Ebiseera

Bisangiddwa ku Wikipedia

Mu Luganda tulina ebiseera ebikulu mukaaga omukolerwa ebikolwa eby’enjawulo. Buli kiseera kirina akabonero kaakyo akakyoleka. Kakabonero ako tukayita akawango (affix).

  • Ekiriwo/ekya bulijjo
  • Ekyakayita
  • Ekyayita
  • Ekirijja
  • Ekinajja
  • Ekyayise

Ekiseera ekyakayita/ekiyise[kyusa | edit source]

Ekiseera kino tukikozesa bwe tuba nga twogera ku kikolwa ekibaddewo oluvannyuma lw’essaawa mukaaga emabega nga kimaze okubaawo. Ekikolwa ekirimu ekiseera kino kiragibwa n’akabonero aka –e ku nkomerero yaakyo. Eby’okulabirako: - Nkoze - Nnyimbye - Bakutte - Batambudde Mu ngeri yeemu, ekikolwa ekiyambi –badde kyeymbisibwa nnyo singa tuwandiika emboozi erimu ekikolwa ekiri mu kiseera ekyakayita. Okugeza; - Abadde akola. - Mubadde mulya. - Babadde basoma.

Ekiseera ekiriwo/ekya bulijjo[kyusa | edit source]

Ekiseera ekiriwo (present continuous) n’ekieera ekyabulijjo (present simple) mu Luganda bizibu okwawula mu mpandiika naye omuntu bw’abeera anyumya emboozi kiba kyangu okwawula ekiseera mw’aba ayogerera. Mu biseera bino byombi temuli buwango bubiraga era ekikolwa kisigala mu mbeera yaakyo nga tekikyusiddwamu. Eby’okulabirako:

  • Bulijjo tulya bulungi
  • Abaana bazannya mupiira kati.
  • Ndeka nsoma bitabo byange.
  • Buli lunaku nteekwa okuyimba.

Ekiseera ekinajja/ekijja[kyusa | edit source]

Tukozesa ekiseera ekijja bwe tuba nga tulaga nti ekikolwa kigenda kukolebwa mu bbanga eriri wakati w’essaawa omukaaga n’abiri mu ennya. Bwe tuba tuwandiika sentensi erimu ekiseera ekinajja, mu kikolwa twongeramu ennyingo eraga ekiseera ekyo –naa- era akawango ako tukawandiika oluvannyuma lw’okwandiika nakasigirwa enkozi. Eby’okulabirako;

  • Nnaamulaba enkya.
  • Tunaagenda ku makya.
  • Banaalima akawungeezi.
  • Anaasoma enkya.

Ekiseera kino oluusi tuyinza okukiraga nga tweyambisa ekikolwa ekiyambi jja nga tukyeyambisa oluvannyuma lw’okuwandiika nakasigirwa enkozi era nga ekikolwa ekiyambi “jja” kyekiyimirirawo mu kifo awandibadde akabonero k’ekiseera –naa-. Eby’okulabirako:

  • Tujja kugenda enkya.
  • Bajja kulima akawungeezi.
  • Ajja kusoma enkya.

Ekiseera ekirijja[kyusa | edit source]

Singa omuntu ayagala okwogera ku kikolwa ekiribaawo oluvannyuma lw’essaawa abiri mu nnya n’okweyongerayo akozesa ekiseera ekirijja era ekiseera kino kiragibwa n’akayingo ka -li- kawandiikibwa oluvannyuma lw’okuwandiika nakasigirwa enkozi. Eby’okulabirako:

  • Olimulaba ng’azze.
  • Balisoma ku ssande.
  • Ndigenda naawe.
  • Alibatwala ku mmande.

Ekiseera kino kyo tekirina kikolwa kiyambi.

Ekiseera ekyayise[kyusa | edit source]

Kino kibeerawo mu bbanga eriri wakati w’essaawa omukaaga n’ekkumi n’ebbiri okuva ekikolwa we kyakoleddwa. Ekiseera kino kigatta ebintu bibiri, ekiseera ekyayita, kye tulaga n’akawango –a- ate n’ekiyise kye tulaga n’akawango –e-. Awo nno, akawango akalaga ekiseera kino ke kano, -a-e. Okugeza; Asoma ____yasomye

Ekiseera ekyayita[kyusa | edit source]

Kino kibeerawo okusukka essaawa abirimu nnya okweyongerayo okuva ekikolwa lwe kyakolebwa era nga kiragibwa n’akabonero aka -a-. Okugeza;

  • Twalya
  • Yakaaba
  • Yafa
  • Baabireeta
  • zadduka

References[kyusa | edit source]

A Luganda Grammar by E. O. Ashton, E. M. K. Mulira, E. G. M. Ndawula, A. N. Tucker