Jump to content

EDDAGALA LY’ENVA N’EBIBALA

Bisangiddwa ku Wikipedia

==EDDAGALA LY’ENVA N’EBIBAGALA== [Natural Pesticides] Okukendeeza ku ndwadde zetufuuna mu maka gaffe tutekwa okulima enva eziwonya endwadde, muno nga otwalidemu kaloti ono awonya amaso, entinamuti, enkolimbo, akayindiyindi, nakati, ejobyo ne ddoodo zino nno zizamu omusaayi, katunkuma ayamba ku plesa, katngulukyumu ono naye azamu amannyi ate era ayamba ku ndwadde z’ekiwanga, ebibala nga emicunwa nebirala. Wabula ate wattu enva n’ebibala wadde nga biwonya endwadde naye ate nabyo birina endwadde ezibirumba nga n yetaagisa okufuuyirwa ku ddagala. Naye ggwe okimanyi ng’eddagala ezzungu erifuuyira ebirime lyabbeeyi nnenne, gwe omulimi ow’enfuuna entono tosobola kulisasulira, ng’ate sikukoma mu butasasula kwoka nga waliwo n’ebizibu ebirengeddwa ebyakabi ku mbeera y’Obutonde bw’Ensi yaffe ne ku bulamu bwaffe bweriyinza okututusaako. N’olw’kyo kati mulimo gwaffe okugezaako okunoonya amagezi g’okuvvunuka ebizibu bino ebiyinza okuvaamu ebirangiddwa waggulu. Amagezi agatandiise okunoonyezebwa ku nsonga eno kwekugezaako okukola eddagala eryaffe nga tulijja mu bikoola by’emiti, omuddo, n’ebyo byetusobola okwefuunira ebitali biragirize bunaayira. ‘’EBYETAAGISA OKUKOLA EDDAGALA LINO ERA EBIGEREZEDDWAKO’’ Ebikoola by’omuti oguyitibwa Melia Aza (lira) oba {Neem] (Muttankuyege), Ekinu, Amazzi ,Omusulo gw’ente oba embuzi.,Evvu (lyanu),Kaamulali (abalagala),Ekitabulirwamu (kidomola oba drum). ‘’ENKOLA N’ENTABULA YALYO’’ Sekula ebikoola by’omuti guno Melia Aza (lira) oba Neem ( Muttankuyege) owezeemu obuzito bwa kilo 3. Ffuna amazzi amayonjo litres 20 ( jerican emu) gateeke mu kidomola oba (ppipa) oba ekimu kyosobola okufuna. Ssaamu kilo 3 ez’ebikoola byewasekudde. Mwebyo ogattemu omusulo ge’ente oba embuzi ebikopo by’gama 8. Ekitegeeza nti buli ebikopo bibbiri bitabula ebikopo by’amazzi 10 be ddu. Ffuna ebikopo by’evvu bisatu bya kikopo bisse mu kintu mwosobola okulikologera osseemu amazzi ekikopo kimu okologe okumala eddakiika 30, bwomala ligatte wamu n’ebyo byona ebimenyeddwa waggulu mu 1,2,3 ne 4. Ffuna kaamulali (piripiri) gulamu 225 omugatte mw’ebyo bye wasoose okutabula obisaanikire oba mu bbinika obutayitamu mpewo, linda ennaku 2 otabulemu oba osuukunde okumala ekiseera, oddemu obikke era ennaku 2 oddemu okutabula, oba okutabula, oba okusuukundamu ng’umulundi ogwasooka, olwo ziba ngaziweze ennaku nnya (4) ; mu kseera kino liba lituuse okukozesebwa ku birime, lisengejje bulungi otandike okussa ku birime. Ekyokwekkanya: eddagala lino ligezesedwa mu kasooli akutta kigabi ate era ne mu birime ebirara. <ref:wwf/lvceep>

   Joyce Nanjobe Kawooya