Jump to content

EBYOBUGAGGA BY'OMU TTAKA N'ENKULAAKULANA GYE BIREETA

Bisangiddwa ku Wikipedia
Zaabu kyabugaga kyamuttaka

Ebyobugagga by'omuttaka bye bintu eby'enjawulo ebisangibwa mu ttaka wansi, era nga bibeera mu kikula eky'obuwekeweke obwekutte wansi eyo mu ttaka. Ebimu ku byobugagga eby'omu ttaka ebisinga okumanyika kwe kuli: Zzaabu/zzawabu (gold), Ffeeza (silver), amafuta (oil) ne diamond. Mu birala mulimu quartz, mica, amanda (coal), feldspar n'ebirala bingi ddala. Omuntu takoma kukozesa byabugagga bino kukola bintu bye bye yeesambisa mu maka ge, gamba nga ebiriirwamu n'ebinywerwamu eby'obuwangaazi, gaalubindi ezeeyambisibwa mu kusoma, kwotadde n'okukolamu ebyokwewunda eby'omuwendo era ebiyaayaanirwa ennyo; naye omuntu akolamu n'ebyo ebyeyambisibwa mu kuzimba ebizimbe ggaggadde, ssaako n'okukolamu ebiyita mu bbanga gamba nga ennyonyi, ebizungirizi n'ebirala. Olw'okubaawo kw'enkulaakulana eno mu kkolero ly'ebyokuyiikuula ebyobugagga eby'omu ttaka, ssaako enkola empya n'obukodyo ebyeyambisibwa mu kuyiikuula ebyobugagga buno, ebifo bingi mu nsi yonna byongedde okunokolwayo/okulengerwa nga birimu ebyobugagga bino. Kino kyongedde okuleetawo okwekengera ku ngeri omulimu guno gye guyisaamu/ gye gukosaamu enkolagana wakati w'ebintu ebirina obulamu n'obutonde bw'ensi mu bitundu omulimu guno gye gukolerwa. Amakolero g'ebyobugagga eby'omu ttaka eby'enjawulo gabikozesezza mu ngeri ez'enjawulo okuva omuntu lwe yabivumbula. Okugeza, mu Misiri (Egyept) ey'edda, ensaano/obuwunga bw'ekyobugagga ekiyitibwa Lapis Lazul bwakozesebwanga ng'obw'okwekuba/okwesiiga mu kwewunda kw'ambejja baayo. Ennaku zino, ebiva mu byobugagga bino byeyolekera mu bintu bye tukozesa mu bulamu bwaffe obwa bulijjo, gamba nga eddagala lye tusenyesa amannyo, gaalubindi ze tukozesa, nga kw’otadde n'ebimu ku byeyambisibwa mu ddwaliro mu kujjanjaba abantu n'ebisolo.

Engeri okuyiikuula ebyobugagga bino eby'omu ttaka gye kukosaamu obutonde bw'ensi

[kyusa | edit source]
  • Okwonooneka kw'amazzi agali mu bitundu ebiriraanyeewo. Kigambibwa nti ebiseera ebisinga obukutubba n'obupapajjo obuva ku byobugagga bino nga biyiikuddwa, bwe bukulukusibwa ne bwegatta mu mazzi, gamba ng’'enzizi,emigga n'ennyanja, butabula amazzi gano ne gakyuka okuva mu mbeera yaago ey'obutonde. Era oluusi gafuuka ga bulabe eri ebitonde ebikozesa amazzi gano, okuli abantu, ebitonde by'omu mazzi n'ebirala.
  • Enkola eno era etabulatabula n'ettaka. Weesanga ng'ettaka eggimu ery’okungulu lidda wansi ate eryomunda eritali ggime ne lidda kungulu olwo ebyobulimi ne biba nga tebikyasoboka mu bitundu ebyo.
  • Era okuyiikuula kuno kuggyawo ebimera byonna olwo ettaka ne lisigala nga lyereere, ekintu eky'obulabe ennyo eri obutonde bw'ensi.
  • Kino era kiviiramu n'okukulukuta kw'ettaka naddala mu bisera eby'enkuba ne lijjula mu bifo ewandibadde amazzi, okugeza mu nnyanja.
  • Omulimu guno gukyusa n'enkula y'obutonde, anti awabadde ettaka waddawo agawonvuwonvu era nga kifuuka kizibu okubaako ekirala kyonna ky'okolerawo, okuggyako amazzi agatera okulegamawo ate nga nago ga bulabe eri obulamu nga bwe twalabye waggulu.

Olw'enkola ez'enjawulo ezikozesebwa mu kuyiikuula ebyobugagga bino gamba ng'amayinja, wabaawo okubwatuka n'okunyeenya ettaka era nga kino oluvannyuma kyandivaamu okubumbulukuka kw'ettaka ssaako okukosa obulamu bw'ebiramu ebiriraanyeewo n'ensonga endala eziringa ezo.

Enkulaakulana mu kusima ebyobugagga eby'omuttaka

[kyusa | edit source]

Kino singa tutandika okukyanjululiza wano twandizibya olunaku! Naye ko akakiiko akalondoola okukuuma obutonde bw'ensi n'enkulaakulana, kannyonnyola enkulaakulana ey'okuyiikuula ebyobugagga bino nga, okuluubirira okwetuusaako ebyetaago byaffe ebya leero nga tetulowooza ku bya nkya! Ebintu ng'okusuulirira ettaka ewamaze okuyiikuulwa ebyobugagga bino kubisima mu bitundu ebirimu abantu, ssaako okukenenula amafuta okuva mu ttaka, kyandikosa obulamu bw'omuntu singa bikolebwa ng'okukuuma obutonde bw'ensi kiba tekifiiriddwako.