Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisolo by'omu nsiko mu Uganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisolo by'omu nsiko mu Uganda (UWA) kitongole eky'etengeredde songa ky'atandikibwawo Gavumenti ya Uganda ekiluubirira okukuuma, okukwasaganya n'okubaga amateeka agagobererwa ku bisolo by'omu nsiko. "UWA erina obuyinza okukwasaganya ebisolo by'omu nsiko saako n'okulaba emirimu egikwasaganyizibwa mu Uganda, mu nda ne mu bitundu ebikuumibwa".[1] Okuva mu Gwokuna 2020, UWA ekwasaganya amakuumiro g'ebisolo kkumi, awateekebwatekebwa okukuuma ebisolo kkumi na bibiri, n'awakuumirwa ebisolo okubitangira okutuukako obuzibu kkumi na bina. UWA era elungamya ebifo by'ebisolo by'omu nsiko bitaano. Kikulemberwa akakiiko akaalondebwa Minisita ow'ebyobulambuzi, ebisolo by'omu nsiko n'ebintu eby'edda, nga ye Tom Butime.[1][2]

Endagiriro w'ekisangibwa[kyusa | edit source]

Ekitebe kya UWA ekikulu kisangibwa ku poloti. 7, oluguudo lwa Kira, ku muliraano gwa Kamwookya, mu Divizoni y'omumasekkati g'ekibuga kya Uganda ekikulu Kampala.[3] Ekizimbe ky'ekitebe ekikulu ekya UWA kiriranyiddwa Ekkadiyizo lya Uganda mu Buggwanjuba ne British High Commission mu Buvanjuba, ku luguudo lwa Kira. Ebibalo by'akyo biri:0°20'10.0"N, 32°35'01.0"E (Obukiika:0.336111, Obuwanvu:32.583611).[4]

Obukulembeze[kyusa | edit source]

Akakiiko akakulembera akeesigikka[kyusa | edit source]

Ekitongole kino kikulemberwa abantu mwenda abali ku kakiiko k'abakulembeze abatasasulwa, akaalondebwa Minisita ow'eby'obulambuzi, ebisolo by'omu nsiko n'ebintu eby'edda. Akakiiko akaliko kalondebwa mu Gwokusatu 2018, nga kakubirizibwa Benjamin Otto, eyali omuwandiisi mu Minisitule y'eby'obulambuzi. Akakiiko kaweereza okumala emyaka esatu. Olukangagga wansi lw'elukalala lw'aba mmemba abali ku kakiiko.[5]

Ba Mmemba abali ku kakiiko akakulembera ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisolo mu Uganda

2018–2022
Rank Elinnya Ekifo Obuvunanyizibwa Ebyenkizo
1 Benjamin Otto Eyali omuwandiisi wa Minisitule y'eby'obulambuzi Ssentebe
2 Gladys Kalema-Zikusoka Akulira Conservation Through Public Health Mmemba [5]
3 Mani Khan Dayilekita w'enteekateeka z'ekibiina kya MARASDA Mmemba [5]
4 Captain John Emily Otekat Eyali omumyuka wa Dayilekita w'eteekateeka za UWA Mmemba [5]
5 Boniface Byamukama Ssentebe w'ekibiina kya Uganda Tour Operators (AUTO) Mmemba [5]
6 Grace Aulo Mbabazi Kkaminsona w'eby'obulambuzi mu Miniitule y'eby'obulambuzi Mmemba [5]
7 Janat Akorimoe Akech Yaliko omubaka mu Paalamenti Mmemba [5]
8 Michael Aliyo Omukugu mu by'ensimbi mu Minisitule y'ebyensimbi Mmemba [5]
9 Sam Mwandha Akulira UWA Omuwandiisi w'akakiiko [5][6]

Obukulembeze[kyusa | edit source]

Nga 26 Ogwokusatu 2018, Sam Mwandha, eyali y'akaweebwa omulimi mu UWA mu 2010, mubutongole y'afuna ofiisi y'omukulembeze ow'okuntikko ow'ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisolo by'omu nsiko nga yadda mu bigere bya Dr. Andrew Seguya, eyali aweereza okumala ebisajja bibir eby'omuddiringanwa mu Ofiisi eyo.[7]

Ebyafaayo[kyusa | edit source]

Ekitongole kya UWA kyatandikibwawo mu Gwomunaana 1996 oluvanyuma lw'etteka erikwata ku bisolo by'omu nsiko, ebyegatira awamu ne Dipatimenti ekwasaganya amakuumiro g'ebisolo ne Dipaatimenti y'obuvubi (Uganda National Parks Department with the Uganda Game and Fisheries Department).[8] Mu 2000, eteeka ly'afuuka akawaayiro mu Paalamenti. Akawayiro kano kakyusibwamu ne kagattibwa mu buwaayiro obugobererwa (Uganda Wildlife Act, 2019).[9]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 https://www.ugandawildlife.org/about/uganda-wildlife-authority
  2. https://www.eturbonews.com/522576/who-is-the-new-minister-of-tourism-wildlife-antiquities-for-uganda-hon-tom-butime/
  3. https://www.ugandawildlife.org/
  4. https://www.google.com/maps/place/0%C2%B020'10.0%22N+32%C2%B035'01.0%22E/@0.335859,32.5830451,98m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.3361111!4d32.5836111
  5. 5.0 5.1 5.2 5.3 5.4 5.5 5.6 5.7 5.8 "Archive copy". Archived from the original on 2021-05-16. Retrieved 2023-06-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1474132/seguya-era-uwa
  7. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1474160/seguya-hands-office-uwa-boss-mwandha
  8. https://books.google.com/books?id=OWzz1Wzqeq4C
  9. https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor


Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

Lua error: Invalid configuration file.Template:Protected Areas of Uganda