Ebigimusa okuvamu nnakavundiira

Bisangiddwa ku Wikipedia

EBIGIMUSA OKUVA MU KASASIRO {COMPOSIT MANURE] Wetutuukidde okufulumya bino, nga ffena tukimanyi nti ebiigimusa ebizungu bigula buwanana omulimi owa bulijjo nga tasobola kubisasulira. N’olw’ekyo ky’ekiseera okuyamba omulimi ono okuvuunuka obuzibu buno, nga tugezaako okumuyIigiriza okwekolera ebigimusa ebibye okuva mu bisaaniiko byasobola okufuna okuva mu fumbiro lye, mu nnimiro ye n’ebikoola by’emiti ebimwetoolodde, olw’okumusobozesa okulongoosa ettaka lye. WANSI Y’ENGERI ENNYANGU OMULIMI GY’AYINZA OKUKOLAMU EBIGIMUSA NG’EKINNYA {COMPOSIT PIT] Okutegeka ekinnya ekyy’okukoleramu ebigimusa bino:- Londa ekifo, ekisikirize , gamba wansi w’omuti, mu bitooke oba okuzimbako ekisikirize kibe kumpi n’ennimiro mw’ogenda okubissa. Ekipimo –kibeere kya futi 4 ne nnyingo 11 obugazi, obuwanvu futi zoba oyagadde okusinziira ku bikozesebwa by’olina, okukka wansi –ekinnya sima 30cm okutuuka ku futi 4. Bw’omala okusima ng’ebiseera bya musana kifukiriremu amazzi kibe kiweweevu. EBYETAAGISA O KUKOLAMU EBIGIMUSA Bw’oba n’ebinogeddwako kasooli oba omuwemba Omuddo omukalu, n’ebikoola by’emiti ebikalu Ebintu ebibisi oba ebisaaniiko okuva mu ffumbiro Obusa bw’ensolo gamba ente, embuzi, embizi, obumyu, kalimbwe w’enkoko bwoba osobodde okumufuna Ettaka erya wagulu, bw’oba osobola okufuna erya wansi w’omuti oba mu nnimiro Evvu n’amazzi. ENKOLA Omwaliiro ogusooka gwandibadde gw’ebyo ebinogeddwako kasooli, ebivuddemu entungo, omuddo omukalu oba ebikoola ebikalu nga bitemeddwatemeddwa mu butundutundu obutono ddala. Bw’oba nga wasobodde okufuna ebinogeddwako kasooli. nga by’ososezza wansi, zzako omuddo n’ebikoola ebikalu, obugulumivu bwa 10 cm bikkako obutaka butono nnyo ofukirireko otuzzi. Omwaliiro oguddako ogwokusatu, gube gwa bikoola oba bintu bibisi obugulumivu bwa 10 cm -15 cm nga nabyo bitemeddwatemeddwa mu butundutundu. N’ebisembayo bw’oba olina obusa bw’ensolo oba kalimbwe w’enkoko gwozzako n’olyoka obikako ettaka kungulu lyojje wansi w’omutti oba mu nnimiro. EBY’OKWEKKANYA: Ebikozesebwa byonna bisaanye bibe mu butundutundu obutonotono’olw’okubisobozesa okuvunda amangu Osobola okudinngana , okukunganya nga bwe kiragiddwa waggulu okutuuka lw’ofuna obungi bw’ebyo ebyetaagisa. Ffuna omuti ogusimbe mu bintu bino by’okunnganyizza, okukola ng’ekipima ebbuugumu {Themometer], ennaku bwe ziwera 4 sikamu omuti okulaba oba bitandise okuvunda. Ate bwoddamu okubikebera n’osanga ng’omuti guwoze kiba kitegeeza nti bituuse okukyusa. Ebigimusa bino bikyusibwa buli nnaku 4 okumala enfunda 3 – olwo biba biweza ennaku 12 olwo n’okweyambisa biba bituuse era obijja mu kinnya kino n’obisa mu kinnya ekirala n’olinda biwole nga wayiseewo esande emu otadiika okuusa ku birime. Ref WWF/lvceep VI Agroforestry