Jump to content

Eddwaaliro lya Villa Maria

Bisangiddwa ku Wikipedia

Villa Maria hospital nga erinnya lyalyo mubujjuvu ye St. Lawrence Hospital Villa Maria lisangibwa ku Villa Maria mu disitulikiti ye Kalungi mu masekatti ga Uganda. Ddwaliro lya bwannannyini, era nga amagoba gadda mulyo lyennyini , era nga liweereza abantu bomu Villa Maria n’ebitundu ebiriranyewo mu Disitulikiti y’e Kalungu.Lino lye ddwaaliro lyokka erijjanjaba buli kirwadde mu disitulikiti yonna okutwaliza awamu. [1]

Werisangibwa

[kyusa | edit source]

Eddwaaliro lino lisangibwa ku luguudo kilometres 17 (11 mi), mu bukiikaddyo bwa Kalungu, awali ekitebe kya disitulikiti eno . [2] Ekifo kino kiri ku luguudo kilometres 14 (8.7 mi), mu bukiikakkono bw’eddwaliro ly’e Masaka Regional Referral Hospital, mu kibuga ky'eMasaka . [3] Eddwaaliro lino lisangibwa ku luguudo kilometers 140 (87 mi) mu bukiikaddyo bwebuvanjuba bwa Mubende Regional Referral Hospital mu town ye Mubende.[4]. Endagiriro ye ddwaliro lino ku maapu eri:0°13'50.0"S, 31°44'35.0"E (Latitude:-0.230556; Longitude:31.743056).[5]

Okulambika okutwaliza awamu

[kyusa | edit source]

Eddwaliro lino lya bwa nannyini nga liweereza abantu bomukitundu bonna kyokka nga ate akasente akavaamu kadda mu ddwaliro lyennyini. Abalwadde bagibwako akasente akatonotono kyoka nga ate teri mulwadde agobwa mbu olwokuba talina nsimbi. Eddwaaliro lino lya Bakatuliki bomu bulabirizi bw'eMasaka . Nga lyakwasiba ekitongole kya Uganda Catholic Medical Bureau (UCMB) era nga liddukanyizibwa ekibiina kya Daughters of Mary Sisters, ekibiina ky’eddiini ekyasooka eky’abakyala enzaalwa z’omu Afirika, mu mawanga agali mu bukiikaddyo bwa Sahara . [6]

Ebyafaayo by'eddwaliro lino

[kyusa | edit source]

Eddwaaliro lino lyatandikibwawo mu August wa 1902 bannyinaffe abaminsani aba Our Lady of Africa, era abayitibwa White Sisters, ng’ekifo eky’obuyambi eri abaakosebwa ekirwadde kya mongoota, obwali buyitiridde mu kitundu ekyo mu kiseera ekyo. Mu 1976, abaddukanya eddwaaliro bakyusibwa ne bazibwa ewaba Daughters of Mary Sisters, abaliddukanya ne leero. Eddwaaliro lino lyatandikawo essomero lya St. Lawrence School of Nursing & Midwifery mu mwaka gwa 1979. [6]

Emirimu gy’eddwaliro

[kyusa | edit source]

Eddwaaliro lya St. Lawrence Hospital Villa Maria lirimu ebitanda ebiwereraddala 126. Era nga webwatukira mu December wa 2019, lyajjanjaba abalwadde abawera 30,000 buli mwaka naye ngabano tebawereddwa bitanda, ku kigero, nga bakola ebitundu nga 20 ku buli 100 ku balwadde bonna abajjanjabwanga nga tebasulayo mu Disitulikiti y’e Kalungu. [7] Mu mwaka gwe gumu, eddwaaliro lino lyaweza abalwadde abaweebwa ebitanda 6,000 ng’omugerageranyo gw’abantu abaali ku bitanda gwali ebitundu 58 ku buli 100. Kino kyavvuunulwa nti ebitundu 46 ku 100 ku balwadde bonna abaweebwa ebitanda mu disitulikiti, ku musingi gw’omwaka. [7] Mu kiseera kye kimu, bamaama 1,400 be baazaala buli mwaka mu ddwaaliro lino ku kigero, nga ku kigero kya kulongoosebwa kwa bitundu 45 ku buli 100. Eddwaaliro lino lyali livunaanyizibwa ku bitundu 24 ku 100 eby’abazadde bonna abazaala mu disitulikiti, mu kiseera ekyo. Ebisale by’abalwadde byali bikola ebitundu nga 50 ku buli 100 ku nsimbi zonna eziyingira mu ddwaaliro buli mwaka, ku kigero. [7]

Laba ne bino

[kyusa | edit source]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | edit source]
  1. https://www.ucmb.co.ug/hospital/st-lawrence-hospital-villa-maria/
  2. https://www.google.com/maps/dir/Villa+Maria+Hospital.,+Unnamed+Road/Kalungu/@-0.1634416,31.6754659,11.21z/data=!4m13!4m12!1m5!1m1!1s0x19d7f3adc86eb1df:0x15dac6b907739e30!2m2!1d31.7432581!2d-0.2311347!1m5!1m1!1s0x19d7e52605dd3645:0x7c6dc3dbb14b131d!2m2!1d31.7651362!2d-0.0952831
  3. https://www.google.com/maps/dir/Villa+Maria+Hospital.,+Unnamed+Road/Masaka+Hospital,+Alex+Ssebowa,+Masaka/@-0.2805094,31.7087726,13z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x19d7f3adc86eb1df:0x15dac6b907739e30!2m2!1d31.7432581!2d-0.2311347!1m5!1m1!1s0x19d78ebb9db30b6f:0x3735f21041acd7db!2m2!1d31.7359321!2d-0.3293044!3e0
  4. https://www.google.com/maps/dir/Villa+Maria+Hospital.,+Unnamed+Road/Mubende+Hospital,+Mubende/@0.1544509,31.2138082,10z/data=!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x19d7f3adc86eb1df:0x15dac6b907739e30!2m2!1d31.7432581!2d-0.2311347!1m5!1m1!1s0x1763268451000001:0x3084dd8d1097af4b!2m2!1d31.3918612!2d0.5724768!3e0
  5. https://www.google.com/maps/place/0%C2%B013'50.0%22S+31%C2%B044'35.0%22E/@-0.2305556,31.7430556,392m/data=!3m2!1e3!4b1!4m2!3m1!1s0x0:0x0
  6. 6.0 6.1 "Archive copy". Archived from the original on 2023-06-04. Retrieved 2024-09-07.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. 7.0 7.1 7.2 https://www.ucmb.co.ug/hospital/st-lawrence-hospital-villa-maria/