Donna Kusemererwa

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Donna Asiimwe Kusemererwa Munnayuganda mugabi w'eddagala, musomesa, era maneja. Ye Dayilekita omukulu ow'ekitongole kya National Food and Drug Authority mu Uganda. Yalondebwa mu kifo ekyo mu Gusooka 2016.[1][2]

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Ttundutundu lyeBuggwanjuba bwa Uganda circa 1970. Pulayimale ye yagisomra ku Kittante Primary School. Yasomera ku Mount Saint Mary's College Namagunga mu misomo gye egya O-Levo ne A-Levo. Yasoma eby'okugaba eddagala okuva ku Ssettendekero wa Makerere University, Yunivasite ya Gavumenti esinga obugazi n'obukulu mu Uganda, nga yatikkirwa mu 1993 ne Diguli esooka mu by'eddagala eya Bachelor of Pharmacy degree.[3] Oluvanyuma yegata ku Yunivasite ya Curtin University of Technology mu Australia, nga yatikkirwa Diguli ey'okusatu mu by'eddagala eya Master of Pharmacy degree.[4] Oluvanyuma yafuna Diguli mu kukwasaganya bizinensi eya Master of Business Administration okuva mu ttendekero lya Eastern and Southern African Management Institute.[5]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Okugoberera emisomo gye mu Australia, yakomawo mu Uganda era n'atandika okukola ng'omusomesa w'abayizi abali mu mwaka ogwokuna mu kusoma eby'eddagala ku Makerere Yunivasite, okuva mu 1997 okutuusa mu 1999. Yaweerezaako nga Maneja w'abyonna ku Joint Medical Store, etterekero ly'eddagala lya Gavumenti, okuva mu 1997 okutuusa mu 2008. Okuva mu Gwomwnda 2008 okutuusa mu gusooka 2013, Yaweereza nga Dayilekita ow'okuntiiko owa Ecumenical Pharmaceutical Network, esangibwa mu Kampala, Uganda. oluvanyuma yaweerza nga omukugu ey'ebuuzibwako ku by'eddagala okuva mu 2013 okutuusa mu 2016. Mu Gusooka 2016, yalondebwa ku bwa Dayilekita omukulu owa National Food and Drug Authority, nga y'adda mu bigere bya Gordon Katende Ssematiko, eyali ogobeddwa olw'misango egy'ekuusa ku nguzi[6]

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'bweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]