Ebbango

Bisangiddwa ku Wikipedia


Enfaanaa y'ebbango[kyusa | edit source]

Ebbango[[1]] kizibu ekibeera mu baana abazaalibwa nga kituukawo oluvannyuma lw’eggumba ery’omu mugongo n’obususu obw’oku lukizi okulemererwa okwebikka. Ebbango erisinga okulabika lye’ryo erikwata wansi mu mugongo wabula nga lisobola n’okukwata mu makkati g’omugongo ne waggulu ku bulago.

Ebika[kyusa | edit source]

Ebbango lyawulwamu ebika bisatu nga buli buli kimu kibeera n’obubonero bwakyo. Ekika ekya Occulta kyo tekiba na bubonero bw’amaanyi nnyo wabula nga osobola okukirabira ku buno; ekipaapi ekiriko obwoya, ebbala ekkwafu, ekinnya ku mubiri, okuzimba okubeerawo ku mugongo mu kifo awabeera wateegatta bulungi. Ekika ekyokubiri kye kya Meningocele kyo kiba kya maanyiko era nga kireeta ebizibu nga ekisawo ky’amazzi ekimera mu bbanga olukizi we lwagaana okwegattira. Ekika ekyokusatu kye kya Myelomeningocele oba ebbango ery’ebikkudde nga lino lye lisinga okubeera ery’obulabe.

Ebizibu ebijja n'ebbango[kyusa | edit source]

Ebizibu ebijja n’ebbango kuliko okukaluubirirwa mu kutambula, obuzibu bw’akawago n’ekyenda, n’obuzibu mu kusoma.

Ebireeta ebbango[kyusa | edit source]

Ebbango litwalibwa okuba nga lireetebwawo ensonga eziva mu mubiri gw’omuntu eziyinza okuba ensikire wamu n’ezo eziva ku butonde bw’ensi obumwetoolodde. Singa mwana asoose okuzaalibwa abeera ng’alina ebbango oba ng’omuzadde alina ebbango, emiksa giba 4% omwana addako okuzaalibwa ng’alina ebbango.

Obutaba na folic acid ng’omukyala ali lubuto nakyo kikola omulimu gwamaanyi mu kuleetawo ekizibu kino. Ebirala ebiteeka omuntu mu katyabaga k’okufuna ekizibu kino lye ddagala erikozesebwa okusobola okukkakkanya abo abeesika, obuyimbulukufufu, n’obutafa bulungi ku bulwadde bwa ssukaali eri abo ababulina.

Okukebera[kyusa | edit source]

Okukeberebwa kusobola okukolebwa ng’omwana tannazaalibwa oba ng’amaze okuzalibwa. Ng’omwana tannazaalibwa omkyala aggyibwako omusaayi era nga singa musangibwamu ekirungo kya alpha-fetoprotein, emikisa gy’omwana egy’okuzaalibwa n’ebbango gibeera mingi. Ng’omwana amaze okuzaalibwa asobola okukubibwa ebifaananyi mu ddwaliro okukakasa oba ng’alina ebbango.

Engeri y'okutangira ebbango[kyusa | edit source]

Ebbango lisobola okutangirwa singa maama ng’ali lubuto afuna folic acid amala mu mubiri nga tannafuna ne ng’amaze okufuna olubuto. Kyazuulibwa nti singa akwata asidi ono n’amussa mu kawunga kiba kikola bulungi nnyo. bbango ery’ebikkula lisobola okulongoosebwa ng’omwana azaaliddwa oba nga tannazaalibwa ne liziba. Abantu abalina ekizibu kino basobola okuyambibwa nga baweebwa obugaali mwe basobola okutambulira.