Egbert Udo Udoma

Bisangiddwa ku Wikipedia

Sir Egbert Udo Udoma, wuliriza KBE, (21 Juuni 1917 – 2 Ogwookubiri 1998)[1] yali munnamateeka era omulamuzi mu kkooti ya Nigeria ensukkulumu . Yali ssaabalamuzi wa Uganda okuva 1963 okutuuuka 1969.  Yamala emyaka 13 nga omulamuzi mu Supreme Court e Nigeria era yali ssentebe wa'akakiiko akabaga ssemateeka okuva 1977 okutuusa 1978.Yali omu ku bakulembeze abaatandiika Nigeria. Udoma yali omu ku baddugavu abafirika abaasooka okufuna diguli y'obwa dokitaali mu mateeka mu 1944 okuva ku Oxford University.  Yaweebwa Nnabakyala wa Bungereza eddala era yali yeewayo okukuuma ekitiibwa ky'obwa Knight of John Wesley (KJW). 

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Yazaalibwa Ibibio ekitundu Akwa Ibom State yasomera Methodist College, Uzuakoli. Oluvannyuma lw'okuwunzika emisomo gye egya siniya , yeeyongerayo mu mawanga g'ebulaaya okusomera ku Trinity College, Dublin (TCD) ng'ayambibwako ekitundu kye ne Ibibio Union, ekitongole kye yafuga oluvannyuma . Ng'ali ku TCD,Yaweereza nga pulezidenti wa yunivasite Philosophical Society, student debating society. Oluvannyuma yafuna digguli ye eyookubiri ku Oxford University

Nnyina , omukyala Adiaha Edem Udo Udoma, omukulembeze w'abakyala wamu nabalala kumpi abakyala 400 mu divizoni ya Opobo battibwa amagye g'abafuzi b'amatwale bwe baali balwanirira okukomya okuwooza abakyala omusolo 1929. 

Yakomawo e Nigeria okukozesa amateeka ge yali asomye mu makati ga 1940, naye yasikirizibwa ebibiina ebirwaniirira ameefuga ebyebiseera ebyo. Mu biseera ebyo , Nigeria yali esikiriza abo abaali bagiddukamu emabegako .[2] Mu bwangu yeegatta ku Lukiiko lw'eggwanga lya Nigeria wamu ne Cameroon , naye navaamu oluvannyuma lwobutabanguko mu kitundu ky'obuva njuba ekyaleetera n'okujja Eyo Ita, omu Ibeno okuva mu ofiisi nga omukulembeze w'ekitundu ky'ebuvanjuba nga yaggibwaako Azikiwe. Okuva 1953 okutuusa 1959, Udo Udoma memba wa federal House of Representatives, wansi wa United National Independence Party, olwo nafuuka omuteesa akyasinze olwokutondawo ekitundu Calabar/Ogoja/Rivers . Wabula, okulemererwa kwe okutondawo ekitundu ekyetengeredde mu bukiika ddyo mu Nigeria n'obuwanguzi bw'ebitundu ebisatu mu lukiiko lwa Ssemateeka mu 1958 byamuleetera okwongeza omuzinzi mu by'obufuzi eri ebibiina ebyali bikutte akati .[2]

Yamala emyaka 4 nga omulamuzi wa kkooti enkulu nga tannalondebwa nga Ssaabalamuzi wa Uganda. Yali mukuumi w'obwakabaka bwa Bungereza era yali ku kibinja ky'abantu abaakulemberamu okulwanirira ameefuga ga Nigeria okuva eri eggwanga lya Bungereza era yali omu kubaatandiika eggwanga lya Nigeria . Yafa alina emyaka 80 nga 2 ogwokubiri 1998.[1]

Personal life[kyusa | edit source]

Yali ssomo eririna ebirikwatako er'emirundi 2: The Man: Sir Justice Udo Udoma by Dennis Udo-Inyang, and Law and Statesmanship: The Legacy of Sir Udo Udoma by Ekong Sampson. Mu 2008 the Estate of Sir Udo Udoma yafulumya The Eagle In Its Flight: Being The Memoir of the Hon. Sir Udo Udoma, CFR (Grace & Son).[1] Mutabani we owookusatu Udoma Udo Udoma yali mukulembrze wa kitundu ow'enjawulo owookuna owa Federal Republic of Nigeria era ye minisita wa bagetin'okuteekateeka wansi w'obukulembeze bwav Buhari .

Ebimufulumiziddwamu[kyusa | edit source]

  • The Lion and the Oil Palm and Another Essay (1943)
  • The Story of the Ibibio Union (1987)
  • History and the Law of the Constitution of Nigeria (1994)

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 "Archive copy". Archived from the original on 2019-01-14. Retrieved 2022-11-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. 2.0 2.1 Kaye Whiteman, "An African benchmark; Obituary: Sir Udo Udoma". The Guardian (London), 26 February 1998.