Ebbombo nga Eddagala

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ebbombo gubeera muddo nga gutera okusangibwa mu bisaka, ku ttale n'ebifo ebirala ku lukalu. Ebbombo libeera n'ebikoola bigazi era nga liranda era bwe likula obulungi litera okuteekako ekibala ekyekulungirivu. Ekibala ekyo bwe kyengera kibeeera kya kyenvu era kigambibwa okuba nti kiriibwa emisota. Abantu abamu ekibala ekyo bakiyita emmere y’emisota.

Ebika by’ebbombo[kyusa | edit source]

Ebbombo lirina ebika bibiri. Waliwo ebbombo eririna ebikoola ebinene ate waliwo n’ebbombo eririna ebikoola ebitono. Eryo eririna ebikoola ebitono liyitibwa, kabombo.

Ebbombo nga eddagala[kyusa | edit source]

Ebbombo limu ku ddagala egganda eryeyambisibwa okuvumula endwadde enganda singa omuntu abeera takozesezza ddagala lya kizungu. Wabula ebbombo eryo era liriko obulombolombo obulala bwe likozesebwako mu Buganda.

Ebbombo eryogerwako wano ng’eddagala mu Buganda ly’eryo eririna ebikoola ebinene.

Ebbombo ddagala nnyo wano mu Buganda. Kikozebwa ku ndwadde zino:

  • Ebbombo liwonya omusajja nga singa omuntu abeera n'omusujja asobola okuyenga ebikoola by'ebbombo olwo amazzi agavaamu n'atabikamu evvu olwo bw'aganywa omusujja asobola okuguvumula nga takozesezza ddagala lya kizungu.
  • Ebbombo liwonya ekifuba era wano omuntu asobola okuyenga ebikoola by'ebombo olwo n'alinywa ekifuba ne kivumulwa. Mu bbombo muno era omuntu asobola okutabikamu ennimu.
  • Singa omuntu abeera n’amabwa mu bulago, addira ebikoola by'ebbombo n'abigatta wamu n'omwetango olwo n’abiyenga amazzi agavaamu bw'oganywa gawonya amabwa gano ag'omubulago.
  • Ebbombo likozesebwa okunaabibwa abantu abalina olusu olubi naddala abavubuka.
  • Waliwo ekika ky'ebbombo tekirina obukoola obutono era nga kano kalina engeri y'olugimbigimbi era olw'ekikula kyako kayitibwa akabombo era kano abalunzi b'enkoko bakawa enkoko kuba kawonya obulwadde mu nkoko. Kagambibwa n’okuba nti kaziyamba okubiika amagi agalina enjuba eyakyenvu obulungi.

Emigaso egy'ebbombo emirala mu Buganda[kyusa | edit source]

Ebbombo ligattibwa wamu n'olweza n'eruteekebwa mu kibbo ky'abalongo era ebombo gwe kugumu Ku muddo omukulu ogukozesebwa mu balongo. Ebbombo lino liriko ennyimba ez'obuwangwa eziritambulirako okugeza oluyimba lw'abalongo "abombo kaali ka baana" Singa omuntu yenna azaala abalongo ne basalawo okubayisa mu mpisa ey'Ekiganda, Ssaalongo emikolo gy'abalongo egisooka agikola yeesibye ebbombo nga akalombolombo.

Waliwo ekiwanuuzibwa nti singa omuntu abeera abaddeko mu kkomera n'avaayo, nga tannakola kintu kyonna alina kusooka kunaaba ku bbombo eriyengebwa wamu n'omwetango olwo ebisiraani byonna by’azze nabyo ewaka ne bimuvaako.

EBBOMBO/OLUJJULA[kyusa | edit source]

Lirandira ku ttaka era lisangibwa ku ttale. Liba n'ekibala nga kyetoloovu nga kya kyenvu ng'era kiriko obuggwaggwa.

Obusigo buba bumyufu era kiba kimyufu munda.

Kitera okweyasa bwekiba kikaze nnyo.

ENDWADDE N'ENKOZESA[kyusa | edit source]

1.Ekifuba: fumba, bwe liwola,ng'onwa. Osobola okuyenga mu vvu, n'onywa.

2.Kavubuka: kunya mu mazzi, weekuute ng’onaaba.