Jump to content

Ekisaawe ky'eggwanga ekya Mandela

Bisangiddwa ku Wikipedia
Abawagizi wabweru wa Mandela National Stadium

 

Mandela National Stadium oba Namboole nga bwetera okuyitibwa kisaawe eky'eyambisibwa mu mirimu egy'enjawulo mu Uganda era nga ge maka ga tiimu yeggwanga ey'omupiira Uganda Cranes .[1] Ekisaawe Kino erinnya lyakyo ettongole kyalifuna okuva ku yaliko omukulembeze w'eggwanga lya South Africa era elwanyisa ennyo enfuga y'obusosoze obwesigamye ku lanji , Nelson Mandela.[2] Ekisaawe kino mu biseera wekyaggulirwawo butongole mwaka 1997 kyali kituuza abantu 45,202 omulundi gumu.[3][4] Wabula olubannyuma lw'okuggalwa n'okuddabirizibwa, omuwendo gwabantu abateekeddwa okukozesa ekisaawe kino gwasalika okudda ku bantu 42,000.[5] Kyokka yadde emiwendo emitongole egyabantu abatuula mu kisaawe kino giri gityo, mu byafaayo ekisaawe kino kyali kituuzizzaako abawagizi emitwalo etaano(50,000).[6] Ekyafaayo kino kyaliwo mu mwaka gwa 2004 nga 10 ogw'ekumi Tiimu y'omupiira ey'eggwanga Uganda bweyali esamba ne tiimu y'eggwanga eya South Africa.[7]

Endagiriro y'ekisaawe

[kyusa | edit source]

Ekisaawe kisangibwa ku kasozi Namboole mu Waadi y'e Bweyogerere, mu munisipaali ye Kira , Wakiso disitulikiti. Olugendo olukutuusa ku kisaawe kino nga ova mu kibuga Kampala wakati luwerako kiromita eziri eyo mu 11 ze mailo nga musanvu nga ofulumye ekibuga odda mu buvanjuba.[8]

Ebikolebwa mu kisaawe kino

[kyusa | edit source]

Ekisaawe ky'eggwanga ekya Mandela National Stadium kisinga kukozesebwa nnyo mu mu muzannyi ogw'omupiira ogw'ebigere, yadde guli gutyo emizannyo emirala nga emisinde ne Rugby najo jizanyibwa mu kisaawe kino. Ng'ojjeeko ebyemizannyo, ekisaawe kino era kyali kyeyembisiddwako mu kutegeka ebivvulu nga eky'omuyimbi Lucky Dube mu mwaka 2003,[9] okusaba n'enkugaana ez'enzikiriza ez'enjawulo[10] awamu n'enkugaana ttabamiruka z'ebibiina byobufuzi kwossa nebitongole bya gavumenti nga akakiiko k'ebyokulonda.[11]

Akakiiko ka Paalamenti ya Uganda akalondoola enzirukanya y'emirimu mu makampuni n'ebitongole bya gavumenti aka COSASE[12] mu mwaka 2015 kafuulumya alipoota eyalaga nti ekisaawe kino ky'ali ky'olekedde okuggwa olw'ebbula ly'ensimbi nga kagamba nti ekisaawe ky'amala ebbanga nga kiddukanyizibwa mu ngeri etaali nnambulukufu ekyavaako okufiirwa ensimbi ezili mu buwumbi bw'ensibimbi za Uganda 3.6.[13] Okuddukanya ekisaawe kino mu nkola eya private-public partnership (mu nkola eno gavumenti ekwasa obuvunaanyizibwa bw'okuddukanya ebintu byayo ba musiga nsimbi) ng'egendererwa okuleeta amagoba kyali kya kusomooza kinene.[14]

Ebyafaayo ku kisaawe

[kyusa | edit source]

Ensimbi ezaazimba ekisaawe kino zaava mu gavumenti y'eggwanga lya China era zaali mu bukadde bwa doola 36[15] era mu ntandikwa ky'ayitibwa Namboole Stadium, nga ligyibwa ku kasozi kw'ekyali ky'azimbibwa. Kati mu butongole kiyitibwa Mandela National Stadium nga kibbulwa mu yaliko omukulembeze wa South Africa, omugenzi Nelson Mandela. Ky'aggulwawo mu 1997 n'ekivvulu ky'omuyimbi w'ennyimba za Reggae mu South Africa omugenzi Lucky Dube. Ekisaawe kino ky'addamu okuddaabirizibwa mu 2010–11, era nga ensimbi ezakiddabiriza ku mulundi ogwo zaali obukadde bwa ddoola 2.8 okuva mu China.[16]

Oluvannyuma lwokubalukawo kwa ssenyiga omukambwe owa COVID-19 mu mwaka 2019, ekisaawe kyaggalwa era nekilangirirwa nti kyali tekitukagana n'amutindo kukyaza mpaka ziri ku ddaala lya Afirika.[17] Mu mwaka 2022 ekitongole ekizimbi eky'amajje gwe ggwanga Uganda (UPDF) kyatandika okuddaabiriza ekisaawe kino era nga omulimu guno gwawemmenta ssente za Uganda obuwumbi 97 okuddabiriza kuno kwatwaliramu emirimu nga okuddaabiriza awazannyibwa, okuteekamu ebitaala, okuddaabiriza awatuula abakungu nebirala.[18] Oluvanyuma lwokuddabiriza kuno ekisaawe kino kyategekebwamu emipiira gya liigi y'eggwanga mu ngeri ey'okukigezesa okukasa oba kituukana n'omutindo okusobola okukyaza empaka eziri ku mutindo gw'ensi yonna. Mu mizannyo gino egyazanyibwa kwaliko BUL FC okuzannya ne Vipers SC wamu ne KCCA FC okuzannya SC Villa. Emizannyo gino gyazanyibwa nga 1-05-2024.[19] Oluvanyuma lw'emizannyo gino CAF yaddamu n'ekiriza Uganda okukozesa ekisaawe kino era bwetyo Uganda Cranes nekyalizaawo emipiira ebiri okuli ogwa Botswana wamu n'ogwa Algeria

Obukubaagano ku nkozesa y'ekisaawe

[kyusa | edit source]

Bannabyamizannyo banji bazze boolesa obutali bumativu n'ekyokuba nga ekisaawe kye namboole kikozesebwa okutegeka ebivulu, enkungaana z'okusaba, ez'ebyobuuzi awamu n'endala. Kino kyava ku kuba nti buli lwewategerkerwangayo enkungaana ez'engeri eyo, ekisaawe kyafunaanga okutataaganyizibwa awamu n'omuddo okwonooneka. Olwensonga eyo Minisita avunaanyizibwa ku byemizannyo Peter Ogwang ku nkomerero ya 2023 yategeeza banna Uganda bwe yali ayogera n'omukutu ogwa NBS Sport nti emikolo egitali gyabyamizanyo tegyali gyakukirizibwa ku kisaawe kino bwekinamaala okuddabiriizibwa.[20]

Kyokka yadde nga byawulirwa bityo, Omusumba wabalokole Aloysius Bujingo yavaayo nategeeza eggwanga nti yali amaze okufuna olukusa okukuba olukungana lwenjiri mu kisaawe kyekimu nga 4-10-2024.[21] Amawulire gano gafulumira mu kiseera nga eyakulira okuddaabiriza ekisaawe kino munnamagye Lt. Col. Peter Kidemuka yali yakamala okutegeeza bannamawulire nti tiimu ya SC Villa teyali yakukkirizibwa kuzanya mupiira gwayo ne tiimu ya CBE okuva mu Ethiopia mu mpaka za CAF Champions league nga ekozesa ekisaawe kino.[22] Oluvanyuma lw'olunaku lumu nga akulira Ekitongole kyamagye ekivunaanyizibwa ku kuddaabiriza ekisaawe ayogedde ebigambo ebyo, waaliwo olutuula olwenjawulo wakati w'ebiwayi ebikwatabwako ensonga era gyebyagwera nga batuuse ku nzikiriziganya nti omupiira gugende mu maaso.[23]

Laba n'abino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/soccer/namboole-welcomes-back-cranes-4621742
  2. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&page=Mandela+National+Stadium#:~:text=http%3A//www.newvision.co.ug/new_vision/news/1335422/ugandan%2Dsports%2Dmiss%2Dmandela
  3. https://maps.prodafrica.com/places/uganda/central-region-ug/kampala/sports-enclave/mandela-national-stadium-kampala-uganda/
  4. http://stadiumdb.com/stadiums/uga/nelson_mandela_national_stadium
  5. https://kawowo.com/2023/11/22/sports-facilities-mandela-national-stadium-namboole-renovation-garners-momentum/
  6. https://www.11v11.com/teams/uganda/tab/stats/option/attendances/
  7. https://www.11v11.com/matches/uganda-v-south-africa-10-october-2004-254028/
  8. https://www.distancesfrom.com/ug/distance-from-kampala-to-Namboole-National-Stadium-Kampala/DistanceHistory/7096825.aspx#google_vignette
  9. https://www.newvision.co.ug/news/1510205/lucky-dube-day-punch-andrew-mwenda
  10. https://maps.prodafrica.com/places/uganda/central-region-ug/kampala/sports-enclave/mandela-national-stadium-kampala-uganda/
  11. https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/elections/nrm-delegates-paid-shs10-5b-to-attend-conference-1629400
  12. https://www.parliament.go.ug/committee/2728/public-accounts-committee-cosase
  13. "Archive copy". Archived from the original on 2021-06-14. Retrieved 2022-11-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  14. http://www.busiweek.com/index1.php?Ctp=2&pI=214&pLv=3&srI=64&spI=119&cI=22
  15. https://maps.prodafrica.com/places/uganda/central-region-ug/kampala/sports-enclave/mandela-national-stadium-kampala-uganda/
  16. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1285475/mandela-stadium-facelift-commences
  17. https://kawowo.com/2024/04/24/fufa-confirms-uganda-premier-league-games-to-be-used-in-soft-opening-of-mandela-national-stadium/
  18. https://www.ntv.co.ug/ug/news/sports/-mandela-national-stadium-test-government-invests-ugx-97-billion-in-renovation--4611372
  19. https://chimpreports.com/namboole-stadium-to-host-two-test-matches-next-month/
  20. https://nbssport.co.ug/2024/08/13/pastor-bugingo-to-host-prayers-at-namboole-stadium/
  21. https://nbssport.co.ug/2024/08/13/pastor-bugingo-to-host-prayers-at-namboole-stadium/
  22. https://www.ntv.co.ug/ug/news/sports/sports-club-villa-s-match-at-namboole-postponed-4724516#google_vignette
  23. https://nbssport.co.ug/2024/08/14/caf-cl-the-dust-has-been-settled-on-villa-namboole-dilemma/

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]