Ekkomera ly'e Luzira
Luzira Maximum Security Prison kkomera elirina obukuumi obw'ekika ekya waggulu nga ly'abaami n'abakyala mu Uganda. Okuva mu Gwomusanvu 2016, ly'ekkomera lyokka erisinga obukuumi mu ggwanga nga lisuza abantu abasibiddwa amayisa n'abasaliddwa ogw'okuttibwa.[1][2]
Endagiriro we lisangibwa
[kyusa | edit source]Ekkomera lisangibwa Luzira ku muliraano gwa Divizoni y'e Nakawa mu Bukiikaddyo bw'obuvanjuba bw'ekibuga ekisinga obunene era ekikulu ekya Uganda Kampala.[3] Ekkolera liri kilomita 10 (6 mi) mu Bukiikaddyo bw'obuvanjuba okuva mu Disitulikiti y'ekibuga ekikulu.[4] Ennamba kw'oyinza okukeberera ekkomera lino ziri 0°17'59.0"N, 32°38'26.0"E (Obukiika:0.299735; Obusimba:32.640556).[5]
Eby'okumanya ku kkomera lino
[kyusa | edit source]Ekkomera lino lisuza abantu abasingiddwa omusango, abasaliddwa ebibonerezo n'abo abalinda okugasimbagana n'omulamuzi. Lirina oluuyi lw'abakazi n'olw'abasajja. Era lirina abantu abaaslirwa ogw'okufa abakunukkiriza mu 500 abasajja n'abakazi. Pulojekiti y'okutereeza ekkomera lino yakolebwa nga mwalimu okuliteekamu amadirisa, amataala, okutereeza amazzi, okuleeta ebibaje, emifaliso n'engoye ez'ekika kya linen nga ekimu ekiri mu Pulojecti y'amakomera ga Africa. Ekkomera lirina etterekero ly'ebitabo eririmu ebitabo ebisoba mu 7,000 oukva mu Bungereza.[6]
Prison management
[kyusa | edit source]Mu Luzira, abasibe baweebwa obuvunanyizibwa obw'enjawulo okufaanaganako n'amakomera g'omubungereza ne Amerika. Abasibe baweebwa obuvunanyizibwa okukuuma obumu n'omutindo mu biwayi byabwe mwebabeera, omuli okilma n'okukungula emmere, okufumba n'okugabula mu kkomera lyonna. Okuyiga kukubirizibwa nnyo saako n'okuyigiriza mu basajja naddala obukugu mu kubajja n'ebirala. Abasibe abali e Luzira babalirwa mu ttundu lya 1:35, okugerageranya ku 1:15 mu Bungereza. Enneyisa y'obukambwe n'okutuusa obulabe ku balala tekkirizibwa mu basibe. Omuwendo gw'ebikolwa by'okuzza emisango emirala mu abasibe b'e Luzira guli wansi wa 30 ku buli kikumi okugerageranya ku gwe Bungereza oguli mu 46 ku buli kikumi ne Amerika ng'eli ku bitundu 76 ku buli kikumi.[7]
Omuwendo gw'abasibe be likuuma
[kyusa | edit source]Ekkomera lino ly'azimbibwa nga lisobola okukuuma abasibe 1,700, wabula lisuza abasibe 8,000.[8] Nga 27 Ogwomunaana 2014, ku lunaku lw'okubala abantu mu Ggwanga lyonna mu 2014, ekkomera lyali lisuza abantu 6,336; nga 3,373 baali mu kkomera eddene elirina obukuumi obw'amaanyi, 1,495 baali mu kkomera lya Murchison Bay, n'ekkomera lya and Kampala Remand lyalina abasibe 1,040. Ekkomera ly'abakazi ery'e Luzira ly'alina abasibe 400 n'abaana 28.[9] Gavumenti ya Uganda erina enteekateeka ez'okugaziya ekkomera lino okwongera ku bugazi bw'alyo okusobola okutuuka ku busobozi bw'abasibe 10,000.[8] Okutuusa mu mwezi Gwomukaaga 2017, ekkomera lino ly'alina abasibe 8,500.
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ Kakembo, Freddie (5 June 2013).
- ↑ Goldblatt, David (28 May 2015).
- ↑ Kyle Duncan Kushaba (8 March 2016).
- ↑ Globefeed.com (6 July 2016).
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Google
- ↑ TAG (15 April 2015).
- ↑ Ferguson, Ben (23 October 2015).
- ↑ 8.0 8.1 Bagala, Andrew (25 April 2016).
- ↑ Mudoola, Petride (2 September 2014).