Dorothy Hyuha


Script error: No such module "Infobox person". Dorothy Samali Hyuha mubaka wa Gavumenti Munnayuganda, musomesa, era munnabyabufuzi. Ye Kaminsona omukulu (Ambasada) wa Uganda mu Malaysia . [1] Yaweerezaako nga Minisita Atalina mulimu gwa nkalakalira mu kabineti ya Uganda . [2] Okuva mu 2006 okutuuka mu 2011, Hyuha yaliko omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Butaleja mu Palamenti ya Uganda . Mu kiseera kye kimu, yaweereza ng’omumyuka wa ssaabawandiisi w’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya National Resistance Movement (NRM). [3]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Hyuha yasooka kulondebwa mu Palamenti ya Uganda mu 1996 ng’omukiise wa Disitulikiti y’e Tororo, ekifo kye yalimu okutuusa mu 2006. Oluvannyuma lwa Disitulikiti y’e Butaleja okuyoolwa okuva mu Disitulikiti y’e Tororo mu 2006, yawangula ekifo kya palamenti eky’omubaka w’abakyala ku Disitulikiti y’e Butalehja ku tikiti y’ekibiina kya NRM. Ekifo ekyo y'akirimu okutuusa lwe y'awangulwa Cerinah Nebanda mu 2011 . Okuva mu 2009 okutuuka mu 2011 yaweereza nga Minisita atalina mulimu gw'ankalalira. Mu Gwomunaana 2012, Hyuha y'alondebwa okubeera Kaminsona omukulu owa Uganda mu Tanzania, [4] gye yaweereza okutuusa mu Gwomunaana 2017 lwe y'akyusibwa n’agenda e Malaysia era ku mulimu gwe gumu. Mu kiseera kino aweereza mu kakiiko akakulu aka Republic of Uganda e Malaysia. [5]
Ebimukwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Mmemba mu kibiina ky’ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya NRM. Yali mufumbo eri Daniel Hyuha eyafa mu Gwekkuminebiri 2014 ku myaka 68. Baalina amaka asatu mu Disitulikiti y’e Butalja.
Laba ne bino
[kyusa | kolera mu edit source]Ebiwandiiko ebijuliziddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20171010155716/http://kualalumpur.mofa.go.ug/data-cddetails-1-Ambassador-Dorothy-Samali-Hyuha.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2017-10-10. Retrieved 2023-03-28.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://ugandaradionetwork.com.dedi3883.your-server.de/story/police-deploy-at-dorothy-hyuhas-homes-after-mp-nebandas-death
- ↑ http://www.chimpreports.com/5568-m7-reshuffles-envoys-ssebagala-appointed-presidential-advisor/
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-appoints-Dr-Kiyonga-Uganda-s-ambassador-Beijing/688334-3789164-l1e8sgz/index.html
Ebijuliziddwamu eby’ebweru
[kyusa | kolera mu edit source]Lua error: Invalid configuration file.