Eddy Yawe

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Eddy Yawe (yazaalibwa nga 11 Ogwokutaano 1980) Munnayuganda, Muyimbi (muyimbi ow'amaloboozi), akwasaganya ebyuma by'amaloboozi, mukozi w'annyimba, muwandiisi w'anyimba, munnabyabufuzi, era mukozi w'abizinensi ez'enjawulo.[1] Eddy yemutandiisi wa Dream studios, situdiyo efulumya enyimba era nga esangibwa mu kitundu ky'e Kamwokya Kampala era nga yatandikibwawo mu mwaka gwa 2003 .[2]

Obuto n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Eddy muganda wa eyali y'esimbyewo ku bw'aPulezidenti era omuyimbi Kyagulanyi Sentamu Robert amanyikiddwa nga Bobi Wine. Eddy yazaalibwa era n'akulira mu kitundu ky'e Kinoni mu Disitulikiti y'e Gomba eri omugenzi Ssentamu Gerald era nga mwana wakuna mu baana 34. Eddy yatandiikira emisomo gye mu Kinoni Primary School ku misomo gye egya Pulayimale era oluvanyuma neyegatta ku St. Henry's College Kitovu ku misomo gye egya Ssekendule. Oluvanyuma yagenda mu Netherlands gyeyasomera Yunivasite oluvanyuma naafuna Diguli ye eyasooka mu ladiyo ne terefayina.[3]

Eddy era yasoma okukwasaganya amaloboozi okuva mu Yunivasite y'e Morgan ne Baltimore mu Nashville Tennessee USA ng'afunye sikaala era oluvanyuma n'akolera mu kitundu ky'e Hollywood.[2][4]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Eddy yatandiika okuyimba bw'eyegatta ku kwaya y'ekkanisa y'e Kikoni mu 1997 ng'amaliriza Ssekendule. Eddy, Nassolo Phiobe ne Betty Mpologoma baakola ekibiina ekyayitibwa 2000 ky'ebayitamu okutuuka ku bayimbi ab'enjawulo. Eddy yafulumya alubaamu ye eyasooka eyayitibwa Pamela ng'akyali mu Netherlands ku misomo gye era oluvanyuma yagenda mu USA. Ng'ali mu USA, yatandiika situdiyo ye eyatuumibwa Dream Studio eyaleetebwa mu Uganda oluvanyuma lw'okudda kwe mu Uganda.

Emirimu gy'obufuzi[kyusa | edit source]

Mu kulonda okwabonna mu 2006, Eddy yatandiika emirimu gye egy'ebyobufuzi era nga awagira ekibiina kya Democratic Party, ekibiina ky'ebyobufuzi mu Uganda era yakuyegera Erias Lukwago eyali y'esimbyewo ku kifo ky'omubaka wa Paalamenti owa Kampala central Division era Meeya w'ekibuga ekikulu Kampala.[5]

Eddy era yeesimbawo ku kifo ky'omubaka wa Paalamenti owa Kampala central Division ku kaadi y'ekibiina kya Democratic Party (DP) naye n'awangulwa Muhammad Nsereko eyali ku kaadi y'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) mu kulonda okw'abonna mu mwaka gwa 2011.

Mu 2016, Eddy yakyusa ebirubirirwa bye mu by'obufuzi n'eyesimbawo ku kifo ky'omubaka wa Paalamenti owa Kira municipality era n'awangulwa Semuju Nganda eyali ku kaadi y'ekibiina kya Forum for Democratic change card.

Enyimba ze[kyusa | edit source]

Ezimu ku nyimba ze:[6]  

Ebitakwatagana ku ye[kyusa | edit source]

Eddy yagambibwa okwefunira omuyimbi eyali atandiika mu kaseera webafulumiza oluyimba oluyitibwa Tukiggale olw'agambibwa nti bombi bakola ky'enkanyi naye ate Eddy Yawe n'agamba nti oluyimba lwonna lwali lulwe.[7]

Era laba[kyusa | edit source]

Bobi Wine

Erias Lukwago

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. http://www.howwebiz.ug/EddyYawe/biography
  2. 2.0 2.1 https://flashugnews.com/eddy-yawe-biography-wife-songs-politics-education/
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2022-03-28. Retrieved 2022-05-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-28. Retrieved 2022-05-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-27. Retrieved 2022-05-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://blizz.co.ug/artist/159/eddyyawe
  7. https://gandalebs.com/top-of-the/eddy-yawe-used-me-carol-nantongo