Ekitondowalo = Okutondowala (Condensation)
Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Ekitondowalo oba Okutondowala (Condensation)kitegeeza "enfuumo y'amazzi okufuuka amatondo g'amazzi "
Ekitondowalo oba okutondowala (condensation) kijjawo singa molekyu za ggaasi eziwera zegatta ne zikola ettondo lya kakulukusi (drop of liquid). Kino kijjawo lwa kuviibwako masoboza (loss of energy).
Gaasi ziba n'obuziba(atomu) obukyamuukirivu ennyo(very excited atoms) kyokka bwe buviibwako amasoboza, butandika okukkakkana ne bukung’aanira wamu mu kiyitibwa ettondo(drop) limu. Bw’ofumba amazzi gabuguma ne gatandika n’okwesera. Wano wonna gavaamu enfuumo (vapour). Enfuumo eno eba ggaasi y’amazzi (water gas).
Enfuumo y’amazzi eno etondowala (condenses) ku kisaanikira kubanga ennyonyogedde ku kisaanikira kino n’efuuka kakulukusi. Ekitondowazo lye kkubo erituuka ku luzira.
Embeera y’oluzira ebeerawo ku tempulikya eziri wansi ennyo. Ku kipimo kya tempulikya ekya Keluvini (Kelvin) eya ziro, molekyu za ggaasi ziba zirekera awo okutayaaya oba okutambula oba okuva mu kifo.
Embeera y’oluzira ejjawo ku kipimo kya tempulikya ekiyitibwa waggulu wa ziro ey’enkomeredde (absolute zero). Tempulikya bwe zituuka ku kipimo kino embeera y’oluzira (Bose-Einstein Basics) n’ejjawo.
Nga okukwata bwe kutandika
Kati waliwo obunnyogovu. Ensoggo (cone) ya ayisi eba ekyali ya nkalubo kyokka bw’ofuna tempulikya eriraanye ziro ey’enkomeredde (absolute zero) wabaawo eky’enjawulo. Atomu we zitandikira okwekwata, ekipimo kya tempulikya kiba kya butundutundu bwa kawumbi.
Ekiva mu kukwata kuno kye kiyitibwa oluzira. Wano ekibinja kya atomu kifung’ama mu kifo kye kimu ne kikola ekiringa atomu ennene. Waba tewakyaliwo nkumi na nkumi za atomu ezeyawudde kyokka eba efuuse atomu emu ensukkulumu (super atom).