Ebiwangaaliro (Habitats)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Gakuweebwa Muwanga ! Noonya ne "ekiwangaaliro(Habitat)!

Ebiwangaaliro(habitats)

Mu entababutonde (ecology) , mulimu entababiramu(biomes), bino nga biba bibinja bya biramu ebigumira embeera eri mu kitundu ekimu , ekirimu obuwangaaliro obw’enjawulo ku bitundu ebirala.Ekiwangaaliro kiba kitundu ku entababiramu(Biome) .

Ekiwangaaliro kye ki?

Omulamwa gw’ekiwangaaliro gwefaananyiriza omulamwa gw’obuwangaaliro naye ekituufu kiri nti yadde emiramwa gino girina akakwate wabula amakulu gabyo gawukana , ensonga lwaki ogusooka gutandika n’akawango akasookeso(prefix) “ eki---“ ate oguddako gutandika n’akawango akasookeso “obu…”.


Ekiwangaaliro nkizimbye okuva mu bigambo by’oluganda “ekifo ebiramu mwe biwangaalira”.Ekiwangaaliro mu bungi biba “ebiwangaaliro”(habitats).


Obuwangaaliro nkizimbye okuva mu bigambo by’oluganda “obutonde bw’ensi mwe tuwangaalira”. Obuwangaaliro mu bungi kisigala “obuwangaaliro”. Kiwedde !!


Ekigambo ky’olungereza "habitat" ekitegeeza "ekiwangaaliro" kiva mu kya Lulattini "okugumba "(to be home to ). Eky’olungereza habitat kitegeeza ekifo ekikula(species) we kibeera oba we kiwangaalira.

Ekiwangaaliro n’olwekyo kisonjolwa nga ekifo eky’obutonde oba “obuwangaaliro”(environment) ebimera, ensolo , n’ebiramu ebirala we bibeera .

Ebiwangaaliro bisinziira ku byetaago bya bibinja bya biramu (populations) .Buli kibinja kya kiramu kiba n’ekiwangaaliro kyakyo okusinziira ku bwetaavu bwakyo obw’obulamu .Singa ekiwangaaliro kikyuka ne kiba nga tekikyalimu mbeera ekikula gye kyetaaga okubaawo , kiba kirina okukyuka n’embeera oba ne kisenguka .

Ebikula(species) eby’enjawulo biyinza okusenga mu kiwangaaliro kye kimu .Eky’okulabrako mu nnyanja mubeeramu ebyennyanja, emisota, goonya, ebinyonyi ebimu, luyonsa ezimu nga lukwata, n’ebiramu ebirala ndulundu. Mu bibira era namwo osangamu ebikula eby’enjawulo.

Biwansolo (fauna) ebisangibwa mu buli ntababiramu (biome), bikwatagana n’ensobozeso z’ebitali biramu(abiotic factors) n’ekyo ekiva mu ntuumo y’ebiramu(biomass) okuva mu ntababimera(vegatation) esingayo mu kitundu kinna kimu. Entababiramu (biomes) ziri mu biti bibiri :

• Entababiramu ezo ku lukalu(Land biomes).Era bino biyite ebiwangaaliro ebyo ku lukalu(Land habitats)

• Entababiramu ezo mu mazzi (equatic or marine biomes).Ea bino biyitibwa biwangaaliro ebyo mu mazzi(Water habitats).