Ekisaawe kya Nakivubo
Nakivubo War Memorial Stadium, kimanyiddwa nnyo nga Nakivubo kikolebwamu emirimu egy'enjawulo nga kisangibwa Kampala, mu Uganda. Mu kiseera kino tekiri mu kukozesebwa, kyokka emabegako kyasambirwangamu emipiira, era nga ttiimu ya SC Villa we yakyalizanga emipiira gyayo. Ekisaawe kyali kituuza abantu emitwalo esatu oluvannyuma lw'okuddaabirizibwa mu 2013, nga tekinnaba kuddaabirizibwa mu 2017.
We Kisangibwa
[kyusa | edit source]Ekisaawe kino kisangibwa wakati mu kibuga Kampala, nga kyetooloddwa ssemaduuka eziyitibwa Ham Shopping Grounds, kinnya na mpindi ne ppaaka empya. Kitudde ku bwagaagavu bwa yiika 11.62 ku luuyi olumu, ate olulala waliwo yiika obutundu 0.835, ng'awamu kiri ku yiika 12.455
EBYAFAAYO BYAKYO
[kyusa | edit source]Ekisaawe kino mu kyateekebwawo mu mwaka 1926, kyokka ne kiteekebwa ku mutindo mu 1954, nga kyaddaabirizibwa gavumenti y'abafuzi b'amatwale abangereza, nga kyakolebwa okujjukira bannayuganda abaafiira mu ssematalo owookubiri, nga bagoberera etteeka erikwata ku kisaawe eriyitibwa Nakivubo War Memorial Act, eryayisibwa paalamenti ya Uganda
Mu mwaka 2000, ekisaawe kino kyakyaza omupiira ng'abazannyi ba ttiimu y'eggwanga bonna beenaanise emijoozi gya ttiimu ya FC Internazionale Milano, era ne batanzibwa olw'ekyo.
Ku ntandikwa y'omwaka 2013, ekisaawe kyaggalwa ekitongole ekiwooza omusolo mu ggwanga ki Uganda Revenue Authority okumala omwezi gumu, olw'amabanja agaali gakyetuumyeko. Oluvannyuma kyaggulwawo olw'okugasasula, ne babaako ne bye bakkiriziganyaako.
Ekisaawe era kyaggalwako mu Muzigo wa 2011, kyokka ne kiddamu okuggulwawo oluvannyuma lwa wiiki emu nga basasudde ensimbi ezakkaanyizibwako
Ekisaawe kyaddamu okuggulwawo era ne kizannyirwamu omupiira ogw'omwetooloolo ogw'okusatu, mu luzannya olwokubiri olw'empaka za CAF ez'abali wansi w'emyaka 17, ng'omupiira gwali wakati wa Uganda ne Zambia, ogwazannyirwa nga 27 omwezi gwomwenda, omwaka 2014.
Ebitonotono ku kisaawe
[kyusa | edit source]Ekisaawe ky'e Nakivubo kyazimbibwa mu mwaka gwa 1926, ku ttaka eryaweebwayo Kabaka wa Buganda ow'ebiseera ebyo. Kyakyaza omupiira ogwasooka nga 1` omwezi ogwokuna mu 1926, nga gwali wakati wa ttiimu y'eggwanga ey'abatasussa myaka 18. Kyali kivunaanyizibwako gavumenti ya Uganda, era kiddukanyizibwa akakiiko akatongole akavunaanyizibwa ku kisaawe, nga kaalondebwa minisita w'ebyemizannyo.
Okukiddaabiriza mu 2017
[kyusa | edit source]Mu mwaka 2017, okuddaabiriza okw'omuggundu kwatandika ku kisaawe, nga kwalimu okwongera ku muwendo gw'abantu be kituuza okuva ku 30,0000 paka ku 35,000, n'okuzimbako amaduuka ebweru waakyo. Okuddaabirirza kuno kwakolebwa gavumenti ya Uganda ng'ekwataganye ne Ham Enterprises. Kkampuni ya ROKO Construction y'eri mu kutwala omuli mu maaso, nga guteeberezebwa okumalawo ensimbi obukadde bwa ddoola za Amerika 49, ng'omulimu gwatandika mu mwezi gwomukaaga omwaka 2017. Ttiimu okuli SC Villa ne Police FC zajjulula okukyaza emipiira gyazo mu kisaawe kino, olw'okukiddaabirizaSC Villa and Police SC moved their games as a result of the renovation.