Ebyobuwangwa (Culture)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Eby’obuwangwa (culture) .Abantu abaasooka babeeranga wamu mu Buwangwa bwabwe era abantu okubeera awamu mu buwangwa bwabwe ye yali engeri y’okukolagana eyasooka.

Omuntu w’obuwangwa teyalina ngabanya mu mirimu ya manyi ate nga ne tekinolgiya gweyakozesanga yali wa wansi nnyo ekyaviirako okuba nti ebikolebwa byali bitono era nga n’omutindo gwabyo gwa wansi.

Buli buwangwa mu lubu lw’omuntu buba n’ebyobuwangwa obweyolekera mu lulimi, kitondekabirungi (art), kkala y’olususu, obuwangwa, enzikiriza, enteekateeka z’entalo, sayansi ne tekinologiya ow’engeri emu oba endala.

i) Olulimi.

Olulimi lweyolekera mu kwogera, okusoma n’okuluwandiika. Essomo ly’olulimi liyitibwa kalinnimi (linguistics). Waliwo ennimi 3,700 ezogerebwa okwetolola ensi. Olulimi olusinga okwogerwa abantu b’obuwangwa bwalwo abanji lukyayina kyokka olusinga okwogerwa abantu ab’enjawaulo mu ensi yonna Lungereza. Wano mu Uganda oluganda lwe lusinga okwogerwa abantu abanji ate mu Afirika ey’Obuvanjuba Luswayiri.

ii) Kitondekabirungi (art).

Kitondekabirungi abaddewo ebbanga lyonna omuntu ly’abaddewo. Kitondekabirungi mulimu ebisiige, ebiwoole, ebifaananyi, emiziki, ennyimba, ebikozesebwa eby’emiziki, nyukutologia (literature) omuli ebitabo, ebitontome, ebikokyo, engero, n’ebirala.

iii) Kkala y’olususu n’obuwangwa. Abantu bawukana okuyita mu kkala y’olususu n’obuwangwa (race and ethnicity).

iv) Eddiini n’enzikiriza. Eddiini kuba kukkiriza mu kubaawo kw’oyo asukkulumye ku bw’omuntu. Entabaganya gy’ekoma okukola okunoonyereza n’okuyitimuka mu sayansi n’okutegeera ekibeezaawo obwengula gy’ekoma okukiraba nti ddala waliwo kagezimunyu omu avunaanyizibwa ku buli kitonde olw’engeri obwengula na buli kitonde gye kisengekeddwaamu mu kibalo egya waggulu ekisukkulumye. Abatanaba kumanya kibalo kibezaawo bwengula be bakkiririza mu bukatonde obw’enjawulo kubanga baba tebannalaba bumu bwa nsengeka ya bwengula.

v) Sayansi ne tekinologia. Tekinologia kikwata ku bintu ebikolebwa abantu okubayamba okukola. Sayansi kikwata ku kutegeera engeri obwengula na buli ekibulimu gye kikola. Okusooka tekinologia yali nga mu ngeri nnyangu nnyo era awataali kuwandiika yatambuzibwanga kwogera, kyokka okuwandiika bwe kwavumbulwa, obunyukufu (literacy) ne butandika era kino kyayamba sayansi ne tekinologia okukulaakulana amangu. Olw’embeera ez’enjawulo abantu ze babeeramu, sayansi ne tekinologia mu ntabaganya ez’enjawulo tebiri kumusinji gwe gumu; obuwangwa obumu bukyaali wansi nnyo mu tekinologia ate obulala bugenze wala nnyo.

vi) Entalo. Okulwana entalo nakyo kintu kya byabuwangwa. Buli buwangwa bwalinanga enteekateeka z’okutabaala abulala okusooka nga bukozesa miggo, mayinja, nvumuulo, butida, n’amafumu. Ennaku zino sayansi okulaakulanyizza ennwana y’entalo. Kati waliwo emundu eziyitibwa emigemera , bomu ya atomu n’eya nyukiria. Kyokka olw’okuba abantu baatirimbulanga abalala awatali kutaliza, Ekibiina ky’Amawanga Amagatte okuva mu 1945 kizze kiteekawo amateeka agafuga entalo.

Tosobola kulaga mubujjuvu byabufuna bwa Buganda nga tolaze kakwaate akaaliwo wakati w’ebyobufuzi, ebyanfuna n’ebyobuwangwa mu Buganda eyedda. Ebintu ebikulu mubyobuwangwa bya Buganda mwalimu bino:

a) Obukulembeze mu bwakabaka ne mu bika

b) Emizizo

c) Emizanyo

d) Ennyimba

e) Amazina

f) Ennyambala

g) Eddagala

h) Okusinza

i) Enkuza y’abaana

j) Empisa gamba nga enjogera, okubuuza, obuyonjo, okwaniriza abagenyi

k) Ebikwate-engero, ebisoko, ebikoco

l) Empisa zo kumikolo nga okufiirwa, okwabya ennyimbe, embaga, okwalula abaana (abalongo)

m) Obulombolombo bw’ebika

n) Ebisaanyizo (virtues) nga obugumiikiriza, obukakkamu, obuvumu, ekisa, obusaasizi obuyambi, amazima, obwenkanya, obuntubulamu, okwekengera, obwegendereza n’obukujjukujja, obuyiiya