Ekibulukusi
Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Ekibulukusi (convection) . Ekibulukusi kifundiwazo kya “Ekibugumyabikulukusi” (liquid heater).
Ekibulukusi, ekitegeeza okulaandiza ebbugumu mu bitengejjeso (fluids) ng’amazzi n’empewo. Okulandiza (transfer) kuno kubeerawo mu mazzi ne ggaasi kubanga bino bitambula kyere, ekisobozesa oluyengo olunnyogoga n’olubuguma.
Ekibulukusi (kibugumya ebikulukusi na ggaasi) kitegeeza omugendo gwa ggaasi (omukka) oba kakulukusi (liquids) okuva mu kifo awali obunnyogovu okudda awabuguma. Ssinga sefuliya y’amazzi eba ya kirawuli ekiraga obulungi ebiri munda (ekitangaavu), oba olaba omugendo gw’amayengo (currents) nga gabuguma mu seppiki eno. Amazzi agasinga okubuguma gava wansi nga gadda waggulu awannyogoga. Amazzi agannyogoga ne gadda wansi mu kifo ekyokya wansi mu sepiki. Omugendo guno gugenda mu maaso mu ngeri ya kwetoloola mu ssepiki.
Ekibulukusi kibaawo mu butonde mu nampewo ku lunaku lw’omusana olwokya. Ku safeesi y’Ensi bwe kuyingiza ekitangaala ky’omusana, ebitundu ebimu eby’okungulu byokya okusinga ebirala. Empewo ebuguma oba eyokya ezimba, n’ekendeeza obukwafuwavu(becomes less dense) okusinga eyo eyetolooddewo enyogoga, etandika okutengejja(buoyant) n’eyambuka. Obwovu (bubbles) by’empewo eyokya obuyitibwa obubugumyo (thermals) buyamba okuyisaawo ebbugumu okudda waggulu mu nampewo. Empewo ennyogoga olw’obuzito bw’eba nayo ekka wansi ku safeesi y’ensi okudda mu bigere by’eyo eyokya eba eyambuse waggulu olw’okuba si nzito nnyo.
Empewo ennyogoga bw’ekka ku safeesi y’Ensi nayo ebugumizibwa nayo n’eyambuka waggulu nga obubugumyo. Obubugumyo (thermals) buno ne buvaamu ebire eby’enkuba.
Ekibulukusi kiyisaawo (transfers) ebbugumu mu busimba okuliyingiza nampewo. Okusobola okuyisaawo ebbugumu lino okudda mu bitundu ebirala kyetaagisa empewo.