Dorothy Kisaka

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Dorothy Kisaka yazaalibwa mu mwaka gwa 1964 nga munamateeka omunayuganda, ng'ate mukungu eya londebwa okubeera nga y'akulira ekitongole ekidukanya ekibuga kya Kampala ekya Kampala Capital City Authority, ng'enaku z'omwezi 12 mu mwezi ogw'omukaaga mu mwaka gwa 2020.[1] Yeeyadira Jennifer Musisi mu bigere eyali akulira ekitongole kino ekya KCCA eyasookera ddala, wabula n'alekulira ng'enaku z'omwezi 15 mu mwezi ogw'ekumineebiri mu mwaka gwa 2018, olwo yinginiya Andrew Mubiru Kitaka,eyali akola n'akulira ekitongole kino okuva mu mwezi ogw'ekumineebiri mu mwaka gwa 2018 okutuusa mu mwezi ogw'omukaaga mu mwaka gwa 2020 2020.[2]

Obulamu bwe n'okusoma[kyusa | edit source]

Kisaka yazaalibwa mu Uganda mu mwaka gwa 1964. Oluvannyuma lw'okusomera ku masomero ga pulayimale ne siniya ageebyalo, yaweebwa ekifo ku setendekero ly'e Makerere mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu, ng'eno gyeyatikirwa ne diguli mu by'amateeka mu mwaka gwa 1987. Eno yagigobereza ne dipulooma mu by'okukola amateeka kutendekero lya Law Development Centre, nga nalyo lisingaanibwa mu Kampala. Yatwalibwa mutedekero lya Uganda Bar.[2]

Diguli ye ey'okubiri yali ya Master of Arts mu by'okukulembera mu bitongole wamu n'okubidukanya (MAOL), nga yagifunira kutendekero lya Uganda Christian University, erisinganibwa e Mukono mu Uganda. Diguli ye ey'okusatu nayi yali ya Master of Arts degree mu by'okulakulanya mu bukulembezze wamu nenkyuka kyuksa (MALIC), ng'eno yagifunira kutendekero lya York St John University, mu ggwanga lya United Kingdom.[2]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Mu bwangu ddala nga yakaweebwa omulimu gw'alina kati yeeyali omuwi w'amagezi omukulu owa pulezidenti eyalondebwa ng'omumyuka wa katikkiro mu batwaala amawulire mu ofiisi ya katikkiro wa Uganda. Okuva mu mwaka gwa 1999 okutuusa mu 2014, yali munamateeka mu kampuni ya Kiyimba—Kisaka & Company Advocates, esinganibwa mu Kampala.[2]

Mu mwezi ogw'okuna mu mwaka gwa 2020, Yoweri Museveni, nga ye pulezidenti wa Uganda yalonda Dorothy Kisaka ng'omuwandiisi w'akakiiko akaali kavunaanyizibwa ku by'ensiimbi za COVID-19. Okuisinziira ebibuuzo ebyamubuziibwa minisitule evunaanyizibwa ku by'

okulabirira ebintu by'abantu nebibeetolodde, yaddamu okufuna ofiisi ng'eyali ow'okubiri mu kukulira ekitongole kya KCCA.[2] Ylayizibwa ng'akulira ekitongole kya KCCA ng'enaku z'omwezi 31 omwezi ogw'omusanvu mu mwaka gwa 2020.[3]

Ebirala byeyali atekako esira[kyusa | edit source]

Kisaka yakolako ng'akulira esomero lya Destiny Consult, okuva mu mwezi ogw'okusatu mu mwaka gwa 2001 okutuusa mu mwezi ogw'ekumineebiri mu mwaka gwa 2014.[2] Destiny Consult somero eribangula abakulembezze nga Dorothy Kisaka y'omu kubaalitandikawo mu mwaka gwa 2001.[4]

Okuva mu mwezi ogw'ekumu mu mwaka gwa 2010 okutuusa mu mwezi ogw'ekumineebiri mu mwaka gwa 2014, Kisaka yakolako nga kamisona mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by'okulonda n'okubala obululu mu Uganda ekya Electoral Commission of Uganda. Yalondebwa ng'omuwi w'amagezi owa pulezidenti, ng'ebiseera ebisinga yeeyali akulira abawi b'amagezi. Esaawa eno akola nha ssentebe w'abanamateeka abali mu kampuni ya 'Development Associates International', ng'era yaakiikirira semazinga wa Afrika ku boodi y'ensi yonna mu Haggai.[2]

  1. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-appoints-KCCA-directors-replaces-Kitaka-with-Kisaka/688334-5575782-srvfrqz/index.html
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 2.6 {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.pmldaily.com/profiles/2020/06/more-you-need-to-know-about-dorothy-kisaka-the-newly-appointed-kcca-boss.html
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/News/National/Key-challenges-that-await-Kisaka-KCCA/688334-5602158-u9cekm/index.html
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20230319210018/https://www.destinyconsultug.com/index.php/who-we-are1/history