Jump to content

Ekitongole ekikwasaganya ebibira

Bisangiddwa ku Wikipedia
National Forestry authority
Ekibira

Ekitongole ekikwasaganya ebibira ekya National Forestry Authority (mu bufunze NFA) kitongole kya Gavumenti ya Uganda ey'awakati ekivunaanyizibwa ku kukuuma abibira n'okusimba emiti ng'abayita mu pima ettaka, okwekeneenya n'okulikuuma.[1] Ky'ali ekibiina ekyatekebwawo Gavumenti nga bayita mu kawaayiro k'ebibira n'okusimba emiti aka National Forestry and Tree Planting Act of 2003 okudda mu kifo kya Dipaatimenti y'ebibira eyaliwo.[2]

Ebikikwatako

[kyusa | edit source]

Ekitongole kya National Forestry Authority ky'atandikibwamu ebbago lya Paalamenti mu 2003 okusikira Dipaatimenti y'ebibira ey'ekyasa eyaliwo ekyali ekitongole kya Gavumenti ekyalemererwa okumalawo ebisoomoza eby'aliwo mu kisaawe ky'ebibira mu 1970 okutuuka mu 1990. Ekigendererwa kya National Forestry Authority kya kukuuma bibira wamu n'okusimba emiti saako n'okubunyisa ebikozesebwa mu simba emiti egikola ekibira ngga kw'ogasse eby'ensimbi n'ebikolwa ng'okulaaga. [3]

Obuvunanyizibwa

[kyusa | edit source]
  1. Okukwaganya okusimba emiti ng'abayita mu kizimba ensalo, okwekeneenya ettaka n'okulikuuma.[4][5]
  2. Okumanyisibwa n'okukkiriza ebizimbibwa byonna mu bifo awasimbibwa emiti nga bayita mu EIA Ppamiti eweebwa ekitongole ky'enguudo UNRA ekolebwa ab'ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bwensi (NEMA).[6]
  3. Okugaba Layisinsi eri ebikolwa eby'obulango mu bifo awasimbibwa emiti.[7]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]
  • Omukutu omutongole ogwa website