Ebyamalimiro
"Ebyamalimiro" (Agriculture)
Kino kifundiwazo ky’ekigambululo ky’oluganda “ebikolebwa ku malundiro n’ennimiro”. Oluusi tukigandawaza ne tukiyita "agirikakya" kyokka omulembe omutebi gugezaako nga bwe kisoboka okukozesa emiramwa egitali myewole.
Emiramwa egyetaagisa
(a) Ennimiro (garden). Manya essamba (plantation) eba nnimiro ennene.
(b) Eddundiro (place for animal keeping))
(c) Eddimiro (farm)
Eddimiro = eddundiro + ennimiro
Mu bungi: Amalimiro (farms)
When we add the prefix “ebya” to “amalimiro” (farms) we derive the Luganda concept “ebyamalimiro” meaning “agriculture”.
(d) Ennyanguyirizi (machines)
• Ennyanguyirizi z’amalimiro (farm machinery)
(e) Ekitambuzo (Mechanics)
• Ebyamalimiro eby’ebyekitambuzo (mechanized agriculture)
Ebyamalimiro biva mu byabutonde Katonda bye yatugonnomolako, omuli ettaka, ekitangaala, tempulikya (ebbugumu ery’ekigero), amazzi oba enkuba, n’ebirala. Birimu okulima emmere y’abantu n’ebisolo, okulima emiti, ebibala, enva endiirwa, ebimuli, ensigo, okulima ebintu ebikozesebwa mu makolero (raw materials) nga ebiwuzi (fibre) ne pamba, okuwakisa ensolo (breeding), okulunda ensolo ezivaamu amata, ennyama, amaliba, omwoya (wool), amagi, obuwuzi bw’ebisaanyi (silk). Ebyamalimiro biyamba omuntu okwetusaako ebyetaago ebisookerwako nga emmere, ebyokwambala, ebyokuzimbisa ng’amasamba g’embaawo, eddagala, ebibira by’enku (woodlots) n’okwesanyusaamu.
Amatabi g’ebyamalimiro (Branches of agriculture)
[kyusa | edit source]- Okulima ebirime (Crop production): Muno mulimu emmere y’abantu n’ey’ebisolo, ebiwuzi (fibre), ebikajjo sukkaali, ensigo za woyiro. Okulima ebirime kwetaagisa okunnyonyoka sayansi w’ebyamalimiro (agriculture science), sayansi w’ettaka (soil science), ebiwuka ebireeta endwadde (entomology), ekivaako okufa kw’ebiramu (pathology), n’obulamu obusurirkitu (microorganisms).
- Enteekateeka y’ettaka ery’o kulimiriako (Horticulture): Wano twogera ku kulima ebimuli ‘ebibala, enva endiirwa, ebirungo (spices), ebyokunywa, n’ebiragalalagala (narcotic crops) nga enjaga (opium) ebivaamu edd agala.
- Ebyamalimiro eby’ekitambuzo (agricultural engineering): Bino bibaamu ebikozesebwa (tools and imolements) n’ennyanguyirizi (machines).
- Ebyebibira (Forestry): Ebyebibira byekuusiza ku kulima masamba ga miti okujjamu embaawo, enku, labba, n’ebikozesebwa mu makolero ebirala.
- Okulunda ebisolo (animal husbandry).
- Okulunda ebyennyanja (fish farming)
- Ennongoosereza mu birime n’ebiva mu bisolo (Value addition). Muno mulimu :
- Enzaalisa y’ebirime n’essomabusirigiini (crop breeding and genetics)
- Essomakiitondekabiramu (biotechnology)
- Enzirukanya y’ekirime (crop management). Muno mulimu:
- Sayansi w’ebyamalimiro(agriculture science)
- Sayansi w’ettaka n’essomabuzimbe ery’abyamalimiro
- Ekitondekansigo (seed technology)
- Essomabulamu obusirikitu (microbiology)
- Endabika y’ebirime (crop physiology)
- Ekinonoozo ky’ebirime (Crop engineering).
- Science w’iobutonde bw’ensi (environment science)
- Essomampewo mu Byamalimiro (agriculture meteorology)
- Okuziiyiza endwadde mu bimera (crop Protection)
- Essomabiwuka bireetandwadde (agriculture entomology)
- Ekittabimera (plant pathology)
- Sayansi ez’entabaganyi (Social sciences). Zino zetaagisa:
- Okusomesa okw’ekikungo (agriculture extension)
- Ebyenfuna Ebyamalimiro (Agriculture economics).
- Amasomo amalala agetaagisa:
- Ensengeka ya kalonda w’ebyamalimiro (agriculture statistics)
- Oluganda ol’ebyamalimiro (agriculture Luganda)
- Ekibalangulo ky’Ebyamalimiro (agriculture math)
- Essomabuzimbe ery’ebiramu (biochemistry).
Weetegereze:
Eddimiro(Farm) kiva mu kugattika ebigambo eddundiro n'ennimiro.
Eddundiro + Ennimiro = Eddimiro(farm).Mu bungi(plural) Eddimiro kibeera "amalimiro(farms).
Okuva mu kigambo eddimiro tufuna ekigambo ebyamalimiro (agriculture), ekitegeeza ebyenjigiriza ebikwata ku malimiro oba ebikolebwa ku malimiro.
Eby- + Amalimiro = Ebyamalimiro (agriculture).