Jump to content

Diana Angwech

Bisangiddwa ku Wikipedia
Diana Angwech
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamukyala Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Erinnya eri­wee­redd­waDiana Kyusa Wikidata
Omulimumunnamateeka, advocate Kyusa Wikidata
Ekifo ky'alimudeputy chairperson Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raSsettendekero wa Makerere Kyusa Wikidata
Mmemba waUganda Law Society Kyusa Wikidata

  Diana Angwech Munnayuganda munnamateeka era aweereza nga Omumyuka wa Pulezidenti w'ekibiina ky'abannamateka ekya Uganda Law Society okuva mu Gwomwenda 2020.

Angwech yafuna Diguli esooka mu Mateeka eya Bachelor of Laws okuva ku Yunivasite y'e Makerere.[1]

Angwech yatandika emirimu gye egy'obwannamateeka mu Kkampuni y'abannamateeka ekya ROK advocates. Oluvanyuma yakola nga munnamateeka wa International Justice Mission okumala emyaka egikunukkiriza mu etaano, mu kaseera kano akola nga Maneja akwasaganya eby'enkulakulana mu kampuni ya Shonubi Musoke & Co. Advocates.[2][3]

Mu Gwomwenda 2020, Diana Angwech yalondebwa mu kifo ky'amyuka Pulezidenti w'ekibiina kya'abannamateeka ekya Uganda Law Society (ULS) nga y'adda mu bigere bya Phoena Wall, eyali alondeddwa ku bwa Pulezidenti wa ULS.[4][5] Era akola nga Sentebe w'akakiiko ka k'abannamateeka abato wansi w'akakiiko k'abakulu ab'atwala ekibiina ky'abannamateeka ekya ULS wamu n'akakiiko k'abannamateeka abato wansi wa East Africa Law Society.[6]

Angwech ye sentebe era omutandisi wa pulogulaamu ya Alabaster Mentorship Program.[7] Ye sentebe w'ekitongole ky'obwannanyini ekya Abide Family Centre eky'atandikibwawo okutumbula eby'obulamu mu famire ekisangibwa mu Jinja, Uganda.[8]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. ↑ Africa, CEO East (2020-09-14). "ALL FEMALE: Meet Four Ladies Heading the Incoming Uganda Law Society Executive Committee | CEO East Africa" (in American English). Retrieved 2026-09-26.
  2. ↑ "For Widows, Life After Loss". Pulitzer Center (in Lungereza). Retrieved 2026-09-26.
  3. ↑ "Angwech fostering careers, saving marriages through fora". Monitor (in Lungereza). 2021-01-06. Retrieved 2026-09-26.
  4. ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-20. Retrieved 2023-03-20.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. ↑ URN (2020-09-13). "Women take over Uganda Law Society leadership". The Observer Media Ltd (in American English). Retrieved 2026-09-26.
  6. ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-20. Retrieved 2023-03-20.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-20. Retrieved 2023-03-20.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-20. Retrieved 2023-03-20.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)