Doris Akol

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Doris Akol Munnayuganda, Munnamateeka era mukulu w'essomero.[1] Mu Gwekkuminebiri 2021, yalondebwa ng'omuwabuzi mu International Monetary Fund, mu Washington, DC, Amerika.[2][3]

Ng'ebyo tebinnabaawo, yali akolagana n'aba offiisi ya Dentons' mu Kampala.[4][5] Yaliko Omukulembeze w'ekitongole ekiwooza ky'emisolo ekya Uganda Revenue Authority (URA).[6][7][8][9] Yalondebwa mu kifo ekyo Maria Kiwanuka, eyali Minisita ow'ebyensimbi, okuteekateeka n'ebyenkulakulana, Ku Bbalaza nga, 27 Ogwekkumi 2014.[10] Yadda mu bigere bya Allen Kagina, eyali yawummula oluvannyuma lw'ebisanja bibi eby'emyaka etaano eby'omuddiringaana mu URA.[11]

Emisomo gye[kyusa | edit source]

Doris Akol yasomera ku Nakasero Primary School. Mu misomo gye egya O-Levo, yasomera ku Mount Saint Mary's College Namagunga. Oluvanyuma yegatta ku Nabisunsa Girls Secondary School, mu misomo gye egya A-Levo. Alina Diguli mu mateeka eya Bachelor of Laws (LLB), gye yafuna mu 1993, okuva mu Yunivasite y'e Makerere, Yunivasite ya Gavumenti esinga obukulu n'obugazi mu Uganda. Era yayongerako Dipuloma mu mateeka eya postgraduate Diploma in Law Practice (Dip.Law.Pract.), gyeyafuna okuva ku ssomero ly'amateeka erya Law Development Centre, mu Kampala. Dipuloma ye eya Diploma in Financial Management (Dip.Fin.Mngmt.), yafunibwa okuva mu ttendekero lya Uganda Management Institute. Alina Diguli ey'okusatu mu mateeka eya degree of Master of Laws (LLM), gye yafuna okuva mu Yunivasite y' Makerere. Diguli ye y'okusatu endala yagiifunira mu Yunivasite ya McGill University mu Canada mu 2001. Mmemba w'abakulira ettendekero lya Institute of Chartered Secretaries and Administrators (ICSA).[12]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Oluvanyuma lw'okutikkirwa okuva mu ssomero ly'a mateeka erya Law Development Centre mu 1994, yamala omwaka gumu mu offiisi za PricewaterhouseCoopers, ez'omu Kampala. Mu 1995, yegatta ku kitongole kya URA, nga munnamateeka waabwe. Okuva mu 2012 okutuuka mu 2014, Doris Akol yali Kaminsona w'ebyamateeka n'ensonga ezikwasaganya ekitongole kya Uganda Revenue Authority. Mu kifo ekyo, era yakolako munamateeka wa Kampuni. Mu Gwekkumi 2014, yalondebwa okukulembera ekitongole kya URA.[13] Ofiisi eno yagifuna nga 30 Ogwekkumi 2014.[14] Nga 29 Ogwokusatu 2020, Akol yagibwako obuvunanyizibwa buno era John Musinguzi Rujoki ye yadda mu kifo kye.[15][16][17][18]

Awaadi ze yafuna[kyusa | edit source]

Mu Gwomwenda 2018, Doris Akol yafuna awaadi ya African Women in Leadership Award, okuva mu kitongole ky'abakyala ekya the African Virtuous Women Awards Organisation, ku mukolo ogwategekebwa ku Women Development Centre, Abuja, ekibuga ekikulu ekya Nigeria, mu kwagala okumusiima olw'obukulembeze obulungi.[19][20]

Mu Gwokusatu March 2018, Akol yawangula awaadi ya 2018 Person of the Year Public Excellence Award, okuva eri aba katabo ka African Leadership Magazine, mu kwagala okumusiima olw'obukulembeze n'okuwaayo mu kwongera ku by'enkulakulana.

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://www.pmldaily.com/news/2020/03/exclusive-museveni-earmarks-akol-for-position-of-judge.html
  2. Sam Wasswa (21 December 2021).
  3. Samuel Muhimba (21 December 2021).
  4. Kyamutetera, Muhereza (2020-07-10).
  5. Ategeka, Johnson (2020-07-10).
  6. independent, The (2019-11-01).
  7. Businge, Julius (2020-01-27).
  8. Independent, The (2020-01-14).
  9. https://www.monitor.co.ug/News/National/URA-wants-to-shift-tax-data-decries-increased-evasion-OTT/688334-5417762-31rrdbz/index.html
  10. Daily Monitor (27 October 2014).
  11. Yasiin Mugerwa and Ismail Musa Ladu (24 July 2014).
  12. Vision Reporter (27 October 2014).
  13. https://en.wikipedia.org/wiki/Kampala
  14. Ismail Musa Ladu (31 October 2014).
  15. SoftPower (29 March 2020).
  16. https://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/Doris-Akol-legacy-commissioner-general-URA-Musinguzi-Rujoki/689842-5520100-57unt2z/index.html
  17. Javira Ssebwami (2 April 2020).
  18. Henry Sekanjako (29 March 2020).
  19. Asiimwe, Brian (6 September 2018).
  20. Manishimwe, Wilson (3 September 2018).

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]