Dorothy Azairwe Nshaija Kabaraitsya

Bisangiddwa ku Wikipedia
Dorothy Azairwe Nshaija Kabaraitsya
Yazaalibwa Ng'enaku z'omwezi 15, mu mwezi ogw'ekumineebir, mu mwaka gwa 1974i
Eggwanga lye Munayuganda
Citizenship Munayuganda
Education Kusomero lya yunivasite y'e Makerere eriyigiriza ebikwatagana ku bya bizineensi

Kusetendekero lya yunivasite y'e Makerere

Omulimu gwe Mu nabyabufuzi ng'ate mubalirizi wa bitabo
Gy'akolera Akola mu ofiisi esingaanibwa mu bitundu bya Rwenzori, ng'ono y'evunaanyizibwa ku by'okulaba nga abali mu kibiina ky'eby'obufuzi balonda wamu n'okukiika mu palamenti ng'abakulmebezze beekibiina webakyala.

Mu kibiina ekigatta abakyala mu palamenti Baanka ya Uganda Finace Trust Kampuni ekulakulanya ebyalo by'omu Bunyoro Ekibiina ky'eby'obufuzi ekiri mu buyinza eky National Resistance Movement Palamenti ya Uganda

Basinga ku mumannya ku kya Munabyabufuzi

Dorothy Azairwe Nshaija Kabaraitsya yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 5, mu mwezi ogw'ekumineebiri, mu mwaka gwa 1974, nga munayuganda ow'eby'obufuzi mu disitulikiti y'e Kamwenge, ng'obukugu bwe bwakubeera mubalirizi wa bitabo. Ye mukyala akiikirira ng'era alina akakwate ku kibiina ky'eby'obufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement mu palamenti ya Uganda eye 10.[1]

Okusoma kwe[kyusa | edit source]

Yasoma dipulooma mu bya bizineensi okuva kusomero lya yunivasite y'e Makerere eriyigiriza ebya bizineensi mu mwaka gwa 1998.Mu mwaka gwa 1998, yamaliriza diguli ye mu by'okudulanya bizineensi okuva kusetendekero lya yunivasite y'e Makerere.[1]

Ebimukwatako[kyusa | edit source]

Okuva mu mwaka gwa 2011 okutuuka kati, abadde akola nga kalabalaba w'ekitundu kya Rwenzori ng'ababaka w'abali mu kibiina ky'eby'obuvuzi okubeera nga balonda n'okukiira mu palamenti, mu ofiisi ya gavumenti ey'avunaanyizibwa mu kulaba ng'abali mu kibiina ky'eby'obufuzi nga balonda wamu n'okukiika mu palamenti. Okuva mu mwaka gwa 2016 okutuusa kati, abadde akola ng'omuwanika w'ekibiina ekigata abakyala mu palamenti. Wakati w'omwaka gwa 2000 ne 2004, abadde akola,ng'akulira abavunaanyizbwa ku by'okugaba looni mu baanka ya Uganda Finance Trust. Okuva mu mwaka gwa 2004 okutuuka mu 2009, y'abadde agaba n'okutegeka empapula z'abasaba looni mu kampuni ya Bunyoro Toro Rural Development Company Limited. Okuva mu mwaka gwa 2010 okutuusa nakati, abadde awereza ng'omuwanika w'ekibiina ky'eby'obufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement. Okuva mu mwaka gwa 2011 okutuusa kati, abadde mubaka wa palamenti, mu palamenti ya Uganda .[1]

Yawerezaako mu kakiiko akavunaanyizibwa ku by'embalirira n'ensaasaanya mu palamenti ya Uganda .[1]

Laba ne[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20200406101858/http://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=289