Jump to content

Ekitambuzo n'Okuva(Mechanics and Motion)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Okuva ( motion)
Ekitambuzo (mechanics)

Gakuweebwa Charles Muwanga ! Ekitambuzo n’Okuva (Mechanics and Motion)

Essomo ly’ekitambuzo oba kiyite “ekitambuzo ky’enzitoya” (mechanics of bodies) liba ssomo ku ngeri enzitoya ezitali mu kuva (rigid bodies) gye zeyisaamu oba akakwate akali wakati w’enzitoya ezitali mu kuva n’okuwaliriza okuziteekebwako. Engeri ebitundu by’ekintu ebitali mu kuva (rigid bodies) gye bikwanaganyizibwamu okuleetawo omugendo oba okuva oba emparirizo (force) kye kiyitibwa engeri ekintu gye kikolamu (mechanism).


“Okuva” (motion) ge gamu ku masomo g’essomabutonde (physics). Buli kintu mu bwengula kiri mu kuva yadde nga okuva kuyinza okuba okutono ddala ng’okwenyeenya era nga kugenda mpola nnyo mu maaso. Manya nti ne bwoba olabika nga oyimiridde wamu, Ensi kw’oli eri mu mugendo okwetoloola enjuba ate n’enjuba eri mu kisinde (galaxy) kyayo ate nga n’ekisinde nakyo kyennyini kiri mu mugendo mu bwengula. Okuva tekukoma.

Manya nti Omugendo mulamwa ogwekuusiza ku kuva naye si buli kuva nti guba mugendo. Omugendo kitundu kimu eky’ekyo bannassomabuzimbe (physicists) kye bayita ekitambuzo (mechanics). Bannasayansi bavumbudde amateeka ag’enjawulo agannyonnyola okuva (motion) n’ensibuko y’enkyukakyuka mu mugendo(changes in motion).

Waliwo n’amateeka ag’enjawulo ku misinde gy’ekitangaala (speed of light ) oba nga bannassomabutonde batunuulidde obutoniinya (obuntu obutini ennyo) nga atomu.

2.6 Okwongeza n’okukendeeza emisinde

Essomabutonde ery’okuva (the physics of motion) likwata ku mpalirizo (forces). Empaliririzo erina okuteekebwa ku kintu okukijja mu kifo oba okukyusa omugendo gwakyo. Okukyusa omugendo tekijja ku bwakyo. Kati omugendo gupimibwa gutya? Bannassomabutonde balina taminologiya ze bakozesa mu kwekenneenya omugendo oba okuva.

Emisinde ekintu gye kigenderako oba eng’enda yakyo gisinziira ku mpalirizo (forces) oba ka tugambe nti gisinziira ku kuwaliriza okukiteekebwako. Yadde nga ebigambo emisinde n’eng’enda bikozesebwa okutegeeza ekintu kye kimu naye mu butuufu byawukana mu makulu aga sayansi.

Ate okutebentesa, okutebenta oba entebenta (Acceleration) kikyusamu omulamwa gw’eng’enda. Okutebenta kipimo kya nkyukakyuka ya ng’enda mu biseera ebigere (okusinga buli sikonda emu).

Eng’enda kiyinza okuba okulinnyisa oba okussa emisinde mu kiseera ekigere. Enzitoya (mass) mulamwa omulala ogwetaagisa ennyo okunnyonnyoka omugendo oba okuva. “Enzitoya” bwe bungi bw’ekintu obuliwo era epimibwa mu gulaamu oba kirogulaamu. Ejjinja liba n’enzitoya nnene okusinga sipongi nga birina obuzimbulukufu bwe bumu. 2.7 Omugendo ogw’emitendera egy’enjawulo

Mu kitambuzo (mechanics), waliwo emigendo emyangu (simple movements) nga okutambulira mu lunyiriri oba layini engolokofu oba nga ebintu bibiri bitambula buli kimu kidda eri ekirala mu buzingulukufu(straight line).

Omugendo ogusingayo obwangu gwandibadde nga ebintu biri mu ng’enda eya entakyuka (constant velocity). Ekitambuzo era kitunuulira ebintu ebyongeza oba ebikendeeza emisinde, nga waliwo okuwaliriza okugenda mu maaso. Waliwo n’omugendo omuzibuwavu (complex movement) omuli okukyusa mu oludda (direction).

Muno mubaamu emigendo egy'ekitoloovu (curved movements) nga omugendo omwetoloovu (circular motion), oba omugendo gw’omupiira nga gusambiddwa mu bbanga. Emigendo emizibuwavu (complex motions) nga egyo, nagyo gyetaagisa empalirizo (forces) naye nga empalirizo zino za mugendo ogulimu amaweto ( movement on angles). Eky’okulabirako y’ensikirizo ey’enjuba oba ensikirizo ey’ ensi ewaliriza omupiira okudda ku ttaka. Essomabutonde lisoma okuva n’empalirizo nnyingi ez’enjawulo. 

Okuva ly’erimu ku masomo amakulu mu essomabuzimbe. Mu butuufu buli kintu mu bwengula kiri mu kuva. Okuva kuno kuyinza okuba nga kutono nga okwenyenyaamu era nga kubaawo mpola ddala naye era waba waliwo okuva. Kimanye nti ne bw’oba oyimiridde awatali kwenyeenya, ensi kw’oli eri mu mugendo okwetoloola enjuba Muwanga ate nga n’enjuba nayo eri mu mugendo okwetoloola ekisinde mw’eri. Okuva oba omugendo guno tegukoma.

Okuva kitundu ky’ekyo bannasomabutonde kye bayita ekitanbuzo (mechanics). Bannasayansi bazze bavumbula ebigoberero oba amateeka agannyonnyola okuva n’ebiretawo enkyuukakyuuka mu kuva. Ebibuuzo 1) Munnasayansi eyavumbula amateeka g’okuva y’ani? Sir Isaac Newton

2) Amateeka g’okuva gali ameka? Asatu

3) Erinnya eddala erya etteeka erisooka ery’okuva linnya ki?

Etteeka lya kirobera (law of iinertia)

4) Tteeka ki erinnyonnyola lwaki tulina okwesiba enkoba nga tuli mu bidduka? Etteeka ly’okuva erisooka.

5) Tteeka ki erigamba nti empaliriza yenkanankana n’enzitoya nga ogikubisizzaamu ekitebentesa? Etteeka ly’okuva ery’okubiri.

6) Tteeka ki erigamba nti ekintu gye kikoma obuzito gye kikoma okwetaagisa empaliriza ey’amaanyi okukiseetula oba okukitebentesa? Etteeka ly’okuva ery’okubiri

7) Tteeka ki erisonjola engeri ebizungirizi gye bisukumibwa mu bwengula? Etteeka ly’okuva ery’okusatu

8) Tteeka ki erigamba nti buli kikolwa kirina ekivamumbeera kye kireetawo ekikyenkanankana ku ludda olwa kikontana? Etteeka ly’okuva ery’okusatu