Jump to content

Ekitendero ekyewunzifu(Inclined Plane)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ekitendero ekyewunzifu

Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Ekitendero ekyewunzivu (Inclined Plane)

Ekitendero ekyewunzifu kiba kiserengeto (ramp) nga enkomerero emu eri waggulu okusinga ku nkomerero ey’okubiri.

Kikola omulimu mutono, ntegeeza amasoboza matono, okuseetula ekintu okuyita ku kitendero ekyewunzifu okusinga okukisitula mu busimba okukyambusa waggulu. Essikirizo likifuula kyangu okutambuza ekintu okukissa wansi okusinga okukirinnyisa wansi ku kitendero ekyewunzifu.

Ebitendero ebyewunzifu nnyanguyirizi ezisobozesa okutikka oba okutikkula ebintu ebizito ku bimotoka ebya loole oba okusindika abalema mu kagaali okulinnya waggulu ku kizimbe kya kalina okuyita ku kitendero ekyewunzifu. Amadaala geyambisibwa ng’ekitendero ekyewunzifu okulinnya oba okukka okuva mu nsozi oba ebizimbe ebya kalina mu bwangu.

Kino kisobozesa ebizito okuseetuka okuva ku kifo ekiri wansi okwolekera ekigulumivu oba ekifo ekigulumivu okudda wansi Ekitendero ekyewunzifu (inclined plane) kiyamba okugonza ennyambusa y’ebizito waggulu mu busimba.

Mu nnyanguyirizi ez’ekitendero ekyewuzifu oba omuseetwe omwewunzifu zisangibwa mu nguudo, amadaala, ebiyiringitiro by’eggali y’omukka, “ebikoba ebyetoloola conveyor belts), ebiyitiro by’obugaali bw’abalema, n’ebirala.

Mu sessomo ly’ekibalangulo, waliwo enkula ez’essomampimo ez’ekitendero (plane figures) n’ez’ekigulumiro (prisms) oba ez’enkalubo (solid figures oba ekibangirizo (space figures). Enkula ez’ekitendero ziba ku mutendera gumu, ntegeeza ziba za museetwe nga bw’olaba olupapula oba emmeeza. Mu kitendero ekyewunzifu empalirizo eyetaagisa okuyimusa ekintu okuyita mu buwanvu obugere ekendezebwa nga oyongeza obuwanvu empalirizo mw’eba erina okuteekebwa ku kintu.

Teebereza engeri gy’oyimusa ekintu nga kizitowa emirundi ebiri egy’obuzito bwo okukiteeka waggulu ku fuuti munaana ate era olowooze ekibaawo nga okiyiringisizza (rolling) ku safeesi ennewunzifu. Eno eba eyanguya. Ebitendero ebyewunzifu (enclined planes) era bitera okukozesebwa mu bikozesebwa okusala era ebitendero bibiri ebyewunzifu biteekebwa mugongo ku mugongo okukola ekisaziso (wedge).

Eddaala nalyo kika kya nnyanguyirizi ey’ekitendero ekyewunzifu.


Amadaala amewunzifu mu mitendera egy’enjawulo nga gano nnyanguyirizi ya kika ki?