Ebyenfuna mu Buganda Eyedda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Omusingi gw’ Ebyenfuna

Okukulaakulanya sebasitula \ sebuzimbe(superstructure) kiyamba okugaziya omusingi gw’ebyefuna ate nagwo ne guyamba Sebasitula okukukulaakuna. Okusobaola okugaziya omusingi gw’ebyefuna kyetagisa okukulakulanya obusobozi bwaffe nga tuteekawo enkola ennambulukufu okukulanya Sayansi, tekinologiya, n’obukulembeze.

Waliwo akakwate akatasattuluka wakati wa Sebasitula(superstructure) n’omusingi gw’ebyenfuna(economic base). Buli Ssebasitula lw’akyuka n’omusingi gw’ebyenfuna gukyuka era buli omusingi gw’ebyefuna lwe gukyuka ne Ssbasitula akyuka kyokka waliwo ebitasanye kukyuka naddala empisa n’obuntubulumu.

Nga bwetulabye waggulu enkola y’ebyenjigiriza yalina ekigendererwa okuwanirira ebyobufuna bw’eggwanga. Obusobozi bweyalekeranga mu nkozesa oba enkola ya bino:

• Ettaka, naddala mu byobulimi nga balima amatooke ag’emmere n’agokuyiisamu omwenge (Embidde). Abaganda baalimanga n’emmere endala nga lumonde, balungu kyetutumula, kaama, nanigoya, n’endaggu, awamu n’amayuuni, enva n’ebbugga, ejjobyo, ensugga, nnakati, entula, empindi, ebijanjaalo enkoolimbo, empande enderema, n’obuyindiyindi.

• Okuweesa nga basaannuusa ebyuma okubijja mu matale ne babiweesaamu obuwambe, ebiso, enkumbi, amafumu, n’embazzi.

• Okukola ebyambalo mu mbuga enkomage.

• Okulunda embuzi, n’endiga. Ente zaalundibwanga kitono.

• Okusuubulagana ne Bunyoro nga babagulako omunyo ogwavanga e Katwe, enkumbi, ebiso, n’embazzi kubanga n’abanyoro baalinga baweesi balungi ddala olw’ensi yaabwe eyalimu nnyo amatale agaasaanuusibwanga okufunamu ebyuma.

• N’okulwana entalo.

Obusobozi buno era bweyoresezanga mu mirimu gy’ebyemikolo (Craft) mubiseera ebyo. Muno mwalimu okuluka ensero, ebyagi omuterekwa emmere enkalu, Okukola ebibumbe, okubajja, okukola ebyokulwanyisa, ensimbi ebita n’edeku. Okukola ensero (basketry) kyekimu ku bintu owedda kyekugukamu mubyakozesa awaka n’okwerinda – nga bakola ebisaakate n’emili, okusereka ennyumba mu ngeri eyokuluka n’engabo.

Abakyala bebakolanga enkomera/ebisaakate, ebyagi, okubaga emmuli, okusereka, okukola obutego n’ebisero by’omunnimiro. Abakyala bebakolanga ebbibbo n’obusero obutono obutereka emmmere entonotono, emikeeka, ebibikakka ku nsuwa.

Okubumba (pottery) nga bakozesa ebbumba kwalimu okukola ensuwa/ensumbi (water pots). Ebibya (bowls) entemu (cooking pot) ne Mindi (smoking pipes) ezitoneddwa mu langi enzirugavu enjeru, n’emyufu. Ebyakozesebwanga okusala n’okuwaata ebyokulya (Cutlery) nabyo, byakolebwanga mu byuma Mwalimu embazzi, enkumbi, amalobo, amafumu, ennyondo, n’ebikozesebwa mukusamira.

Mukubajja mwalimu obutebe obutonetone, ebikozesebwa ebyomuti ng’oluseke, ekiwujjo, ebyanzi byamata, ebikuba embugo (fumigator foe barcloths) amaato, ebivuga by’abayimbi, ng’engoma n’endingidi (membra phones). Ebyokulwanyisa byakolebwanga okuva mubyuma n’emiti. Muno mwalimu amafumu, obusaale, engabo, n’embuuli (sticks for clubbing to death).

Obusobozi bwa Buganda obulala bweyolekera mubigambo ebyakikugu mu kukuba ebifananyi nga okutona, okusiiga, kuwawula, kwola, kuwunda, kukuba kifananyi.

Okutona mulungereza to stain, to dye, to apply colour on something, kwakolebwanga ku mbugo era nga luno baluyita olubugo olutone.

Okuwunda mulungereza to decorate, to embellish or give fine finish kwakolebwanga mu lubiri lwa Kabaka ku bintu ebyakozesebwanga Kabaka oba mulungereza biyite King’s objects, insignia, utensils, n’ebirala. Gano gegayitibwanga “Amakula ga Kabaka” (The King’s Ornamental work).

Okwola mulungereza engraving oba sculpture, ku bibajje ku mbawo oba ku mayinja.

Okusiiga mulungereza to paint, enkintu mu langi ennungi.

Okusinziira ku kyenkulaze waggulu awo okiraba nti yadde tewaaliwo nkola ya byanfuna ng’eyomulembe guno, abazungu nga tebannajja wano, tewaaliwo bwavu na buwejjere ng’ebiriwo kati.