Dora Mwima

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Dora Mwima, oba Dorah Mwima Munayuganda ayolesa emisono wamu n'okukola kubantu nga abatona tona, eyaeyawangula ekya nnalulungi wa Uganda mu 2008 ng'alina emyaka 18.[1] Yakiikirira Uganda mu mpaka z'aba nnalulungi bw'ensi yonna ezaali e South Afrika mu 2008.[2][3]

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Mwima yazaalibwa abazadde abanayuganda mu 1990, mu Buvanjuba bwa Uganda mu tawuni y'e Tororo. Kitaawe yali mubuulizi wanjiri, ng'era famiri ye yasenguka okugenda ku mulirwaano e Kenya Dorah bweyalina emyaka enna egy'obukulu.[1] Famire oluvannyuma yakomawo mu Uganda mu 2008, nga esigadde wiiki bbiri bayite abaali baagala okwesimbawo mu mpaka z'obwa Nnalulungi bwa Uganda, nga nazinafulumizibwa. Yatekayo okusaba kwe era nebamukiriza ng'eyali agenda okwesimbawo.[1]

Eky'okubeera Nnalulungi wa Uganda mu 2008[kyusa | edit source]

Bweyali Nnalulungi wa Uganda, Mwima yakiikirira eggwanga lye mu mpaka z'ensiyonna ez'obwa nnalulungi, nga zino zaali zitegekeddwa South Afrika, mu Gwekumineebiri mu 2008.[4]

Mu kaseera ako keyabeereramu nnalulungi, yatandikawo ekibiina ekiyitibwa Dora Mwima Foundation, ekitaalina bigendererwa byakukola magoba, wabula nga kyali kyabwanakyewa. Ekirubirirwa ky'ekitongole kino ekitaali kya gavumenti kyali kyakuyambako bamaama abaali beekuliza abaana baabwe wamu n'abawala abavubuka, ''okuwanyisiganya obumannyirivu bwebalina mu mbeera esiga okubanyigiriza mu bulamu".[1] Nga ayita mu kibiina kyekino, yategeka empaka z'omupiira, nga ssente ezakungaanyizibwa nga ku miryango zaakozesebwa nga mu kuyamba abakyala abaalina embuto nadala abaali nga mu byalo, nga bali mu bwetaavu. Mu kaseera k'emyezi esatu egyali gisembayo nga ye nnalulungi, kyazuulibwa nti Mwina yali afunye olubuto.[1]

Oluvannyuma kwa 2008[kyusa | edit source]

Yasalwo okusigaza omwana we ekyamufuula maama omuvubuka ataali mufumbo, kubanga omukwano gweyalina ne taata w'omwana tegwatambula bulungi. Yafuna omulimu mu kampuni ekola biviiri by'abakazi eya Darling Hair Collection Uganda, nga eyali omuwandiisi omukuli, era akulira ebifulumizibwa.[1] Omwana wa Mwima bweyalina emyezi mitono, akulira kampuni eno omupya yaleetebwa mu Uganda nga mukama wa Mwima. Ku mulimu gwe nga omuwandiisi omukulu, omulimu gwe ogwali gusinga gwali gwakulabirira bagenyi abakungu. Mukama we omupya yali ayitibwa Nader Barrak, nga nzaalwa za Lebanon, mu bitundu bya Middle East. Ye ne Mwina baafuuka bamukwano, oluvannyuma nebatandika okwagalana .[1]

Mu 2013, Mwima yalekulira omulimu gwe mu kampuni eno nga yeewala okugata omukwano n'emirimu gye. Mu Gwekumineebiri mu 2013, Mwima ne Barrak baafumbiriganwa ku mukolo ogwali ogw'ekkooti, nga guno gwagobererwa ogwali mu kanisa nga 25 Ogwokutaano mu 2014.[5]Embaga yabwe yeeyatekebwa ku katabo ka "Bride & Groom", akatabo akabeeramu ebikwata ku by'embaga nga katambuzibwa mu mawanga gonna agali mu buvanjuba vwa Afrika.[6]

Mu Gwokusatu mu 2017, Mwima yazaala abalongo, okwali Geovanna Barrak omulenzi wamu ne Sarafina Barrak omuwala, ow'okubiri era omwaana ow'okusatu nga bali bombi. Buli omu kubazadde bano yalina omwana nga tebanaba kusisinkana.[7][8]

Ny Gwokubiri mu 2019, okusinziira ku mawulire ga The Observer mu Uganda, Mwima yakyasanguza nga omugenzi Moses Ssekibogo nga bweyali taata w'omwana we gweyasooka okuzaala amannyikiddwa nga, Ethan Barrak.[9]

Gy'abeera[kyusa | edit source]

Mu 2014, Mwima ne bbaawe baasenga okuva mu Kampala ekya Uganda, nebagenda mu Bujumbura mu ggwanga lya Burundi, nga eno Nader Barrak yeeyali akulira kampuni ekola ebiviiri by'abakazi eyitibwa "Darling Hair Collection Burundi".[10] Balina n'amaka ku mulirwaano e Bukoto mu mu munisipaali y'e Nakawa mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu.[7] Oluvannyuma badddamu okusengula nebakomawo mu Uganda.[9]

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]

Ewalala w'oyinza okubigya[kyusa | edit source]