Ekkomera ly'e Kitalya

Bisangiddwa ku Wikipedia


 

Kitalya Maximum Security Prison kkomera elikuumibwa obutirbiri nga ly'abaami n'abakyala mu Uganda.[1]

Endagiriro gy'elisangibwa[kyusa | edit source]

Ekkomera lino lisangibwa ku kyalo Kitalya, mu Ssaza ly'e Busiro, Disitulikiti y'e Wakiso, okuva ku luguudo lwa Kampala-Mityana, ze kilomita 62 (39 mi) mu Bukiikakkono bwobuggwanjuba bw'ekkomera lya Luzira Maximum Security Prison.[2] Ziringa kilomita 54 (34 mi) Bukiikakkono bwobuggwanjuba bwa masekkati ga Disitulikiti y'ebyobusuubuzi eya Kampala, Kibuga kino ky'ekisinga obunene mu Uganda.[3] Kodinentisi z'ekkomera lya Kitalya Maximum Security Prison ziri 0°26'13.0"N, 32°13'36.0"E (Obukiika:0.436944; Obusimba:32.226667).[4]

Eby'okumanya ku kkomera lino[kyusa | edit source]

Ambitious Construction Company Limited y'e Kkampuni eyaweebwa omulimu gw'okuzimba ekkomera lino ku muwendo gwa ssente gwa buwumbi bwa Uganda 18.3 (obukadde bwa Doola $5.5 mu Gwomusanvu 2016). Ekkomera lino lyagendererwamu okuwewula ku mujjuzo ogw'ali mu Luzira Maximum Security Prison. Okuzimba kusuubirwa okuggwa mu 2018.[1]

Okuzimba kwakomekerezebwa mu Gwokubiri 2020. Wabula ng'ekkomera lino telinnafuna basibe, abakozi abaali bagenda okukolera mu kkomera lino mwalimu ne Onesmus Bitaliwo, nga ye kalabaalaba, nga asuubirwa okulawuna amakomera amalala ebulaaya okw'ongera okuyiga butya amakomera bwegaddukanyizibwa.[5]

Ekkomera ly'etaaga okuteekebwamu ebibajje, ebitanda, n'ebikozesebwa mu kukuuma omuli kamera ezikwata ebifaananyi eza closed-circuit television (CCTV) n'ebikozesebwa mu kwekennenya. Kitalya egambibwa kubeera n'emitendera gy'obukuumi mukaaga egikwatibwako n'egyamasanyalaze.[5]

Facilities[kyusa | edit source]

Ekkomera lino eppya lirina ebisulo eby'abonna, obusenge 30 obw'omuntu kinnomu, oluuyi lw'obujjanjabi nga waliyo n'eddwaliro. Lirina ekiyungu ekirimu ebintu eby'omulembe era ebikekkereza amasanyalaze. Ebifo ebirala eby'omugaso mulimu ekifo awakyalirwa, awawulibwa omuntu singa ab'asangiddwa n'ekilwadde eky'obulabe. Lirina n'ekifo aw'azannyirwa emizannyo omuli ekisaawe ky'omupiira gw'ebigere, ekisaawe ky'ensero, akasaawe ka tenesi. litudde ku bugazi bwa yiika 5 (2 ha) ez'ettaka, eky'esuliridde mu kyalo.[5]

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

Template:Wakiso District