaka gya pulezidenti ekyandireetedde Museveni okusigala mu buyinza okumala emyaka egisukka mu 35.Oluvannyuma yeesimbawo ku kifo ky'omubaka wa paalamenti ow'Amambuka Makindye era n'awangula eyali mu kifo ekyo Hon. Ibrahim Kasozi owa FDC, ekibiina ekirala ekiri ku ludda oluvuganya Gavumenti.[9]Oluvannyuma yalondebwa nga Ssaabaminisita ow'ekisiikirize era ow'eby'okwerinda mu kabineti ey'ekisiikirize nga yalondebwa omukulembeze w'oludda oluvuganya gavumenti Hon. Mathias Mpuuga.[10]
Yava mu lwokaano lwa 2026 wakati mu ntalo za NUP.[11]
Okukwatibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Nyeko yakwatibwa era n'ateebwa emirundi egiwerako mu kunoonya akalulu k'omubaka wa Paalamenti,wamu n’omukulembeze wa NUP Bobi Wine mu kunoonya akalulu k'obwa pulezidenti ne mu kwekalakaasa olw'abawagizi b'oludda oluvuganya gavumenti ababula.[12]
Obuvo n'okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Nyeko yazaalibwa mu ddwaliro ly'e Nsambya mu Kampala 1992 eri abazadde abajapadhola, omwami. Paineto Ofumbi n'Omukyala we Florence Ofumbi.Yakulira Wabigalo, Namuwongo mu Disitulikiti y'e Kampala mu famire y'abantu mukaaga.Yasomera Ebenezer Primary School e Wabigalo, St. Peter's Secondary School e Nsambya kumutendera ogwa siniya eyokuna ne St. Mary's College Lugazi kumudendera gwa siniya eyomukaaga.Oluvannyuma, yasomera ku Kampala Film School, n’afuna Dipulooma mu by’okukola firimu.[13][14]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Olukalala lw'ababaka ba Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi n'emu
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Nyeko Derrick - 2021 General Election - Visible Polls". visiblepolls.org (in Lungereza). Retrieved 2023-02-09.
- ↑ Asiimwe, George (2025-09-02). "Makindye MP Nyeko Says He Will Not Seek Re-election". ChimpReports (in American English). Retrieved 2026-07-22.
- ↑ "Shadow Cabinet as at 25 June 2021". Parliament of Uganda. 7 March 2018. Retrieved 21 August 2021.
- ↑ Matooke Republic (28 December 2022). "Photos: NUP MP Derrick Nyeko Proposes To Girlfriend". MatookeRepublic.com. Kampala, Uganda. Archived from the original on 9 December 2023. Retrieved 9 February 2023.
- ↑ "Makindye East MP Proposes To Girlfriend". 93.3 KFM. Kampala, Uganda. 17 December 2022. Archived from the original on 4 October 2023. Retrieved 9 February 2023.
- ↑ "Nyeko Derrick swears in as MP Makindye East Division". Discover Uganda. Youtube. Retrieved 21 August 2021.
- ↑ Derrick Wandera (25 July 2021). "How NUP MPs Plan To Spend Shs200 Million Car Cash". Daily Monitor. Kampala, Uganda. Retrieved 21 August 2021.
- ↑ "NUP unmoved by Derrick Nyeko's current position in NRM". The Independent. Retrieved 21 August 2021.
- ↑ "Derrick Nyeko: Know your Member of Parliament - New Vision". New Vision. Retrieved 21 August 2021.
- ↑ "SHADOW CABINET: Niwagaba, Nyeko and Bwanika picked". The Independent. Retrieved 21 August 2021.
- ↑ Nuwagaba, Isaac (2025-09-03). "Politics: Makindye East MP Nyeko exits 2026 race amid NUP ticket battles". New Vision. Retrieved 2026-07-22.
- ↑ Kasirye, Ashraf. "Makindye East NUP- MP aspirant Derrick Nyeko during his arrest at Kabalagala polling station". Uganda Radio Network. Retrieved 21 August 2021.
- ↑ Batte, Baker. "I'm a Muganda – Derrick Nyeko". The Observer. Retrieved 21 August 2021.
- ↑ "Omubaka wo : Olugendo Lwa Munna NUP Derrick Nyeko omubaka wa Makindye East mu Kampala". Youtube. BBS TV. Retrieved 21 August 2021.
Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- MorningXpress - Annatalia Oze ng'akyaza Hon. Derrick Nyeko okutubuulira olugendo lwe mu by'obukulembeze.
- CS1 Lungereza-language sources (en)
- CS1 American English-language sources (en-us)
- Abantu abalamu
- Abazaalibwa mu 1992
- Abantu abajapadhola
- Bannabyabufuzi ab'ekibiina kya National Unity Platform.
- Bannabyabufuzi okuva mu kitundu ky'omu masekkati ga Uganda.
- Abantu okuva mu Kampala Makindye Divizoni
- Ababaka ba paalamenti ya Uganda ey'ekkumi n'olumu.