Ekiyumba ekigerere(the Greenhouse)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Gakuweebwa Muwanga !! Ekiyumba ekigerere(Green House).Ekiyumba ekigerere mulamwa oguggwayo nga "ekiyumba ekigerere embeera"

Omuntu okukola ekiyumba ekigerere kuba kukoppa nampewo(the atmosphere) Katonda mw’ateeka ebirungo ebiwagira ebiramu okuba obulungi .

Nampewo omugeraageranya n’ekiyumba ekigerere ; ka tugambe ky’ekiyumba ekigerere ekya Katonda omuli embeera ezisobozesa obulamu okubeeramu obulungi.

Ekiyumba ekigerere (Greenhouse) tekisibuka mu Ssaza ly’e Bugerere wabula kitekebwa mu embeera engerere oba ez’ekigero ekyetaagisa okukuza ekimera.Mu njogera endala ekiyumba kino kigererwa embeera yonna eba yetaagibwa ekirime okukuliramu.

Ekiyumba kino kiba kizimbe ekitera okukolebwa mu kirawuli, oba pulaasitiika, ebimera mwe bikuzibwa mu mbeera engerere. Ekiyumba ekigerere kiyinza okuteekebwa mu mbeera y’obudde eyefaananyirizibwa ey’ekitundu kyonna ku Nsi .

Ekiyumba kino kisobozesa okugenda mu maaso okulima ekirime yadde embeera y’obudde ekyuuse oba mu mbeera y’obudde engwiira .

Ebintu ebikulu biri bina mu nkuza y’ebimera mu kiyumba ekigerere – amazzi, ebbugumu, ekitangaala, n’empewo ebigere. Bino bye byetaagisa okufuna ebirime ebiramu mu kiyumba kino. Ssinga ekimu ku bino kiva mu kipimo ekyetaagisa ,ekirime kiba kikonziba .Kikulu okumanya obubonero bw’okukonziba.

Bw’oba otandika ekiyumba ekigerere manya embeera y’obudde gy’oyagala okuyeeyereza (mimic) okusinziira ku birime by’oyagala okukuza. Kino kyetaagisa ekyuuma ekigera ebbugumu ( thermostatic device.) kubanga ebirime ebimu byesisiwala nnyo olw’enkyuukakyuuka za tempulikya.


Ebugumu lirina okupimibwa okusinziira ku kika n’obwetaavu bw’ekirime. 

Enfuumo y’amazzi eri mu mpewo (humidity) nayo yetaaga okupima mu kigero ekyetaagisa ekirime ky’oyagala okukuza. Enfuumo y’amazzi mu nampewo yetaaga okuba ey’ekigero yadde mu ttaka.


Obufukirira (sprinkler systems) n’obunnyogoza biyinza okweyambisibwa okutuuka ku kino Ekirala ekyetaagisa kye kitangaala.


Ekitangaala si kitangaala butangaala nga bw’okiraba kubanga tekyenkanankana. Ekitangaala kirimu endaga ya langi (spectrum of colours) eziyitibwa obuwanvu bw’ejjengo (wave length). Yadde nga tetuyinza kulaba na maaso gaffe agali obukunya buwanvu bwa jjengo buno obw’enjawulo, ebimera biyinza okuketta obuwanvu buno n’obutaffaalikazimbira (cerls). Ebimera ebimu bikula bulungi mu buwanvu bw’amayengo obwenjaawulo. Okumanya obuwanvu bw’amayengo obw’enjawulo kikuyamba okumanya ekitangaala ekisinga obulungi ekyokukozesa mu kiyumba ekigerere.


Ekisembayo y’empewo. Ennyingiza n’enfulumya y’empewo (air circulation) kintu kikulu nnyo. Ebirime ebimu byesisiwala nnyo, yadde ku nkyuukakyuuka mu tempulikya akatono.


Bino byonna nga byenkanyankanyizibbwa , ojja kuba omaze okutandika ekiyumba ekigerere kyokka faayo ku bipimo ne ky’obagisa (frame) ekiyumba kyo ekigerere. Ennaku zino basinga kukozesa bipooli bya aluminiyaamu (aluminium alloys) kubanga obutaba nga mbaawo , tebyetaaga kusiigako langi oba eddagala ly’ebiwuka so ng’ate emitayombwa gino emitono giyamba ekitangaala okuyingira obulungi mu kiyumba.