Ekigereeso (Theory)
Appearance
Ekigereeso(theory) nagwo mulamwa oguzimbiddwa Muwanga Charles. Ekigereeso kyekuusiza ku kikolwa eky'okugereesa(to theorize, to guess). Nga tweyambisa akakodyo ak'okugattika ebigambo tufuna emiramwa :
(i) Ekigereeso= Ekigambululo ekigereesa(Scientific theory)
(ii) Omugereso =Omubalanguzi ky'agereesa(mathematical theory)
(iii) Eggereeso = Essomo erigereesa (Theorem)
Kati nno tuyinza okwogera ku :
(a) Eggereeso lya Payisoggolaasi(The Pythagoras theorem)
(b) Ekigereeso ky'Ensibuko y'Ebikula (The theory of the origin of species)
(c) Ekigereeso ky'ekyerongooserezo ky'Obulamu (the theory of the evolution of life)