Egunyu Janepher Nantume

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

 

Mubaka


Egunyu Janepher Nantume
Yazaalibwa 1978-12-01
Eggwanga lye Uganda
Obutuuze Munnayuganda
Gyeyasomera Busoga University, Kyambogo University
Emirimu gye(s) Akwasaganya bantu abalina okusomozebwa okw'enjawulo, Mubazi w'amateeka
Amukozesa Paalamenti ya Uganda
Ekibiina ky'ebyobufuzi National Resistance Movement

Engunyu Janepher Nantume (yazaalibwa nga 1 Ogwekkuminebiri 1978) Munnanyuganda era munnabyabufuzi, omubazi w'amateeka akwasaganya abantu abayita mu kusoomozebwa okwenjawulo. Akkikirira abantu b'Essaza ly'omubizinga bye Buvuma (Disitulikiti y'e Buvuma) mu Paalamenti ya Uganda.[1] Mmemba mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement (NRM),[2] ekibiina ekiri mu bukulembeze bwa Uganda wansi wa sentebe Yoweri Kaguta Museveni Pulezidenti wa republic of Uganda.[3]

Ebikwata ku misomo gye[kyusa | edit source]

Engunyu yatandika emisomo gye egya Pulayimale ku Natteta primary school gye yatuulira ebigezo bye eby'akamalirizo ebya primary leaving examinations (PLE) mu 1990. Oluvanyuma yakkirizibwa mu St Pontiano, Kangulumira mu misomo gy egya O'levo ng'eno gye yatuulira ebigezo bye ebyakamaliriza ebya Uganda Certificate of Education (UCE) mu 1995. Oluvanyuma yagenda ku St. Mathias Kalemba senior secondary school mu misomo gye egy'okumutendera gwa A'levo era natuulia ebigezo bye ebya Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) mu 1998. Oluvanyuma yeyongerayo mu Yunivasit ya kyambogo University gyeyafunira Dipuloma mu busomesa eya diploma in education mu 2000, n'oluvanyuma n'eyegatta ku Busoga University ng'eno gyeyafunira Diguli ye esooka mu kukwasaganya abantu eya bachelor's degree in social works and social administration (B.SWASA) mu 2011. Mu kaseera kano asoma Diguli ye ey'okubiri eya master's degree in public administration okuva mu Islamic University in Uganda (IUIU)

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Egunyu yaweerezaako ng'omumyuka wa sentebe w'olukiiko olukulembera Disitulikiti y'e Buvuma mu 2011.

Yaliko omusomesa wa sekendule ku Jinja secondary school ne Iganga progressive king of kings okuva mu 2000 okutuusa 2004.

Yaweerezaako ng'omumyuka w'akakiiko k'ebyobutonde mu sekita y'ebyobulimi eya agriculture, animal industry and fisheries okuva mu 2011 okutuusa mu 2013[4]

Egunyu aweereza ng'omubaka mu Paalamenti ya Uganda okuva mu 2011 okutuusa kaakano.[5] Mu Paalamenti, aweereza ku kakiiko k'ebyenjigiriza n'ebyemizannyo, era yaweerezaako nga sentebe w'akakiiko akalwanirizi k'eddembe ly'obuntu.[6]

Mmemba mu kakiiko ka Paalamenti ek'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) akasunsulamu aba n'esimbawo mu ofiisi ez'enjawulo[7] ne ku kakiiko ka Buganda akasunsulamu aba n'esimbawo mu Ofiisi ez'enjawulo[8]

Mmemba omujjuvu mu bitongole eby'amaanyi omuli; the Uganda National Teachers Union (UNATU) ne Uganda Red Cross Society

Ebirala ebimwogerwako[kyusa | edit source]

Abakuumi ba Egunyu basindirira amasasi sentebe w'ekibiina kya National Resistance Movement ow'ekyalo kya kiziba, Ggombolola y'e Bugaya ku bigambibwa nti yali agezaako okulemesa Egunyu okwogerako eri abatuuze b'ekyalo.[9]

Nga sentebe w'akakiiko ak'alwanirizi k'eddembe ly'obuntu, Egunyu awanjagidde okulwanirira eddembe ly'obuntu nga mwemuli okunoonyereza ku kutulugunya okubeera mu bifo ebikuumirwamu abantu (safe houses) nga ziddukanyizibwa ebitongole by by'okwerinda nga mu kino, akakiiko kaakonagana ne Minisita ow'ensonga z'ebyokwerinda general Elly Tumwine olw'okulemesa akakiiko okuzuula amazima.[10]

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-27. Retrieved 2023-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2020-04-06. Retrieved 2023-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.theeastafrican.co.ke/news/ea/NRM-to-endorse-yoweri-museveni-for-another-term/4552908-5431318-l5hclwz/index.html
  4. https://www.peacewomen.org/content/uganda-uganda-government-news-women-mp-decry-gender-insensitivity-parliament
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2020-09-28. Retrieved 2023-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://www.monitor.co.ug/News/National/MPs-blocked-from-accessing-Kyengera-Safe-House/688334-5267440-1q8ntxz/index.html
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2020-04-06. Retrieved 2023-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2020-02-01. Retrieved 2023-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. https://www.monitor.co.ug/News/National/Buvuma-Woman-MP-bodyguard-accused-shooting-NRM-chairman-/688334-5132446-mxajv0z/index.html
  10. https://ugandaradionetwork.net/story/tumwine-liable-for-frustrating-probe-into-safe-houses-torture-committee-