Jump to content

Dominic Eibu

Bisangiddwa ku Wikipedia


 

Dominic Eibu, (yazaalibwa 30 Ogwokkuna 1970) Musosodooti wa ba misaani mu Uganda mu Klezia Katolika eyalondebwa okuba Omusmba w'essaza ly'e Kotido nga 25 October 2022. [1] [2]

Ensibuko n’obusaserdooti

[kyusa | edit source]

Dominic yazaalibwa nga 30 Ogwokkuna 1970 e Lwala, mu ssaza ly’e Soroti, Uganda. Nga 16 Ogwokkuttano 1998, yakola ebirayiro bye nga mmemba w’ekibiina kya Comboni Missionaries of the Heart of Jesus (MCCI) mu Institute of Comboni Missionaries e Namugongo mu Kampala. Yawa ebirayiro bye eby’olubeerera nga 12 Ogwoluberyeberye 2002 era n’atuuzibwa ku busaserodooti nga 15 Ogwomunana 2002. Oluvannyuma Dominic yasomera mu Pontifical Institute of Arab and Islamic Studies gye yafunira layisinsi ye mu Ogwomukaaga 2005. [3]

Mu kiseera ky’obusaserdooti, abadde dayirekita w’essomero lya Comboni Primary School e Khartoum (2005-2016); omumyuka wa superior general w’essaza ly’e Khartoum erya Combonian (2008-2013); mmemba era omuwandiisi w’ettendekero lya College of Consultors (2013-2016); omuwandiisi w’olukiiko lwa Presbyteral Council (2013-2016); omuwandiisi w’ebyenjigiriza (2013-2016) era okuva mu 2017, dayirekita w’essomero era omumyuka w'omusaserodooti w’ekigo e Cairo.

Nga tannalondebwa kubeera musumba w’essaza ly’e Kotido, yaliko Omusaserodooti w’ekigo kya Sacred Heart of Jesus parishe Cairo, omumyuka wa superior general wa Misiri-Sudan, era mmemba w’akakiiko k’ebyenjigiriza mu kakiiko k’amawanga amagatte akavunaanyizibwa ku banoonyi b’obubudamu. [4]

Nga omusumba

[kyusa | edit source]

Oluvannyuma lw’Omusumba Giuseppe Filippi okulekulira, Dominic yalondebwa okuba Omusumba w’e Kotido nga 25 Ogwekkumi 2022. Yatukuzibwa era n'atuuzibwa nga 14 Ogwoluberyeberye 2023. [5] [6] [7] Most Rev. Emmanuel Obbo Ssabasumba waTororo ye yali Omutukuvu Omukulu.Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-25. Retrieved 2024-09-13.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://press.vatican.va/content/salastampa/en/bollettino/pubblico/2022/10/25/221025b.html
  3. https://en.pisai.it/the-pisai/news/2022/october/pisai-s-alumnus-appointed-bishop/
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-25. Retrieved 2024-09-13.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://www.catholic-hierarchy.org/bishop/beibu.html
  6. https://www.newvision.co.ug/articledetails/151582
  7. https://www.independent.co.ug/rev-father-eibu-installed-new-bishop-of-kotido-catholic-diocese/