Ekitongole kya Sugar Corporation ekya Uganda Limited
Sugar Corporation of Uganda Limited ( SCOUL ) kkampuni ekola ssukaali mu Uganda, era nga ekwata kifo kyakusatu mu by'enfuna mu mukago gwa East African Community .
Okulambika okutwaliza awamu
[kyusa | edit source]SCOUL y’ekwata ekifo eky’okusatu mu Uganda mu kukola ssukaali, ng’ekola ttani za ssukaali eziteberezebwa okubamu 60,000 buli mwaka, nga zikola ebitundu 17 ku buli 100 ku bifulumizibwa mu ggwanga. Ssukaali waayo asuubulibwa wano mu Uganda, Kenya, Tanzania, Rwanda, Burundi, Democratic Republic of the Congo, ne South Sudan . Okusinziira ku alipoota eyafulumizibwa mumwaka gwa 2010, SCOUL yali eri mu kuddaabirizibwa n’okugaziya okusobola okwongera ku bifulumizibwa okutuuka ku ttani 100,000 buli mwaka mu mwaka gwa 2013.
Ebyafaayo
[kyusa | edit source]Nanji Kalidas Mehta ye yatandikawo ekibiina kya Mehta Group of Companies, ekitongole ekisangibwa e Mumbai, nga kirina bizinensi ezenjawulo munsi ezenjawulo nga mu Asia, Africa, Bulaaya, ne North America.
Mu mwaka gwa 1900, ku myaka kkumi n’esatu gyoka, yava mu Buyindi gy’azaalibwa n’asaabala n’agenda mu buvanjuba bwa Afrika, n’asenga mu Uganda okumpi n’etawuni y'e Lugazi, mu Disitulikiti y’e Buikwe mu Buganda . Mu myaka amakumi asatu ku makumi ana egyaddirira Mehta yatambula wakati wa Buyindi ne East Africa emirundi 46. Mu Uganda, yatandikawo amakolero ga ppamba, ennimiro ye'ebikajjo, ekkolero lya sukaali, ennimiro z'amajaani, n’ennimiro za kaawa. Ekkolero lya ssukaali ryatandikibwawo mu 1924, okukkakkana nga lifuuse SCOUL.
Ekifo werisangibwa
[kyusa | edit source]Ekkolero eddene erya kkampuni eno lisangibwa mu tawuni y'e Lugazi, kilometres 48(30 mi), ku luguudo, ebuvanjuba bwa Kampala, ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu Uganda. Ensengeka z'ebitundu by'ekkolero lya SCOUL ku maapu biri 0°22'59.0"N, 32°56'27.0"E (Latitude:0.383056; Longitude:32.940833). [1]
Obwannannyini
[kyusa | edit source]SCOUL kkampuni ya Mehta Group ekola amakolero n’okusiga ensimbi ag’enjawulo esangibwa mu Mumbai, ngewa abantu abasoba mu 10,000 emirimu mu Asia, Afrika, Bulaaya ne North America. okutuuka mu August 2011 </link></link> , emigabo mu SCOUL gyali nga bwe kiragibwa mu table wammanga: [2]
Eddaala | Erinnya lya Nnyinimu | Ebitundu ku kikumi eby’obwannannyini |
---|---|---|
1. 1. | Gavumenti ya Uganda | 51.00 |
2. 2. | Ekibiina kya Mehta | 49.00 |
Okugatta | 100.00 |
Laba nabino
[kyusa | edit source]- Essundiro ly'amasannyalaze e Lugazi
- Disitulikiti y'e Buikwe
- Ebyenfuna bya Uganda
- Olukalala lw'amakolero ga ssukaali mu Uganda
Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.google.com/maps/dir/Uganda+Post+Office,+Plot+35+Kampala+Road,+Kampala+P.O.BOX+7106,+KAMPALA/Sugar+Corporation+of+Uganda+Limited+Lugazi+Office,+P.+O.+Box.+1,+Lugazi/@0.3512942,32.4339989,10z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dbc808cc2ab43:0x7dd3e9e39634c3b!2m2!1d32.58138!2d0.3137559!1m5!1m1!1s0x177dd080ec2c58c1:0x27ad2048d620867e!2m2!1d32.9454982!2d0.3804417!3e0?entry=ttu
- ↑ https://www.google.com/maps/place/0%C2%B022'59.0%22N+32%C2%B056'27.0%22E/@0.3830556,32.9408333,15z/data=!3m1!4b1!4m2!3m1!1s0x0:0x0