Ekisaawe kya Mutesa II
Ekisaawe ki Mutesa II memorial stadium e Wankulukuku mu Kampala kisaawe ekikolerwamu ebintu eby'enjawulo mu Uganda. Omili okuzannyirwamu omupiira ogw'ebigere, okutegekerwamu ebivvulu byabayimbi, okutegeka emyoleso n'emisomo era nga mu ttuluba ly'omupiira seera kano kikozesebwa mu liigi y'okuntikko eya Uganda era kiraabu nga Express FC wezikyaliza emizannyo gyazo mu Uganda Super League. Ekisaawe kituuza omuwendo gw'abantu 20,200.[1] Ekisaawe kino Ky'abbulwa mu musajja eyali Pulezidenti wa Uganda eyasooka oluvannyuma lwokufuna obwetwaze nga ye Sir. Edward Muteesa II. Muteesa II era yaliko Kabaka wa Buganda ate nga era Mutabani wa Kabaka Daudi Chwa eyali omukulembeze w'ekibiina ekitwala ebibiina by'omupiira mu Uganda ki FUFA eyasooka.[1]
Ebijuliziddwamu
[kyusa | kolera mu edit source](WANKULUKUKU)