EMPEEKERA NNAKONGEZAKIKOLWA
EMPEEKERA NNAKONGEZAKIKOLWA Adverbial Clauses
Clause bibeera bigambo ebiba biwandiikiddwa nga biri wamu era nga mulimu ekikolwa, naye tebimalaayo bulungi makulu. Mu Luganda tulina clauses ezimanyiddwa obulungi era ze zino era nga ziri mu biti bitaano.
Empeekera Nakongezakikolwa ey’ensonga
[kyusa | edit source]Adverbial clause of reason
Empeekera eno buli lw’ekozesebwa eba ewa ensonga enkulu eyavaako ekikolwa ekiba kiri mu “clause” okukolebwa oba ekikolwa ekyo okubaawo. Mu bufunze eba eddamu ekibuuzo “LWAKI”. Eby’okulabirako:
- Omukyala yanoba (lwaki) yakoowa emiggo.
Omukyala yanoba kubanga yakoowa emiggo.
- Enkuba teyatonnyanga (lwaki) baagigema.
- Enkuba teyatonnya kubanga baagigema.
- Abaana tebakyasoma (lwaki) ebisale by’essomero birinnye nnyo.
Abaana tebakyasoma kubanga ebisale by’essomero birinnye nnyo.
- Omusomesa takyajja (lwaki) omusaala afuna mutono.
Omusomesa takyajja kubanga omusaala afuna mutono
Weetegereze:
Ebitundu ebisaziddwako mu mboozi ezo waggulu bye tuyita empeekera nakongezakikolwa ez’ensonga.
Empeekera nnakongezakikolwa ey’ekiseera
[kyusa | edit source]Adverbial clause of time
Empeekera eno bw’ekozesebwa eba eraga ekikolwa ekikulu mu sentensi wekyakolerwa era empeekera eno eba edda mu kibuuzo “ddi?”. Eby’okulabirako:
- Yatuuka ku ssomero. Abaana baali bayingira.
Yatuuka ku ssomero ng’abaana bayingira.
- Baatubikra omufu. Obudde bwali busasaana.
Baatubikra omufu ng’obudde busasaana.
- Mugerwa yatuuka e Nateete ku ssomero. Kyagaba yali yaakadda eka.
Mugerwa yatuuka e Nateete ku ssomero nga Kyagaba yaakadda eka.
Empeekera Nakongezakikolwa ey’empisa
[kyusa | edit source]Adverbial clause of manner
Empeekera eno ekozesebwa okulaga engeri ekikolwa ekikulu gye gyakolebwamu oba gye kikolebwamu era eba edda mu kibuuzo “tya?”.
Eby’okulabirako:
- Namusoke atambula. Yenna yeerinnyako.
Namusoke atambula nga yenna yeerinnyako.
- Namukasa adduka. Atunuulira akabina ke.
Namukasa adduka ng’atunuulira akabina ke.
- Musisi alya. Talumwa njala.
Musisi alya ng’atalumwa njala.
- Taata atema oluku. Talina maanyi.
Taata atema oluku ng’atalina maanyi.
Empeekera nakongezakikolwa ey’ekifo
[kyusa | edit source]Adverbial clause of place
Empeekera eno ekozesebwa okulaga ekifo ekikolwa we kiba kikolerwa oba we kyakolerwa era eba eddamu ekibuuzo “wa?”.
Eby’okulabirako:
- Kkeesi yagiteresa we baamulagira.
- Lukka teyatyayo gye baamutuma.
- Kalule gye baamutuma teyagendayo.
Empeekera nakongezakikolwa eyakakwakkulizo
[kyusa | edit source]Adverbial clause of condition
Empeekera eno efaananako ne sentensi eziri mu mbeera eyakakwakkulizo (conditional mood). Empeekera eno eba etulaga ekintu ekirina okusooka okubaawo n’ekirala kiryoke kibeewo. Ekyo ekirina okusooka okubaawo kye tuyita akakwakkulizo.
Eby’okulabirako:
- Singa yalina ssente yali wa kugenda.
- Maama bw’alijjukira ebintu bye ndibimuwa.
- Nja kukwoleza engoye zo singa on’ompa ensimbi.
- Singa enkuba tetonnya tujja kusennya enku.
Weetegereze:
Ebiseera ebimu empeekera nakongezakikolwa zitabulwatabulwa ne nakongezakikolwa “adverbs”. Wabula omuntu abeera alina kutegeera bino; Nakongezakikolwa kiba kigambo kimu ekinnyonnyola ekikolwa lwe kikolebwa, wa we kikolerwa oba engeri gye kikolebwamu. Ate yo empeekera nakongezakikolwa biba bigambo ebisukka mu kimu ebiyungibwa ku kikolwa ekikulu mu sentensi.