Eddagala erigema endwadde ya kkolera

Bisangiddwa ku Wikipedia
Jump to navigation Jump to search

Eddagala erigema endwadde ya Cholera lya mugaso nnyo mu kuziyiza okukwatibwa n'okusaasaana kwa Cholera.[1]

Eddagala lino liba lya mugaso nnyo era likola ebitundu kinaana mu bitaano ku buli kikumi(85%) singa omwana agemebwa mu myezi omukaaga egisooka ng'amaze okuzaalibwa. Wabula singa omwana agemebwa obulwadde bwa cholera mu myezi emirala omukaaga egiba gisigaddeyo okuweza omwaka gumu, eddagala lino likolera wakati w'ebitundu ataano n'enkaaga ku buli kikumi(50-60%).

Naye singa omwana agemebwa ng'awezezza emyaka ebiri olwo eddagala lino liba lijja kukola ku bitundu ebitasukka makumi ataano ku buli kikumi.

Buli okugemesebwa kw'abaana abangi mu kitundu lwe kukolebwa , kiyamba n'abo abatagemeseddwa, anti baba tebalina gye banaabuggya kubanga abasinga baba baagemesebwa nga kizibu okubakwata. Ekitongole ky'ebyobulamu munsi yonna (World Health Organisation) kikubiriza era kiwagira enkozesa y'eddagala lino erigema cholera, nga kwekuli eritonnyezebwa mu kamwa [ddoozi bbiri oba ssatu] nga kw'otadde n'ery'akayiso (naye eddagala ery'akayiso terirabikalabika nnyo, era ery'okutonnyeza mu kamwa lye lisinga okweyambisibwa).

Eddagala lino erigema cholera eritonnyezebwa mu kamwa teriyina bulabe bwonna, era likkirizibwa okukozesebwa ne ku bakyala abalina embuto, era n'abo abalina emibiri eminafunafu. Kyokka omuntu nga yaakalimira yandifunamuuko obulumi obutonotono mu lubuto, oba oluusi n'okuddukana, naye nga si bya bulabe nnyo eri obulamu bwe.

Eddagala erigema cholera ery'okutonnyeza mu kamwa lyatandika okukozesebwa eyo mu myaka gy'ekyenda, era liri ku lukalala lw'ekitongole ky'ebyobulamu munsi yonna olw'eddagala ery'omugaso ennyo era eryetaagibwa mu byobulamu obwa bulijjo.

  1. https://lg.wikipedia.org/wiki/Ekirwadde_kya_Cholera