Ebirungo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ebirungo[kyusa | edit source]

Bino Ebirungo ebyogerwako byebyo naddala omulimi nga yetabulira emmere y'ebisolo. Ebirungo ebivaamu emmere ereeta amaanyi, Bino bizingiramu kasooli, omuwemba, obulo, omuceere, engaano, kyakyu wa kasooli, kyakyu w’omuceere, kyakyu w’engaano, muwogo omuse nebirala,Wabula, omulunzi asaanidde amanye omutindo gwa buli kirungo naddala ogwo ogwa kyakyu. Ekyokulabirako kye kya kyakyu wa kasooli. Ono alimu ebika bina oba n’okusingawo. Waliwo oyo kyakyu omulungi nnamba emu, kyakyu wa kasooli nnamba emu n’ekitundu, kyakyu wa kasooli nnamba bbiri ne kyakyu wa kasooli addugala. <ref: www.maaif.org.ug> <Ref: wwf/lvceep>