Ekibiina kya Uganda Red Cross Society

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Uganda Red Cross Society (URCS) ky'atandikibwawo mu 1962 era ky'ali kitundu ku kibiina kya British Red Cross. kirina ekitebe ky'akyo ekikulu mu Kampala.[1][2]

Ekibiina kya Uganda Red Cross ky'ekinnansangwa mu bitongole ebirwanirira okutumbula embeera z'abantu mu Uganda.

Ebyafaayo by'ekibiina kya Uganda Red Cross[kyusa | edit source]

  Kyatandiika nga ettabi lya British Red Cross mu 1941. Mu 1964 wansi w'akawayiiro ka Paalamenti, ssemateeka w'ekibiina kya Uganda Red Cross yagunjibwawo ekyaleeta okubeerawo kw'ekibiina kya Uganda Red Cross Society.[3] Oluvanyuma lw'omwaka mu 1965, ekibiina ky'akirizibwa okubeera mmemba mu kakiiko k'ensi yonna aka Red Cross n'ebibiina bya Red Crescent.

Uganda Red Cross Society yeyongedde okukula era kakaano kirina amatabi 51 n'obutabi obutono 30 okwetoloola Uganda yonna. Ekibiina kino era kikola n'abantu abawerako mu kuggusa ekigendererwa ky'abwe. Mu bano mulimu Gavumenti ya Uganda, ebitongole by'amawanga amagate, ebitongole ebivujirizi eby'ensi yonna, Kkampuni ez'enjawulo wanu n'ebibiina by'akyo ebitandiikiriza.

Ekibiina kya Uganda Red Cross Society kikola okwetoloola eggwanga nga kiyita mu matabi gakyo 51 saako n'obutabi obutono obwenjawulo obuwerako.

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://books.google.com/books?id=3Lk_AQAAIAAJ&pg=PA138
  2. https://books.google.com/books?id=qJRbGlfJiMQC&pg=PA56
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2021-01-16. Retrieved 2023-06-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

Template:Red Cross Red Crescent MovementLua error: Invalid configuration file.