Jump to content

Ekijjanjabiro(Hospital)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ekijjanjabiro

Okusinziira ku Muwanga ,eddwaliro by'ebimu ku bigambo ebirina okusigala mu kkaddiyizo kubanga tekikwatagana na mulamwa gu kinnyonnyola.

Eddwaliro kitegeeza ekifo we balwalira. Tewali muntu amanya nti agenda kulwala agenderewo mu ddwaliro era tewali gwebagoba waka kubanga alwadde alyoke asigale mu ddwaliro.

Omulamwa omutuufu mu luganda olutuufu kirina kuba "ekifo we bajjanjabira abalwadde", "ekijjanjabiro"(hospital). Mu bungi kiba "ebijjanjabiro"(hospitals), ekitegeeza ebifo we bajjanjabira abalwadde. Obulwadde tebulinda bantu kutuuka mu ddwaliro ne bulyoka bbubalumba.Ggwe olowozaaki ?