Jump to content

Ekitangaala ekirabika

Bisangiddwa ku Wikipedia
COLORS OF THE VISIBLE LIGHT

Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Ekitangaala ekirabika (Visible light) kye kitundu kya "endaga y’omugendo gw’amasannyalaze ne magineeti" (electromagnetic spectrum) amaaso gaffe agali obukunya kye gasobola okulaba.

Ekitangaala okuva ku njuba oba balibu y’amasanyalaze kitunula nga kyeru kyokka ekituufu kiri nti kiba mugattiko gwa kkala za musoke (rainbow colurs). Tusobola okulaba langi ez’enjawulo ez’endaga ya kkala za Musoke (ekkamiso=rainbow spectrum) nga nga twabuluza mu kitangaala ekyeeru n’ekigulumiro (prism=ekirawuli eky’ekigulumiro). Endaga (spectrum) era erabika bw’olaba “ekkamiso” (rainbow colours) mu lubaale.

Kkala zino ziva ku emyufu (kasaayi) okutuuka ku mugattiko gwa bbululu, kakobe, ne kakyungwa. Wakati wa mmyuufu ne kakyungwa walilwo kyenvu, kiragala, bbululu, yindigo ne vayola. Kkala zino zirina obuwanvu bw’ejjengo, enziringana, n’amasoboza bya njawulo. Vayola alina obuwanvu bw’ejjengo obusinga obumpi mu ndaga y’ekitangaala ekirabika. Kino kitegeeza erina enziringana n’amaanyikasoboza ebisinga okuba waggulu. Mmyufu (kasaayi) erina obuwanvu bw’ejjengo obusingayo obuwanvu n’olwekyo langi emmyufu erina enziringana n’amasoboza ebisinga okubeera wansi.