Jump to content

Ekitongole kya National Social Security Fund (Uganda)

Bisangiddwa ku Wikipedia
KampalaSkycraper For NSSF

 

National Social Security Fund (NSSF) kitongole kya gavumenti ekivunaanyizibwa ku by'okukungaanya okutereka obulungi, okusiga ensimbi , n'okugaba ssente eri abo abagenda okuwumula nga tebakozesebwa gavumenti ya Uganda nga tebagenda kufuna kasiimo ka gavumenti . Abakozi nebakamabaabwe okwetabamu kibeera kyabuwaze. Ekitongole kino ekya Uganda National Social Security Fund kyekisinga okubeera ekinene ku bisasula abakozi abakuliridde nebawumula mu mawanga g'omubuvanjuba bwa Afrika, n'ebintu ebibalibwamu obuziriivu bwa ssente za Uganda 15.5 nga mu za Amerika bwebuwumbi 4.406 mu mwezi gw'omukaaga mu 2021.[1]

Ebikikwatako

[kyusa | edit source]

Mu mwezi ogw'okubiri mu 2009, pulezidenti wa Uganda yagoba eyali minisita w'eby'ensiimbi, nga minisitule ye yeyali erondoola emirimu gya NSSF. Abaagobwa abalala kwaliko eyali akulira NSSF.Akakiiko akapya ne ttiimu empya yalondebwa okudukanya ekitongole kino mu 2009.[2]

Munkomerero ya 2010, NSSF badamu okugizimba buto nga kino kyakolebwa okulaba ng'emirimu gitambula bulungi, okubeera ng'evuganya, n'okubeera nga kyanukula eri ebyetaago by'aba memba baakyo. Kyali kitekeddwa okubeera okuwa abantu ebintu ebiriko eby'okwerinda eby'amaanyi, n'okubeera ekitongole ekitondawo ssente ezikozesebwa mu kutandikawo bizineensi n'okugumya ebikwatagana ku by'enfuna .[3] Abawa endowooza zaabwe ku bigenda mu maaso mu ggwanga baagamba mu 2013 nti mu NSSF yazannya kinene nnyo mu by'enfuna by'eggwanga.[4]

Ebintu by'etekamu ssente

[kyusa | edit source]

Mu mwezi ogw'omusanvu mu 2018,ssente zebaasiga mwalimu (a) ssente ezitakyusubwa nga zezisasulwa omukozizi abeera awumudde (fixed income investments), nga zibalirirwamu 77 ku 100 ku zebagenda okusiga (b) ez'enkana nkana mu za Buvanjuba bw'amawanga ga Afrika mu zikyusibwa mungeri y'oby'okwerinda, (equities on the security exchanges of the East African countries), nga bibalibwamu 17 ku 100 ne (c) ne zibasiga mu by'okugula ennyumba n'ettaka, nga zibalibwamu ebitundu 6 ku 100 ku mugate gw'ezo zebasiga.[5]

Ebimu kubizimbe byebalinamu omukono kuliko ekya Workers' House mu masekati ga Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda, NSSF kwekuumira ofiisi zaayo enkulu, ne City House Jinja, mu Jinja, ekytakulakulanyizibwa wakati wa 2015 ne 2018, ku muwendo gwa buwuumbi bwa ssente za Uganda 3.5 billion (mu za Amerika ze doola akakadde kamu).[6]

Okusinziira kubiwandiiko ebiraga engeri gyebabadde bakozesaamu ensiimbi ku mwaka ogukomekerera nga 30 mu mwezi ogw'omukaaga mu 2014, NSSF yalina akase mu za Uganda 2.65 mu gwanika lya gavumenti (n'okukungula okuli wakati w'ebitundu 10.25 ku 14.35 ku 100), Obuwumbi bwa Uganda 682.1 zaatekebwa mu baanka ezivunaanyizibwa mu kukola amagoba, obuwuumbi 251.3 mu za Uganda, nga zino zeeziri mu mbalirira y'ebitalo bya kampuni mu zebakozesa mu kusiga ku muwendo omusaamu saamu nga bayita mu kukola amagoba oba okufiirwa (EPL), UGX:250.2 billion in capital work-in-progress, Obuwuumbi 193.7 zebasiga mu bintu eby'enajwulo, obuwuumbi 143.2 munkolagana zaabwe n'abakungu ( n'amakungula agali wakati w'ebitundu 11.03 ku 17.00 ku 100), Obuwuumbi bwa Uganda 73.3 munbalirira y'emigabo egibeera mu misingo abavunaanyizibwa ku by'ensimbi byebabatekeddwa okukozesa mu kutundibwa (HFT), obuwuumbi bwa Uganda 14.6 mu ssente enkalu ne muzifikawo mu baanka.[7]: 15  okusinziira ku muwendo ogubalirirwamu mu katale mu mwezi ogw'omukaaga nga 30 mu 2014, Ebintu NSSF byeyasinga okuteekamu ssente ng'omusingo byali webiti [7]: 41–42, 44 

Emirimu ne byebakoze mu by'enfuna

[kyusa | edit source]

NSSF kitongole ekikola entegeka n'okulaba n'endowooza ez'enjawulo zikolebwako nga kitekebwamu nnyo ssente okuva mu bakozi nebakama baabwe. Abakozi batekamu ebitundu 15 ku 100 okuva ku musaala gwebasasulwa, ate bakama baabwe nebatekamu ebitundu 10 ku 100, n'abakozi ebitundu 5 ku 100.: 18  NSSF abantu abagwa mu biti byamirundu etaano:[7]: 18 

  • Emyaka - zisasulwa bamemba abatusiza emyaka egiwumula egya 55
  • Okugyawo: Zisasulwa memba atusiza emyaka 50 nga takyalina mulimu okumala omwaka
  • Ebibeera bwagwaako: Zisasulwa memba atakyasobola kufuna mu mulimu gw'abeera akola
  • Alabirirwa: Zisasulwa oyo alabirirwa memba ateekeddwa okuzifuna.
  • Ssente eziweebwa abantu abavudde munsi zaabwe nebagenda okubeera mundala: Zisasulwa memba agenda okuviira ddala mu Uganda obutakomawo.

Ebintu NSSF by'erina okutuusa nga 30 mu mwezi ogw'omukaaga mu 2014 bibalibwamu obuse bwa ssente za Uganda 4.4.: 15  Mu mwezi ogw'okumi mu 2017, Oluppapula lwa The Independent, mu Uganda nga lugawandiika mu luzungu, lwatebereza nti ebintu NSSF byeyali erina byeali bibalibwamu obusiriivu 7.9 mu ssente za Uganda ( nga ze doola za Amerika obuwuumbi 2.48 mu kaseera ako), ak'omwezi ogw'omukaaga nga 30 mu 2017.[8] Okutuusa omwezi ogw'omukaaga mu 2018, eby'obugagga bino byali byeyongeddeko okutuuka mu buse 9.98 mu za Uganda nga bwebuwuumbi (2.678 mu doola za Amerika).[9] Okutuuka mu mwezi ogw'omukaaga nga 30 2020, NSSF Uganda yali edukanya eby'obugagga ebibalibwamu obuse 13.38 mu za ssente za Uganda, nga mu za doola za Amerika bwebuwuumbi (3.627). Zino zaali zeeyongeddeko ebitundu 17 ku 100 okuva ku busse 11.3 mu ssente za Uganda, nga ze doola za Anerika obuwuumbi (3.064 ), wetwatukira mu mwezi ogw'omukaaganga 30, 2019.[9]Mu mwezi ogw'omukaaga mu 2021, NSSF Uganda yalina obuyinza ku buse 15.5 mu ssente za Uganda nga bwebuwuumbi (4.406) mu doola za Aemrika nga zino zonna zaali mu bya bugagga byebaali balina.[1]

Ekizimbe kya Pension Towers

[kyusa | edit source]

Muntandikwa ya 2000 2000, NSSFU ebadde ekulakulanya ofiisi eziri ku kizimbe kya Pension Towers, ku luguudo lwa, ku kasozi ka Nakasero Hill, abamu ku balirwaana abasinga obulungi mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Ekizimbe kino kiriko eminaala esatu egyekutte; ogumu nga guli wakati guliko emyaliiro 25 mu buwaanvu, guliko buli ludda omunaala gumu nga buli gumu gulina emyali 10. Kampuni ya Uganda ekola ogw'okuzimba eya Roko Construction Company, yazimba emyaliro enna wakati 2008 ne 2012, naye nebalemererwa okufuna emirimu emirala ku pulojekiti eno. Kampuni okuva e China satu zezaatekayo okusaba kwayo okumaliriza ekizimbe wakati wa 2012 ne 2015. Ssente ezaakozesebwa mu kumaliriza ekizimbe kino zibalibwamu obuwuumbi bwa ssente za Uganda 260.[10] Ekizimbe bwekyamalirizibwa, eminaala esatu gino gy'ali gyakubeera n'obuwanvu bwa sikweya mita 59,410 ze sikweya fuuti (639,500) ez'obunene bwa ofiisi. Paakiingi y'emmotoka ezisoba mu 500 yali yakukolebwa munkulakulana eno.[11]

Ekizimbe kya City House e Jinja

[kyusa | edit source]

Ekizimbe kya Jinja City House kivunaanyizibwako aba Uganda National Social Security Fund (NSSF), abaakikulakulanya wakati wa 2015 ne 2018.Ebizimbe bino wewasinganibwa ofiisi za NSSF e Jinja ng'ebifo ebisigadde bipangisibwa bizineensi endala ezirina ebisaanyizo ssaako n'abakungu. Ekizimbe kino kikozesebwa abantu bamirundi mingi nga bali ku buwanvu bwa sikweya mita 1,500 nga zesikweeya fuuti (16,146) ku myaliro ena, nga kugino sikweya mita 1,200 ze sikweya fuuti (12,917) zipangisibwa. NSSF egya kukozesa kiwkeya mita 300 ezisigaddeyo nga ze sikweya fuuti 3,229.[12]

Ekizimbe kya NSSF ekya Mbarara Complex

[kyusa | edit source]

Ekizimbe kya Mbarara City House, kyakubiri mu bintu NSSF byetekamu ssente nga biri wabweru w'ekibuga ekikulu ekya Kampala. Kyakulakulanyizibwa n'ebisale bya buwuumbi bwa 3.9 mu ssente za Uganda nga bwebukadde 1.2 obwa doola za Amerika wakati wa 2017 ne 2019.[13]

Okudukanya

[kyusa | edit source]

Abali ku kakiiko akafuzi

[kyusa | edit source]

Minisita w'eby'ensiimbi mu Uganda Matia Kasaija yalonda akakiiko akafuzi mu mweiz ogw'omwenda mu 2021, nga kalimu ba memba bano wamnaga:[14]

  1. Peter Kimbowa:Ssentebe
  2. Aggrey David Kibenge
  3. Silver Mugisha
  4. Patrick Ocailap
  5. Fred Bamwesigye
  6. Richard Byarugaba: Akulira era y'avunaanyizibwa ku by'emirimu.
  7. Peninnah Tukamwesiga
  8. Sam Lyomoki
  9. Julius Bahemuka
  10. Hassan Lwabayi Mudiba

Abagidukanya

[kyusa | edit source]

Abadukanya NSSF balimu abantu basekinoomu okuvamu mwezi ogw'omwenda mu 2021:[15]

  • Richard Byarugaba - Akulira [16]
  • Patrick Ayota - Omumyuka w'akulira ekitongole kino
  • Agnes Tibayeyita Isharaza - Saabawandiisi w'ekitongole (okuviira ddala nga 1 mu mwezi ogw'okuna mu 2019)[16]
  • Edward Ssenyonjo - Head of Risk
  • Stevens Mwanje - Chief Finance Officer
  • Barbara Teddy Arimi - Head of Marketing & Communications
  • Milton Owor - Head of Human Resources & Administration
  • Gerald Paul Kasaato - Head of Investments
  • Barigye Geoffrey - Head of Internal Audit
  • Geoffrey Ssajjabi - Head of Business
  • Elijah Kitaka - Head of Information Technology
  • Jean Mutabazi - Head of Operations.

Emikutu ky'amatabi

[kyusa | edit source]

Okutuuka mu mweizi ogw'omukaaga 2019, NSSF yalina emikutu gy'amatabi 19 mu bitundu bya masekati, buwanjuba, bukiika ddyo ne mu buvanjuba bwa Uganda nga mukaaga gali mu Kampala ekibuga ekikulu.[17]

  1. Ofiisi enkulu: Workers House, One Pilkington Road, Kampala
  2. Bugoloobi Branch: Bugoloobi
  3. Kireka Branch: Kireka
  4. Entebbe Branch: Entebbe
  5. Kawempe Branch: Kawempe
  6. Bakuli Branch: Bakuli
  7. Arua Branch: Arua
  8. Gulu Branch: Gulu
  9. Lira Branch: Lira
  10. Soroti Branch: Soroti
  11. Mbale Branch: Mbale
  12. Jinja Branch: City House Jinja, Jinja[12]
  13. Lugazi Branch: Lugazi
  14. Masaka Branch: Masaka
  15. Masindi Branch: Masindi
  16. Hoima Branch: Hoima
  17. Fort Portal Branch: Fort Portal
  18. Mbarara Branch: NSSF Mbarara Complex, Mbarara[13]
  19. Kabale Branch: Kabale

Laba ne

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 https://en.wikipedia.org/wiki/East_African_Community
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)https://en.wikipedia.org/wiki/President_of_Uganda
  3. {{cite web}}: Empty citation (help)
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)
  7. 7.0 7.1 7.2 {{cite web}}: Empty citation (help)
  8. {{cite web}}: Empty citation (help)
  9. 9.0 9.1 {{cite web}}: Empty citation (help)
  10. {{cite web}}: Empty citation (help)
  11. {{cite web}}: Empty citation (help)
  12. 12.0 12.1 {{cite web}}: Empty citation (help)
  13. 13.0 13.1 {{cite web}}: Empty citation (help)
  14. {{cite web}}: Empty citation (help)
  15. {{cite web}}: Empty citation (help)
  16. 16.0 16.1 {{cite web}}: Empty citation (help)
  17. {{cite web}}: Empty citation (help)