Dorcus Acen
Dorcus Acen, abasinga gwe bamanyi nga Dorcas Acen, munnabyabufuzi, Munnayuganda akiikirira abakyala ba Disitulikiti ya Alebtong mu Paalamenti ya Uganda ey'ekumi n'emu.[1][2] Yeesimbawo ku ky'Omukyala omubaka mu Paalamenti ya Uganda owa Disitulikiti ya Alebtong ey'ekumi nga munabyabufuzi eyali talina kibiina kyagiddemu.
Mu kulonda kwa 2021, Dorcus Acen yali yeekuusa ku kibiina ky'ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement. Mu biseera byeyakolerau kakuyege w'okunoonya obululu, yawaayo ambyuleensi bbiri mu Disitulikiti gyebamuzaala okuyamba okwanguya ensonga z'abalwadde ababeera balina okutwalibwa mu malwaliro nga tebalinda, ssaako n'okwanguya ensonga y'okulwanyisa obutasaasaana bwa kirwadde kya COVID-19.[3] Yawa abantu nadala abatesobola akawunga n'ebinjanjalo mu Disitulikiti, abaala obulamu nga bugotanyiziddwa omugalo olwali gwongeddwako, n'engeri endala pulezidenti zeyali ataddewo okulwanyisa ekirwadde kya COVID-19 okwetoloola eggwanga lyonna.[3] Mu kulonda kwa Uganda okwa bonna mu 2021, Acen yalondebwa ng'oubaka omukyala owa Disitulikiti ya Alebtong.[4][5] Mu Paalamenti eyekumineemu, awereza ku kakiika k'ekikula ky'abantu, emirimu n'enkulakulana y'ebitundu.[6]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Yakolako ku GBV Prevention Network ng'omuntu eyali alwanyisa obutabanguko obuva kunsonga z'okwegata wamu n'obutabanguko obuleeta okutulugunya abakyala.[7] Mu 2018, yakolako ng'omuwabuzi w'alwanirira ekikula ky'abantu n'okukikuuma mu kitongole kya CARE International mu South Sudan, gyeyali avunaanyizibwa kuntambula za pulogulaamu z'ekikula ky'abantu n'okukikuuma.[8][9]
Laba nebino
[kyusa | edit source]- Olukalala lw'abali mu Paalamenti ya Uganda eyekumineemu
- Ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement
- Paalamenti ya Uganda
- Disitulikiti ya Alebtong
- Ababaka ba Paalamenti
- Banabyabufuzi abatalina bibiina byabufuzi
Laba na bino
[kyusa | edit source]- Website of the Parliament of Uganda.
- Dorcus Acen on Linkedin
- Dorcus Acen on Facebook
- Acen Dorcus on Twitter
- Lango Members of Parliament 2021-2026.
- GBV Sub cluster Focal Person for GBV mainstreaming in different clusters
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/30-women-line-up-for-9-lango-woman-mp-seats-1899912
- ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/alebtong-nrm-chairperson-faces-dismissal-for-supporting-go-foward-independent-candidates
- ↑ 3.0 3.1 https://web.archive.org/web/20210302171529/https://tndnewsug.com/2020/05/15/alebtong-rdc-retracts-commands-that-were-to-be-misconstrued/
- ↑ https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/acen-dorcus-10110/
- ↑ https://www.youtube.com/watch?v=NXPo4fLbjeA
- ↑ https://parliamentwatch.ug/committees/committee-on-gender-labour-and-social-development/
- ↑ https://web.archive.org/web/20210304152045/https://preventgbvafrica.org/member/dorcas-acen/
- ↑ https://insights.careinternational.org.uk/development-blog/author/915-dorcasacen
- ↑ https://covid19.alnap.org/help-library/covid-19-magnifying-gender-inequalities