Jump to content

Eddwaliro lya St. Charles Lwanga Buikwe

Bisangiddwa ku Wikipedia

Eddwaaliro lya St. Charles Lwanga Buikwe, era ne Czech–Slovak–Ugandan Hospital, ddwaaliro lya bantu bonna mu Central Region of Uganda . Likwatagana n’ekitongole ky’abasawo abakatoliki ekya Uganda Catholic Medical Bureau. [1]

Ekifo werisangibwa

[kyusa | edit source]

Eddwaliro lino lisangibwa mu tawuni y'e Buikwe, mu Disitulikiti y’e Buikwe, kilometres 32 (20 mi) mu bukiikaddyo bw’amaserengeta g’eddwaliro ly’e Jinja Regional Referral Hospital, mu kibuga kye Jinja . [2] nga Kino kikunukiriza kilometres 78.5 (49 mi) ebuvanjuba bwa Mulago National Referral Hospital, mu kibuga Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. [3] Endagiriro ku maapu eri: 0°20'21.0"N, 33°01'56.0"E (Latitude:0.339170; Longitude:33.032229). [4]

Okulambika okutwalira awamu

[kyusa | edit source]

Eddwaliro lino liddukanyizibwa wamu essaza ly'ekkeleziya Prague mu Czech Republic n'essaza ly'ekeleziya erye Lugazi mu Uganda . [5] Eddwaaliro lino lyaggulwawo mu February wa 2007, oluvanyuma lwemyaka ebiri nga lizimbibwa. Eddwaliro lirina ebitongole ebyenjawulo ebiwerako omuli eby’abaana, okulongoosa, eby’omunda, abakyala n’okuzaala. Ensimbi ezisinga ziweebwayo ng'obuyambi okuva mu nsi ya Czech Republic. [6] [7] Eddwaaliro lino era likola ng'eddwaliro erisomesa eri ekitongole kya Johnass International College of Health Sciences ekisangibwa mu kmtawuni ye Njeru . [8]

Emirimu gy’eddwaliro

[kyusa | edit source]

We twatukira mu December wa 2019, eddwaaliro lino lyali lyakajjanjaba abalwadde abatali kubitanda abawerera ddala 19,491 buli mwaka ku kigero. Abaali ku bitanda baali bawerera ddala 5,579 buli mwaka, ku kigero, ng’omugerageranyo gw’abantu abaali ku bitanda gwali ebitundu 80 ku buli 100. Eddwaaliro lya St. Charles Lwanga Buikwe lyali liweza omuwendo gwa bamaama abazaala 804 buli mwaka nga abaloongose Bali ebitundu 20.7 ku buli 100. Mu kiseera ekyo, ssente z’abakozesa za abalwadde zaali ziwerera ddala ebitundu 11.5 ku buli 100 ku nsimbi zonna eziyingira mu ddwaaliro, ku kigero. [1]

Laba ne bino

[kyusa | edit source]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 https://www.ucmb.co.ug/hospital/st-charles-lwanga-buikwe-hospital/
  2. https://www.google.com/maps/dir/St.+Charles+Lwanga+Buikwe+Hospital,+Buikwe/Jinja+Regional+Referral+Hospital,+Rotary+Rd,+Jinja/@0.3787348,33.0486895,12z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dd902ec3451b9:0x196dbbf0d863339e!2m2!1d33.0321926!2d0.3392898!1m5!1m1!1s0x177e7b9ad9e6532b:0x168afcf76f804f0a!2m2!1d33.2053335!2d0.4301143!3e0
  3. https://www.google.com/maps/dir/St.+Charles+Lwanga+Buikwe+Hospital,+Buikwe/Mulago+Hospital,+Kampala/@0.3696353,32.5332992,10z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dd902ec3451b9:0x196dbbf0d863339e!2m2!1d33.0321926!2d0.3392898!1m5!1m1!1s0x177dbb0f51509de1:0xea12334542674d8c!2m2!1d32.5761312!2d0.3380637!3e0
  4. https://www.google.com/maps/place/0%C2%B020'21.0%22N+33%C2%B001'56.0%22E/@0.339277,33.0325857,165m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.3391667!4d33.0322222
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2022-03-28. Retrieved 2024-09-09.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. http://www.radio.cz/en/section/one-on-one/jitka-skovrankova-the-head-of-a-czech-hospital-in-uganda
  7. http://www.radio.cz/en/section/one-on-one/jitka-skovrankova-the-head-of-a-czech-hospital-in-uganda
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2024-09-09. Retrieved 2024-09-09.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)