EMMERE ERINA EBILIISA OMUBIRI GYETANNIRE

Bisangiddwa ku Wikipedia

==EMMERE ERINA EBILIISA OMUBIRI GYETANNIRE== [Feed on balanced diets] Okulya obulungi kya mugaso nnyo. Emmere yonna erna ebiliisa ebeera n’omugaso ku muntu yenna naddala ku mulwadde wa mukenenya era eyamba obubonero obutalabika, eyongerza eddagala okukola n’amannyi, era nekendeeza amannyi ga kawuka .Obutalya bulungi buleetera omubiri obutafuna mannyi agokulwanyisa obulwadde nolwekyo kileetera omulwadde wa mukenenya okunafuwa amangu ate ye atali mulwadde wa mukenenya kimuleetera okukwatibwa endwadde ezitali zimu amangu. Omuntu yenna naddala omulwadde wa mukenenya yetaaga okulya emmere erina ebiriisa omubiri ebyomuwendo.Bwekibba kisoboka kola enteekateeka ye ngeri gynolyangamu emmere enno erimu ebiriisa omubiri nga ogobereera bino, gamba emmere y’okuzimba omubiri proteyini[proteins] mwe muli enyama, ebynnyanja, ebijjanjalo, amaggi, ebinnyebwa, n’amata. Emmere etuwa amannyi mu mubiri, kabohaigreti [carbohydret] nga mwe muli Akalo, akawunga, omukyeere, amatooke, lumonde, ne muwogo. Emmere ey’okukuuma omubiri obutalwala , vitamin [vitamins] nga mwe muli, enva endiirwa, eza kilagala, n’ebibalaokugeza nga ‘’Doodo’ Doodo alina puroteyini mungi, ansigo za dodo ziyinza o’useebwamu obuwunga, nebufumbibwamu obuuji, oba okusiikwamu nga mbaluse. Amatabi galina kalisiyamu [calcium], magineziyamu [magnesium], vitamin A, B ne C, Doodo alina e iriisa ekiyamba okubeera n’amannyi agalwanyisa obulwadde. Bwwtukozesa dodo tuyinza okulwanyisa obulwadde nga kansa [cancer], presa [high blood pressure], nemiya [anemia], ne alagye [allergy]. Birinanya [solanum melongena] naye wamugaso , ebibal ebito ebitanaba kwengera bye bakozesa nbga emmere. Birinanya alina ekiriisa ya vitamin A ne C , kalisiyamu, ebiriisa ebyetaagibwa mu mubiri ggwo, oyinza okumufumba , okumusiika, okumwokya oba okumukolamu supu oba guleevi. Wewale sukaali omungi , omwenge omungi n’emmere ennongosereze. <ref: Uganda@viagroforetry.org>

  Joyce Nanjobe Kawooya