Jump to content

ENKYUKAKYUUKA MU MBEERA Y’OBUDDE BW’ENSI N’ENTEEKATEEKA MU BITUNDU OMULI ENNYANJA NNALUBAALE

Bisangiddwa ku Wikipedia
EFFECTS OF CIMATE CHANGE

==ENKYUKAKYUUKA MU MBEERA Y’OBUDDE BW’ENSI N’ENTEEKATEEKA MU BITUNDU OMULI ENNYANJA NNALUBAALE== [CLIMATE CHANGE POLICY] WITHIN THE LAKE VICTORIA BASIN Waliwo ekiwandiiko ekyakolebwa okusinzira ku kwekennenya okwakolebwa okulondoola entambula y’ebikolebwa okussa mu nkola ebisuubizo n’entekateeka za [East African Community Climate Change Policy (EACCCP] okukendeeza obulabe obuva mu mukka ogufukumuka okuva mu makolero ne mu bintu ebirala, awamu n’okukyuusa obuwufu okusobola okutambula n’enkyukakyuuka y’embeera y’obudde bw’ensi mu bitundu omuli ennyanja Nnalubaale. Naddala ku nsonga ezikwata ku by’obulimi, obulunzi, eby’ebdiisa n’okubeera n’emmere ey’ensibo. Okwekenneenya okwakolebwa kwatongozebwa ekitongole kya [East African Sustainability Watch Network ( EA Suswatch Network] era nga ye ntabiro y’ebibiina binnakyeewa ebisangibwa mu Uganda, Kenya, ne Tanzania. Ebibiina bino birina eggwndisizo lyabyo mu kitongole kya [ Uganda Coalition for Sustainable Development] [UCSD] e Kampala mu Uganda. Okwekennenya kuno kwakolebwa nga y’emu ku ntekateeka ya ppuloojekiti eyitibwa [EA SusWatch Network LVEMP II CIVIL Society Watch Project ( Nov 2011 – Oct 2014) ] . Ppuloojekiti eno eraafubana okulaba nga ebigendererwa bya [Lake Victoria management Project (LVEMP) II ne EACCCP ] bituukirizibwa. Okwekennennya okwakolebwa mu byalo mu mwaka 2012 kwatunuulira nnyo amaanyi agakozesebwa mu byalo mu kufumba gamba nga Amanda, enku n’ebirala. So nga ate mu mwaka 2013 okwekennenya okwakolebwa kwatunuulira nnyo engeri abantu gyebafunamu amazzi n’embeera y’obuyonjo. Entekateeka n’enkola ya [EACCCP] ewa enkizo ensonga y’okukyuusa obuwufu okusobola okutambula n’enkyukakyuuka y’embeera y’obudde bw’ensi. Oluvanyuma n’elowooza ku kukendeeza obulabe obuva mu nkyukakyuuka y’embeera y’obudde bw’ensi. Ekirala enkola ya EACCCP essa essira ku bukulu bw’ensonga y’okuteeka enkyukakyuuka zino mu ntekateeka y’enkulakulana y’eggwanga nga lyona awamu neya’mawanga agali mu kitundu kino .Kino kikolebwa nga batunuulira ebitongole ebikoseddwa ennyo enkyukakyuuka y’embeera y’obudde bw’ensi so nga ate ebitongole bino birina obusobozi okuyamba ko kukukendeeza obuzibu obuva mu mbeera y’enkyukakyuuka eno awamu n’enkulakulana ey’obuwangaazi mu mawanga gano ag’omukago n’ekitundu kyonna okutwalira awamu.. Ekitundu ekyobugwanjuba bwa Africa [East Africa] kyesigamye nnyo ku by’obulimi n’obulunzi so nga ate nabyo byesigamye nnyo ku kutonya kw’enkuba . Kino nno kyabulabe nnyo era kiteeka obulamu n’obuwangaazi bwa’abantu abbali mu byalo ssaaako n’e nsonga ekwata ku mmere ey’ensibo okubeera mu bulabe obwamanyi olw’embeera y’obudde bw’ensi ekyukakyuukana. Era kimanyiddwa nti abantu abaweza ebitundu 80% ababeera mu kitundu ky’ebuvanjuba bwa Africa basinga kukola mulimu gwa bulimi awamu n’okulunda . Okulima n’okulunda mu kitundu kino bikosebwa nnyo olwokubanga byesigama ku kutonya kw’enkuba etonya ebbalirirwe . Kuno kwossa obutaba n’abintu ebyetaagisa okusobozesa okuterekamu amazzi, enkozesa y’ettaka etali nungi, tekinologiya akyaali owemabega, ssaako n’ennima etali ya mulembe. Okunonyereza Kuno kwazuula nti mu bbanga eriyise, waliwo obutyaabaga obugudde mu bitundu bw’ensi eby’enjawulo olw’enkyukakyuuka mu mbeera y’obudde bw’ensi yonna. Embeera y’ensi omusangibwa nekitundu kino ssaako n’ebyenfuna, ebiteeka ekitundu kino ku ndebolebo y’okufuna obulabe obwamanyi obuva mu nkyukakyuuka mu mbeera y’ebbugumu awamu n’obunyogovu. Mu nsangi zino waliwo obubonero obwenkukunala obwoleka enkyukakyuuka mu mbeera y’obudde bw’ensi. Embeera eno yeyolekera mu kyeeya ekiddiringana, ettaka okuggwamu amazzi, n’okweyongera kw’ebbula ly’emmere eribwa ssaako n’eyebisolo ebirundibwa awamu n’ebsangibwa mu nsiko. Kuno kweyongerako obulwadde obubalukawo olw’enkyukakyuuka mu mbeera y’obudde bw’ensi. Waliwo kremya, attangira abantu okukyuusa obuwufu okusobola okutambula n’enkyukakyuuka mu mbeera y’obudde bw’ensi, olw’ebyo ebivudde mu nkyukakyuuka zino. Ebitundu ebisinga obungi murimu obwaavu obukudde ejjembe, era n’ebivudde mu nkyukakyuuka mu mbeera y’obudde bw’ensi, byonna bigootanyiza entekateeka ezikolebwa okukendeeza embeera y’obwaavu.Kino kiremessa okutukiriza ebimu ku bilubirirwa bye kyaasa [Millennium Development Goals MDGs]. So nga ate nga enkulakulana y’amawanga agali mu kitundu eky’obugwanjuba bwa Africa [East Africa] yesigamye nnyo ku by’obulimi n’obulunzi wabula nga nabyo bysigamye nnyo ku kutonya kw’enkuba. Enkyukakyuuka mu mbeera y’obudde bw’ensi eyongedde okusajjula n’okwoleka endyambi eri mu kitundu kino era nga kino kigenda kwongera okugootanya entekateeeka ezikolebwa okukendeeza obwaavu awamu n’endyambi. Endyambi enafuya nnyo obulamu bw’abantu awamu n’okubalemesa okugumira obuzibu obuva mu nkyukakyuuka y’embeera y’obudde bw’ensi, ssaako n’okulemererwa okwekulakulanya. Waliwo embeera eyekwanaganya n’enkyukakyuuka mu mbeera y’obudde bw’ensi eyeyoleka mu bulambulukufu oba mubutali bulambulukufu mu kuvuba eby’ennyanja mu Nnyanja enene [Marine] awamu n’okuvuba mu migga n’enyanja aziri munda mu mawanga . Kino kya bulabe nnyo eri amawanga agesigamye ku musingi ogw’eby’obuvubi, abantu abali mu mawanga ago ssaako naabo abakola omulimu gw’okuvuba eby’ennyanja. Eby’obuvubi awamu n’abavubi bakozesebwa mu ngeri ez’enjawulo olw’enkyukakyuuka mu mbeera y’obudde bw’ensi. Muno nno mulimu engabanya n’obungi bwe byennyanja ebivubbwa mu Nnyanja enene[Marine], awamu n’okuvuba mu migga n’ennyanja eziri munda mu mawanga , ebifo ebyennyanja webizaalira n’ewebibeera ssaako n’okufuna amazzi amalungi [fresh water]. Eby’obulunzi biyamba nnyo embeera y’ebyenfuna by’amwanga agali mu kitundu kino era kimanyiddwa nti kye kimu kubisinga okuvaamu ensimbi ennyingi. Wabula, abalunzi abainga obungi nga mwe muli naabo abalunda Ente, baavu nga balundira ku musingi gwa wansi , era nga basanga okusoomozebwa omuli n’embeera y’obudde bw’ensi ekyukakyuuka. Olw’obwaavu obukudde ejjembe , enkyukakyuuka mu mbeera y’obudde bw’ensi etaataganyizza nnyo abalunzi bano, enafuya obulamu bw’abwe awamu n’okubalemesa okugumira obuzibu nga mwe muli n’butasobola kweterekekera mmere ey’ensibo. East African Community Climate Change Policy [EACCCP] eruubirira okulungamya amawanga ag’omukago n’ebekikwatako bonna okusasobozesa okukola entekateeka eyawamu okulwanyisa obulabe bwonna obuva mu nkyukakyuuka y’embeera y’obudde bw’ensi mu kitundu kino awamu n’okulaba nti wabaawo enkulakulana ey’obuwangaazi mu mbeera y’abantu awamu n’eby’enfuna. Okusoomoza okuliwo kwe kuba nti enkola eno eya EACCCP tennamanyika bulungi naddala eri amawanga agomukago. <ref> www.ugandacoalition.or.ug

Joyce Nanjobe Kawooya