Jump to content

Ekirandizo

Bisangiddwa ku Wikipedia
Conduction of Heat

Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Gakuweebwa Charles Muwanga !! Ekirandiwazo (conduction). Okulandiza mulamwa ogutuukiddwako okuyita mu kugaziya amakulu (semantic extension).

Okulandiza amasanyalaze oba obwoki oba ebbugumu kujjawo ng’amasoboza gerandiza butereevu okuva mu kintu ekimu okudda mu kirala, okuva mu atomu emu okudda mu ndala, okuva mu molekyu emu okudda mu ndala.Kino kyefaananyirizaako munaku kaama bwe yerandiza okuva wansi okweyongerayo waggulu.

Gezaako okuteeka oluuma oluwanvu mu muliro ogwaka ng’olukutte mu ngalo zo waggulu wa lwo, Oluuma luyingiza amasoboza okuva mu muliro olwo molekyu eziri munda mu luuma ne zitandika okutambula nga zanguwa olwa tepulikya ebugumye okusingawo. Zino molekyulu eziri ku misinde nazo zireetera molekyu ezedding’ana (adjoining) okuba ku misinde n’ekivaamu okwokya kutuuka waggulu ku ngalo zo ezikutte ku luuma oluvanyuma ne molekyu mu ngalo zo nazo zitandika okutambula ku misinde.

Bwoba ofumba obuugi n’otandika okutabulamu n’ekigiiko eky’ekyuma, ekigiiko kibuguumilira era ne kitandika okwokya. Kino kiva ku kuba nti ebbugumu lirandira okuva mu buuji obwokya ne liyingirira ekigiiko we kikwatidde ku buuji okudda waggulu w’ekijiiko awannyogoga.

Ebyuma birandiza (biyitamu bulungi) ebbugumu ekintu ekitali mu muti omukalu oba pulasitiika. Bino biyitibwa “birandizo ebinafu” (bad conductors) ate ebisooka bye biyitibwa “ebirandizo ebituukirivu ” (good conductors). Okulandiza kuno si kwa bimera wabula kwa bbugumu (kwa kwokya) erirandira okuva mu atomu oba molekyo emu okudda mu ndala.

Okulandiza mu njogera eya Fizikisi kitegeeza okutambuza ebbugumu oba kyagi y’amasannyalaza okuva mu molekyu emu okudda mu ndala mu kintu.

Tempulikya ky’ekipimo ky’ekigero (average) eky’amasoboza agali mu mugendo oba emisinde gya molekyu mu kintu.