Dorcas Muthoni

Bisangiddwa ku Wikipedia
Dorcas Muthoni
Yazaalibwa Mu mwaka gw 1979, ng'alina emyaka 44

Nyeri

Dorcas Muthoni yazaalibwa mu mwaka ga 1979, mu Nyeri [1], nga munakenya alina obukugu obutandikawo bizineensi ng'alubirira okufuna amagoba, wabula nga tatidde binavaamu, eyasoma ebya kompuyuuta neebizikwatako era eyatandikawo kampuni ya OPENWORLD LTD,[2] kampuni eyeebuzibwaako ku bikwatagana ku kompuyuuta, ng'eno yagitandikawo ng'alina emyaka 24. Okuyita mu mirimu gye ng'atandikawo bizineensi, n'okubeera ng'alina obukugu mu bya kompuyuta n'okumannga ebizikwatako, Muthoni alina ekirubirirwa ky'okulaba tekinologiya ng'akyusa obulamu bw'abantu boku semazinga wa Afrika mungeri enungu, gavumenti, n'eby'amguzi.[3]

Ebimukwatako[kyusa | edit source]

Yatikirwa mu bukwatagana ne saayansi wa kompuyuuta okuva mutendekero lya yunivasite y'e Nairobi, ng'alina obuguku obw'enjawulo mu mikutu egitakozesa waya oba egy'omubanga, empuliziganya za leediyo, n'okukola entegeka ku bya tekinologiya, ssaako n'eby'okuzuua ebirala. Okuyita mu mirimu gye egyabulijjo ng'omukyala owa bizineensi, wamu n'okubeera ng'alina obukugu mu by'okutegeera ebikwatagana ku kompuyuuta, alina ekirubirirwa ky'okulaba tekinologiya ng'ayamba okukyusa obulamu bw'abantu kulukalo lwa Afrika mu bitundu byabwe gyebabeera wamu ne bizineensi zaabwe.

Kampuni ya OPENWORLD ebadde yeenyigira mu kutuusa ebikozesebwa mu Afrika nadala ku mikutu, ssaako ne pulogulaamu ezibeera mu kompuyuuta gamba nga, ARIS, pulogulaamu y'okulukalo lwa Afrika, ng'eno pulogulaamu ekozesebwa amawanga 54 ageegatira mu lusisinkano luno; ezirukanya y'enkola ya sisitiimu ya gavumenti y'e Kenya, pulogulaamu eyeenasula yokka ekozesebwa mu mirimu gya gavumenti okuweereza abantu; ne bizineesi eziri mu kyangaala oba enzigule, enkyuka kyuka mu pulogulaamu ezidukanya bizineensi entonotono.

Muthoni yeeyatandikawo ekitongole ky'omukitundu ekya AfChix, ekibiina ekivunaanyizibwa ku by'okuyigiriza okulakulanya, n'okugumya obumannyirivu bw'ekitongole eri akayala mu bya kompuyuuta okwetoloola semaiznga wa Afrika. Okuva mu mwaka gwa 2004, emirimu gya AfChix gibaddemu okutegeka enkungaana eziyigiriza ebya kompuyuuta egyabuli mwaka, ng'esira baasinga kuliteeka mu byakukubiriza mirimu gya kompuyuuta ku lw'abakyala abato, n'abawala abagenda kusomero; ekulakulanya emirimu gy'abakyala egy'eyongerayo mu tekinologiya, n'okubeera eky'okulabirako ku bijja mu maaso mu bakyala mu bya kompuyuuta. Okwagala kuno, n'okwenyigira mu mwamufuula eky'okulabirako eri abakyala, wamu n'abawala ku semazinga wa Afrika.

Muthoni abadde mu kibiina ky'emikutu gya yintaneeti, akakiiko akatereeza emikutu gya yintaneeti, n'atereeza eby'empuliziga mu baanka y'ensi yonna. Mu mwaka gwa 2008, yawangula engule yokubeera omukyala eyali omuwatwa gw'okukyusa tekinologiya eya ''Anita Borg Institute for Women and Technology's Change Agent award winner mu mwaka gwa 2009[4] yalondebwa ku lukiiko lw'abakyala gyebawanyisiganyiza endowooza ng'omu kubitone by'omubiseera ebijja mu maaso,[5] akabinja k'abakyala balina talanta ez'amaanyi, n'okulaga obumalirivu obumusobozesa okufuuka eky'okulabirako mu biseera ebijja mu maaso. Mu mwaka gwa 2013, yalondebwa ku kibiinja ky'abantu abeegaira mu kibiina ky'eby'enfuna, wamu n'abakulembezze abato munsi yonna, akatuuti k'abakulmbezze aab'enjawulo okwetoloola ensi, nga bali wansi w'emyaka 40. Mu mwaka gwa 2017, etendekero lya yunivasite ya Pompeu Fabra baasiima Honoris Causa olw'emirimu gye gyeyakola mu kutumbuula emisomo gy'obwayinginiya eri abawala b'okulukalo lwa Afrika, okuyigiriza abavubuka abato, n'okwewaayo kwe eri abantu mukulwanyisa obwavu.[6]

Yaweebwa engule y'okubeera omu kubaali ku kukyusa tekinologiya mu bakyala okuva mutendekero lya Anita Borg Institute ery'abakyala ne tekinologiya mu mwaka gwa.

  1. {{cite news}}: Empty citation (help)http://www.elperiodico.com/es/ciencia/20171217/dorcas-muthoni-entrevista-tecnologia-cambia-profundamente-africa-6498520
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20171222052645/https://www.upf.edu/web/media/enoticies/-/asset_publisher/wdGAWZ7EMj53/content/id/115809716/maximized#.Wj6sm1SdXBJ
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.internethalloffame.org//inductees/dorcas-muthoni#sthash.rvAnhtpI.dpuf
  4. {{cite news}}: Empty citation (help)https://anitab.org/profiles/abie-award-winners/dorcas-muthoni/
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20171224101146/http://womensforum.info/Rising_Talents/Members.html#2009
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.upf.edu/web/mdm-dtic/